Herbert Kabafunzaki
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Herbert | |
| Yazaalibwa nga | 9 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 1975 | |
| Gy'azaalwa | Uganda | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | munnabyabufuzi | |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda | |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement | |
Herbert Kabafunzaki musuubuzi era munnabyabufuzi MunnaUganda aweerezza nga Minisita omubeezi ow’abakozi, enkolagana y'emirimu n’amakolero okuva mu gwomukaga 2016. [1] Yalayizibwa wamu n'abalala aba kabineeti nga 22 Ogwomukaaga 2016. [2]
Kabafunzaki ye mubaka wa Paalaamenti omulonde ow'Essaza ly'e Rubanda mu Disitulikiti y’e Kabale era mmemba w’ekibiina kya Uganda, ki National Resistance Movement . [3]
Obuto bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Ggombolola y'e Rwamucucu, mu Ssaza lye Rukiga ,mu Disitulikiti y'e Rukiga, mu ttundutundu ly'obugwanjuba bwa Uganda.Yasomera ku St. Mary's College Rushoroza ku misomo gya siniya.
Emirimu gy’ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Nga tannalondebwa mu Paalaamenti mu 2016, yaweereza ku lukiiko lwa Disitulikiti y'e Wakiso ng'omukiise wa Makindye A Zooni ( leero emanyiddwa nga Ssaabagabo ), okuva mu 2011 okutuuka mu 2016 era oluvannyuma yakwatibwa lwa kujja nguzi ya sillingi za Uganda obukadde butaano okuva ewa Ssenkulu wa AYA group Uganda . [4]
Ebirala eby'okulowoozaako
[kyusa | kolera mu edit source]Kigambibwa nti Kabafunzaki yaliko Ssenkulu wa kkampuni ya Berteeen Business Systems kkampuni ya Uganda. [5]Mu biseera ebyayita yaweerezaako ng'omukiise w'eggwanga , ow'ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga ki (Federation of Uganda Football Associations) [6]
ebujuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Daily Monitor. Kampala. Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 27 June 2016.
- ↑ Edward Ssekika, and Sulaiman Kakaire (22 June 2016). "Cabinet: Museveni admits patronage played part in selection". The Observer (Uganda). Kampala. Archived from the original on 26 June 2016. Retrieved 27 June 2016.
- ↑ Odyek, John (20 February 2016). "FDC big guns frog marched out of Parliament". New Vision. Kampala. Retrieved 27 June 2016.
- ↑ Muhereza, Robert (28 April 2014). "Wakiso councillor thrown out of Kabale NRM meeting". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 27 June 2016.
- ↑ Jaramogi, Patrick (4 April 2012). "Uganda to export fresh matooke to US". New Vision. Kampala. Retrieved 27 June 2016.
- ↑ Katende, Norman (27 May 2013). "Bazirengedde floored in FUFA polls". New Vision. Kampala. Retrieved 27 June 2016.