Hudson Mukasa
Hudson Mukasa munnamaggye ali ku ddaala lya mmeeja generali mu ggye lya Uganda People's Defence Forces (UPDF). Okuva mu Mwezi ogwomukaaga 2016, y'abadde munamaggye aweereza n'e kitebe kya Uganda e Kenya, ng’asinziira mu Nairobi. Nga tannatuuka awo, yaweerezaako nga munnamaggye aweeraza ku kitebe kya Uganda e Burundi, ekisangibwa mu Bujumbura . [1] [2]
Obuvo bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu ttundutundu lya Buganda ekya Uganda mu 1963. Yasoma kkoosi y'amaggye esookerwako (Millitary zadet course ) ku ttendekero lya Tanzania ery'amaggye mu Monduli , mu myakaya gye'kinaana nga giggwako (In the late 1980). Olwo yazzaako okusoma mu kkoosi y'ekinnamaggye ey'abakulu and n'okuduumira ku ntandikwa y’emyaka gya 1990, mu Ghana .N'era yatikkirwa mu kkoosi y'emisomo gy'eggwanga egy'obukodyo,obuyiiya,obutetenkanya n'okulowooza amangu ekirina okuddako (National Strategic Studies Course) ku ttendekero ly'eggwanga ery'obukuumi. e Kenya. [3]
Omulimu gw’amagye
[kyusa | kolera mu edit source]Mukasa yeegatta ku ggye lya National Resistance Army eryeyubula nerifuuka Uganda People's Defence Forces, mu 1983. Aweerezzaako mu buvunanyizibwa obw'obuduumizi obw'enjawulo mu ggye lya UPDF, omuli n'okukola ng'omuduumizi w'ekibinja ky'eggye lya UPDF ekyokubiri, ekisangibwa e Makenke, mu Mbarara, mu ttundutundu ly'obugwanjuba bwa Uganda, okuva mu 2005 okutuuka mu 2008. Olwo era yaduumirako ekibinja kya UPDF eky'okutaano, mu 2008. Mu kiseera ekyo ekibinja ekyokutaano kyali kisinziira mu Lira, mu ttundutundu lya Lango, mu ttundutundu ly'obukiika kkono bwa Uganda. [3]
N'emabegako aweerezaako ng'omutendesi w'ekibinja ekyokubiri ow'ebikwekweto .Okuva mu 1997 okutuuka mu 2003, yeeyali muduumizi w'ekibinja ky'amaggye (Brigade commander) nnamba 503 ekisinziira mu Kitgum, mu bukiikakkono bwa Uganda. Ekibinja kyamaggye kino kyali kimu ku maggye agatambula UPDF ge yatandikawo okulwanyisa eggye ly'abayeekera li Lord's Resistance Army , ku nsalo ya Sudan ne Uganda. [4]
Nga 28 Omwezi ogwokusatu 2020, yakuzibwa okuva ku ddaala lya Brigadier okudda ku lya Major General. [5]
Okusika omuguwa
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2008, bwe yali aweereza ng'omuduumizi w'ekibinja kya UPDF ekyokutaano, ekisinziira mu Lira, Uganda, Brigadier Hudson Mukasa yateekebwa mu by'okubba ensimbi za Uganda obukadde bibiri ataano mu mukaaga (USH 256 Million) nga zaabalirwamu ensimbi za ddoola za Amerika emitwalo kkumi mwenkumi bbiri mu bina -US$102,400 mu kiseera ekyo ezaali ez'okusasula emisaala gy'abasajja n'abakazi abaali wansi w'obuduumizi bwe . [3]
Yayimirizibwa, wamu ne bannamaggye abalala bataano mu kibinja kye, okunoonyereza okw'ekinnamaggye bwekwali kukolebwa. [4] Brigadier Mukasa yanoonya sente ze ngomuntu era mangu nnyo nazzaayo ssente. [3] [6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Risdel Kasasira, and Job Bwire (7 June 2016). "Museveni reshuffles military advisers". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 27 March 2019.
- Charles Etukuri (7 June 2016). "Museveni Reshuffles Defence Attachés, Military Advisers". New Vision. Kampala. Retrieved 27 March 2019.
- Ibrahim Ssemujju Nganda (10 September 2010). "How Brig. Mukasa got caught with hand in till". The Observer (Uganda). Kampala. Archived from the original on 27 March 2019. Retrieved 27 March 2019.
- Grace Matsiko, and Risdel Kasasira (19 August 2008). "Gen. Museveni fires Brigadier over 250m". Daily Monitor. Kampala. Archived from the original on 27 March 2019. Retrieved 27 March 2019.
- Javira Ssebwami (28 March 2020). "Museveni promotes intelligence chief Brigadier Kandiho, 11 others to Major General". Kampala: PML Daily. Retrieved 29 March 2020.
- Alex Nsubuga, and Andrew Bagala (5 September 2008). "Uganda: Brigadier Mukasa Returns Stolen Shs256 Million". Daily Monitor Via AllAfrica.com. Kampala. Retrieved 27 March 2019.
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Risdel Kasasira, and Job Bwire (7 June 2016). "Museveni reshuffles military advisers". Retrieved 27 March 2019.
- ↑ Charles Etukuri (7 June 2016). "Museveni Reshuffles Defence Attachés, Military Advisers". Retrieved 27 March 2019.
- 1 2 3 4 Ibrahim Ssemujju Nganda (10 September 2010). "How Brig. Mukasa got caught with hand in till". Archived from the original on 27 March 2019. Retrieved 27 March 2019.
- 1 2 Grace Matsiko, and Risdel Kasasira (19 August 2008). "Gen. Museveni fires Brigadier over 250m". Archived from the original on 27 March 2019. Retrieved 27 March 2019.
- ↑ Javira Ssebwami (28 March 2020). "Museveni promotes intelligence chief Brigadier Kandiho, 11 others to Major General". Kampala: PML Daily. Retrieved 29 March 2020.
- ↑ Alex Nsubuga, and Andrew Bagala (5 September 2008). "Uganda: Brigadier Mukasa Returns Stolen Shs256 Million". Retrieved 27 March 2019.