Henry Wako Muloki
Kyabazinga Henry Wako Muloki OBE (Ogw'okubiri 18, 1921 – Ogw'omwenda 1, 2008) yali Munnayuganda Kyabazinga ow'e Busoga, ekitiibwa ekyaweebwa omufuzi w'Obwakabaka bwa Busoga, obwakabaka obw'ennono mu Uganda.[1] Muloki yeyali Kyabazinga wa Busoga eyasooka mu 1955, ekifo kyeyalimu okutuusa Ssabaminisita wa Uganda Milton Obote bweyagoba obukulembeze bw'ennono n'obwakabaka mu ggwanga mu 1966.[1] Muloki yafuna ekitiibwa kya Kyabazinga nga 11 Ogw'okubiri, 1995 oluvannyuma lwa gavumenti ya Uganda ezizaawo obw'akabaka obw'ennono.[1]
Muloki ye yali omufuzi w’ennono omukadde eyali akyali omulamu mu Uganda mu kiseera we yafiira mu 2008 yali ku myaka 87. Ye yasooka okuwandiisibwa nga Kyabazinga eyafiira mu ofiisi.[1]
Ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Henry Wako Muloki yatuula ku ntebe y’Obwakabaka bwa Busoga nga Kyabazinga ow’e Busoga( Isebantu Kyabazinga ) mu 1955 ng’alina emyaka 34 egy’obukulu. Muloki yasikira omugenzi Sir William Wilberforce Nadiope nga Kyabazinga.[1]
Muloki yafiirwa ekitiibwa kye eky’ennono n’obwakabaka bwe mu 1966 Ssabaminisita wa Uganda, Milton Obote, bwe yaggyawo ebitiibwa n’ebitongole byonna eby’ennono mu Uganda. Enteekateeka ya Obote era yasatulula obwakabaka obw'ennono obuna obwali mu Uganda, nga muno mwe mwali n'Obwakabaka bwa Muloki bwennyini obwa Busoga.
Muloki yaddamu okufuna ekitiibwa kye n’engule ye nga 11 Ogw'okubiri, 1995, oluvannyuma lw’okuzzaawo ebitongole n’obwakabaka obw’ennono okuli n’Obwakabaka bwa Busoga nga gavumenti ya Uganda. Ebiseera ebisinga, Kyabazinga alondebwa okuva mu bataka bataano ku kkumi n’omu ku baami b’amasaza z’obwakabaka bwa Busoga abagenda okubeera mu mikono gy’ekiseera ekigere. [1] Kyokka Muloki bwe yalondebwa ku bwa Kyabazinga, abaami b’abantu b’e Busoga baasalawo nti Muloki afuge obulamu bwe bwonna nga basiima obukulembeze bwe, by’akola mu bulamu bwe n’emyaka gye. [1]
Muloki yakwatibwa kookolo w’emimiro mu kiseera ky’obufuzi bwe obwasembayo. Yalongoosebwa obulwadde buno mu Yitale mu 2007. Muloki yayongera okujanjabwa mu ddwaaliro lya Kampala International Hospital mu 2008. [1] Ng'ebula mbale afe, Muloki yaweebwa ekitanda mu Buyindi okumala wiiki bbiri.[1] Yali muyi nnyo ne kiba nti yalina okutwalibwa mu nnyonyi okudda e Uganda mu Gulfstream IV-SP y'eggwanga lino. [1]
Okufa
[kyusa | kolera mu edit source]Henry Wako Muloki yafiira mu ddwaaliro lya Mulago Cancer Institute mu Kampala, Uganda, ku ssaawa 4 ez’oku makya nga 1 Ogw'omwenda, 2008, ku myaka 87. Yaleka abatabani be bana n’abawala basatu okuli omumbejja Rebecca Muloki. [1] Mukyala we Alice Muloki, Nnabakyala we Busoga yafa mu Ogw'ekkumin'ogumu 2005. Abaana ba Muloki ababiri babeera mu Amerika ne Bungereza.[1]
Omulambo gwa Muloki gwatwalibwa mu lukiiko lwa National Assembly of Uganda (Parliament) mu Kampala okumusiibula mu kitiibwa. Oluvannyuma yatwaliddwa mu lubiri lw'e Nakabango gyebakuma ogwooto. [1] Oluvanyuma ng'emikolo gy'omu Kampala giwedde, wabaawo abantu okukuba eriiso evvanyuma ku mugenzi e Bugembe, ekitebe ekikulu eky'Obwakabaka bwa Busoga.[1] Oluvannyuma omulambo gwe gwatwalibwa mu maka ga bajjajjaabwe mu Disitulikiti y’e Kaliro okuziikibwa. [1]
Mu mateeka ga Busoga, Katuukiro wa Busoga, Wilson Muwereza, eyali Ssabaminisita wa Muloki okumala emyaaka mukaaga, ne "abakulu b'abaami b'obwakabaka ekkumi n'omu abakulira ebika" be babeera balina okuddukanya Obwakabaka bwa Busoga oluvannyuma lw'okufa kwa Muloki. Ssaabaminisita n’abaami b’obwakabaka bwa Busoga kkumi n’omu bagenda kulonda wamu anaamuddira mu bigere era balonde Kyabazinga omupya mu nnaku 60 okutuuka ku 90 okuva Muloki lw’afudde.[1]