Jump to content

Henry Musasizi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Henry Ariganyira Musasizi , yazaalibwa 25 Ogwokubiri mu 1981) Munnayuganda adukanya bizineensi, omubalirizi w'ebitabo mu gavumenti eyakakasibwa era munnabyabufuzi. Ono ye Mubaka wa Paalamenti eyaddamu okulondebwa ku Rubanda County East era nga y'akiikirira NRM, ekibiina ky'eby'obufuzi ekiri mu buyinza mu Uganda . [1]

Musasizi yaliko ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku by’Ensimbi, Okuteekateeka n’Enkulaakulana y’Eby'enfuna era n'okubeera memba ku kakiiko ka bizinensi mu Palamenti ya Uganda ey’ekkumi . Ye Ssentebe wa NRM mu Disitulikti y'e Rubanda [2] Era yaweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku Kubala Ebitabo bya Gavumenti mu Palamenti ey'omwenda eya Pearl of Africa . [3]

Obuvo bwe n'eby’enjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Musasizi yazaalibwa mu Rubanda mu Disitulikiti y’e Kabale, nga 25 Ogwokubiri mu 1981 mu famire ekiririza mu ddiini y'Ekikatuliki nga baggwanga ly'Abakiga. Emisomo ga pulayimale yagimalira mu disitulikiti y’ewaabwe e Kabale gyeyatuulira P.7 mu 1994. Oluvannyuma yagenda ku Kigezi College Butobere gyeyasomera okuva S1 paka S.4, n’afuna satifikeeti ye eya S.4 mu 1998, era musomero ly'erimu gyeyasomera S.5 ne S.6 gye yafunira satifikeeti ye eya S.6 mu 2000. [4]

Musasizi yeeyongerayo n'agenda ku Makerere University gye yatikirwa mu 2005 n'afuna Diguli mu by'Obusuubuzi. Oluvannyuma yasoma diguli ey'okubiri okuva kutendekero lya Institute of Certified Public Accountants of Uganda (ICPAU) n’afuuka omubalirizi w’ebitabo mu gavumenti eyakakasibwa mu 2009. Mu 2012, Musasizi yafuna Diguli Ey'okubiri mu Kudukanya Bizineensi okuva mu Heriot-Watt University, yunivasite ya gavumenti esangibwa mu kibuga Edinburgh ekya Scotland. [1]

Musasizi bwe yafuna diguli ye eyasooka mu 2005, yakola okumala omwaka mulamba ng’omubalirizi w’ebitabo mu Bulabirizi bwa Caritas e Kabale, ekitongole ky’eby'obulamu n’enkulaakulana mu Bulabirizi bw’Abakatuliki b’e Kabale. Mu 2007, yafuna omulimu mu kitongole kya African Medical and Research Foundation, AMREF, era ng’akyakola ng’omubalirizi w’ebitabo okutuuka mu 2010 lwe yalekulira okwegatta ku by'obufuzi eby’okulondebwa.

Mu 2011, Musasizi yavuganya ku kifo kya paalamenti ya Rubanda County East ku tikiti ya NRM, era n’awangula mu kamyuufu k'ekibiina ne mu kulonda kwa bonna era n’afuuka omubaka mu Paalamenti ya Uganda ey’omwenda . [5] Mu 2016, Musasizi yaddamu okuwangula okulonda era akyagenda mu maaso n'okuweereza abalonzi ba Rubanda County East mu Paalamenti ey'ekkumi eya Republic of Uganda . [6] Mu Paalamenti ey'omwenda, Musasizi yaweereza ku Kakiiko Akavunaanyizibwa ku Kubala Ebitabo bya gavumenti . [3] Mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi, yaliko ssentebe w'akakiiko k'Ebyensimbi, Okuteekateeka n'Enkulaakulana y'Eby'enfuna era memba ku Kakiiko ka Bizineensi. [7]

Mu Gwomukaaga nga 8, 2021, Musasizi yalondebwa Pulezidneti Yoweri Museveni nga Minisita Omubeezi Ow’ebyensimbi, Okuteekateeka n’Enkulaakulana y’Eby'enfuna avunaanyizibwa ku Mirimu Gy’awamu. [8]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 "MUSASIZI ARIGANYIRA HENRY". Parliament of Uganda.
  2. "MPs summon Kasaija over Tax Amendment Bill". New Vision.
  3. 1 2 "5 years later, govt fails to fund National Housing project". Daily Monitor. February 2021.
  4. "Disappointment as Museveni Snubs Kigezi College Fundraising". CHIMPREPORTS. 12 October 2015.
  5. "Cabinet Minister to Sue NRM for Chaotic Elections". URN.
  6. "Kabale NRM candidates nominated". Vision Group.
  7. "MPs, NOTU leaders clash in heated debate". Uganda Today.
  8. Yoweri, Museveni (June 8, 2021). "I Hereby Appoint H.E. The Vice President, Rt. Hon. Prime Minister, Honourable Cabinet Ministers And Other Ministers As Indicated Below". Archived from the original on September 7, 2025. Retrieved October 3, 2025.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]