Henry Luke Orombi
Henry Luke Orombi, yazaalibwa 11 Ogwekumi mu 1949 mu Pakwach, mu Bukiika ddyo bwa Gugwanjuba bwa Uganda, [1] mulabirizi wa Uganda ddiini y'aba kulisitaayo . Yaweereza nga Ssaabalabirizi wa Uganda era Omulabirizi wa Kampala okuva mu 2004 okutuusa lwe yawummula mu Gwekumineebiri mu 2012, emyaka ebir nga bukyali okusinziira bwekyali kisuubibrwa. [2] Yadirwa Ssaabalabirizi Stanley Ntagali mu bigere, eyatukuzibwa mu Gwekumineebiri mu 2012. [3] Orombi yaweereza nga Ssaabalabirizi w'essaza lya Kampala, nga lino lye ssaza ly'obulabirizi obutakyukakyuka obwa Ssaabalabirizi, naye obutafaananako n'obulabirizi obulala bungi obutebenkedde mu bibuga ebinene, ali mu ntebe tamanyiddwa mu butongole nga "Omulabirizi wa Kampala", wabula alina ekitiibwa ekiwanvu ekigatta "Ssaabalabirizi wa Uganda era Omulabirizi wa Kampala".
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Orombi yasomera kutendekero lya Bishop Tucker Theological College, nga leero limannyikiddwa nga Uganda Christian University e Mukono mu Uganda ng'eno gyeyagunira Dipulooma mu by'Ediini era ne ku St John's College, Nottingham mu Bungereza, ng'eno gyeyagya Diguli mu bikwatagana ku By'eddiini. Nga tanafuuka Ssaabalabirizi yeeyali akulira abavubuka mu ssaza lya Disitulikiti y'e Moyo ne mu Disitulikiti y'e Adjumani mu bitundu bya West Nile okuva mu 1979 okutuusa mu 1986. Era yawereza ngfa Ssaabalabirizi w'e Goli mu Disitulikiti y'e Nebbi okuva mu 1987 okutuusa mu 1993.Okuva mu 1993 okutuusa mu 2003, yawereza nga Ssaabalabirizi w'Essaza ly'e Nebbi.
Okutwalira awamu
[kyusa | kolera mu edit source]Afuuse omukulembezze ow'amaanyi mu Global South mu kuteesa okwaliwo emabegako mu lukungaana lw'abakulisitaayo. [4] Ng’ali wamu n’ennyumba y’Abalabirizi b’Ekanisa ya Uganda, Ssaabalabirizi Orombi yatukuuza omubuulizi Omumerika ng’omulabirizi okusobola okuwa obulabirizi bw’ekanisa eri olukungaana ;w'ab’Abamerika wansi w’Ekanisa ya Uganda. [5] Ekanisa ya Uganda yakyusa bannaddiini baayo bonna ab’Amerika n’abakungaana ne babatwaala mu kkanisa y’Abangereza mu North America mu Gwomukaaga mu 2009. Orombi, Ekanisa ya Uganda, n’abatuukirivu ab’Amerika n’abakungaana baawakanya okusalawo okwakolebwa ebitongole ebifuga Ekanisa ya Episcopal . [6]
Ebirabibwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Abakulisitaayo nga abyingira Eklezia y'Abakatuliki Abalooma
Mu Gwekumi mu 2009, yayanukula ekiteeso kya Vatican eky’okutondawo ebifo eby’obuntu ab;enjawulo mu klezia y'abakatuliki ab’ennono abatali basanyufu ng’agamba nti ensengeka za GAFCON eziriwo kati zituukiriza dda eby'etaago eby’omwoyo n’eby’obusumba eby’Abakulisitaayo abawagira ennono mu Afrika. [7]
Ebisiyaga mu Afrika
[kyusa | kolera mu edit source]Ekanisa ya Uganda ewakanyizza ekiteeso ky’eteeka erirwanyisa ebisiyaga olw’ekibonerezo ky’okufa. Ekanisa ya Uganda yawagira ebbago eryaddirira erya eryali liwakanya Ebisiyaga eryalina liriina okusiba obulamu bwo bwonna ng’ekibonerezo. [8] Ssaabalabirizi Orombi n'Enyumba y'Abalabirizi baasalawo mu Gwomunaana mu 2008, nti "Ekanisa ya Uganda neetegefu ku mitendera gyonna okuwa abantu abalina obuzibu bw'ebisiyaga okubudaabudibwa, okuwonya n'okusabira, abantu abalina obuzibu bw'okulya ebisiyaga nadala mu masomero n'amatendekero agakola ku by'enjigiriza. Eklezia kifo kya mirember eri abantu sekinoomu, abasobeddwa ku by'okwegata byabwe oba abalwanagana n'okumenyeka mu by'okwegata, okufuna obuyambi." n'okuwonyezebwa." [9]
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Orombi, Henry Luke (2012). Memoirs of an Archbishop's Words. Kampala: H.L Orombi Publication Archives. p. 10. ISBN 9789970403035.
- ↑ Orombi, Henry Luke (11 January 2012). "Archbishop's Press Statement On His Retirement". Church of Uganda. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 13 March 2015.
- ↑ Kasozi, Ephraim; Tumwebaze, Sarah (23 June 2012). "Ntagali Is New Church of Uganda Archbishop". Retrieved 13 March 2015.
- ↑ Wikipedia:Citation needed
- ↑ Baguma, Raymond (2 September 2007). "Gay Row: Uganda Consecrates American Bishop". Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 13 March 2015.
- ↑ Higgins, Andrew (20 September 2007). "Episcopal Church Dissidents Seek Authority Overseas". Retrieved 13 March 2015.
- ↑ Mulondo, Moses (22 October 2009). "Pope's Offer Not Vital for Africa - Orombi". Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 13 March 2015.
- ↑ Sarmiento, Simon (11 February 2010). "Church of Uganda statement on anti homosexuality bill". Thinking Anglicans.
- ↑ "Anglicans Say No To Gays Bill". 2008. Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 13 March 2015.