Jump to content

Hope Nakazibwe Grania

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Nakazibwe Hope Grania

Hope Nakazibwe Grania (yazaalibwa 20 Omwezi ogusooka 1986) munnayuganda munnabyabufuzi , era mukugu mu by'ameekennenyerezo (Labaratory Scientist). [1] Mu kiseera kino ye mubaka wa paalamenti omukyala owa Disitulikiti y'e Mubende . [2] [3] Hope yafumbirwa Dr Andrew Abaasa. [1]

Obuto bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Hope Nakazibwe yazaalibwa nga 20 Omwezi ogusooka 1986, bazadde be Hindia Mpuuga ne Norah Mbabazi aba disitulikiti y’e Mubende. [4] Yasomera ku ssomero lya pulayimale erya Tiger Army primary School mu disitulikiti y’e Mubende okusoma pulayimale mu 1999, Kasenyi SS e Mubende ku misomo gye egy'omutendera gwa siniya eyokuna ne Christ the King Bulinda ku misomo gye egy'omutendera gwa siniya eyomukaaga . [4] Alina dipulooma mu ssaayansi w'okwekeneenya endwadde mu meekeneenyerezo g’obusawo okuva mu ttendedekero lya Makerere Paramedical School Mulago (2008).

N'era alina ddiguli esooka mu saayansi w'ammeekenneenyerezo ag'obusawo okuva mu yunivasite y'e Mbarara University of Science and Technology gye yawangulira engule y’omuyizi eyasinga ow'omwaka 2012. [1] N'era alina ddiguli eyookubiri mu by’obulamu ebyawamu n'ebitundu okuva mu yunivasite ya Uganda Martyrs University [1] ne satifikeeti mu kuwandiika ebiwandiiko by'ekinnasaayansi ku bivudde mu kunoonyereza okusobola okuteekebwa mu butabo bw'ekinnassaayansi (Biomedical scientific manuscript writing) okuva mu yunivasite y'e Califonia, San Francisco . [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (March 2024)">okujuliza kwetaagisa</span> ]

Hope yaweereza ng'omukugu mu kwekeneenya endwadde mu mmeekeneenyerezo ku ddwaaliro e Mengo mu 2008. [1] Wakati wa 2009-2010, yakola ng'omulondoozi w'amekeneenyerezo mu bifo ewakolerwa emirimu mu kitongole ki Integrated Community Based Initiatives (ICOBI) mu disitulikiti y’e Mubende ne Kassanda. N'era yakola ng'omulondoozi w'ekifo aweekeneenyezebwa endwadde ICOBI Kampala central division mu 2013. [1] Yeegatta ku kitongole kya Uganda Virus Research Institute /Medical Research Council nebbanguliro lya London School of Hygiene and Tropical Medicine mu 2013, n’akulembera; ekitongole ky’omusaayi 2013-2015, ekya Ssaayansi asoma ku nkyukakyuka ensirikitu ezigenda mu maaso mu mibiri gy'abantu (Biochemistry) 2015-2016, ekisomesa ku butoffaali obusirikitu obuzimba ebintu oba abantu ( Molecular ) 2017-2020 neyeegatta ku byobufuzi ebyaddala mu 2020. [1]

Emirimu gy’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2020, yavuganya ku kifo ky’abakyala ekya disitulikiti y’e Mubende ku tikiti y’ekibiina ky’ebyobufuzi ekya National Resistance Movement gye yawangula Benna Namugwanya eyali minisita omubeezi avunaanyizibwa ku kitongole kya Kampala Capital City Authority (KCCA). [5] Akiikiridde ekitundu ekyo mu Paalamenti ya Uganda okutuusa leero. [6] Era akola nga ssaabawandiisi mu kibiina kya Uganda Women Parliamentary Association, [7] Era ye nampala wa paalamenti mu kibiina kya NRM owa Mubende eyawamu / enenne.

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "New Vision - Latest News". www.newvision.co.ug. Retrieved 2025-04-11.
  2. "NAKAZIBWE HOPE GRANIA - UGLEADER". ugleader.com. Retrieved 2025-04-11.
  3. "Inside NRM Caucus plan to wrest Buganda region out of NUP's hold". Monitor (in Lungereza). 2025-03-30. Retrieved 2025-04-11.
  4. "KNOW YOUR MP-ELECT: Hope Nakazibwe". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2022-03-10.
  5. https://www.researchgate.net/profile/Hope-Grania-Nakazibwe
  6. Reporter, Independent (2020-09-05). "KCCA minister Benna Namugwanya loses Mubende NRM party ticket". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2022-03-10.
  7. "Nakazibwe Hope Grania - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2022-03-10.
  8. "UWOPA Elects New Executive for the 11th Parliament of Uganda | UWOPA". uwopa.or.ug. Archived from the original on 2022-03-13. Retrieved 2022-03-10.
  1. 1 2 3 4 5 6 7 "New Vision - Latest News". www.newvision.co.ug. Retrieved 2025-04-11.
  2. "NAKAZIBWE HOPE GRANIA - UGLEADER". ugleader.com. Retrieved 2025-04-11.
  3. "Inside NRM Caucus plan to wrest Buganda region out of NUP's hold". Monitor (in Lungereza). 2025-03-30. Retrieved 2025-04-11.
  4. 1 2 "KNOW YOUR MP-ELECT: Hope Nakazibwe". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2022-03-10.
  5. Reporter, Independent (2020-09-05). "KCCA minister Benna Namugwanya loses Mubende NRM party ticket". The Independent Uganda (in American English). Retrieved 2022-03-10.
  6. "Nakazibwe Hope Grania - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2022-03-10.
  7. "UWOPA Elects New Executive for the 11th Parliament of Uganda | UWOPA". uwopa.or.ug. Archived from the original on 2022-03-13. Retrieved 2022-03-10.