Jump to content

Omuntu

Bisangiddwa ku Wikipedia
(Oleetedwa wano okuva ku Human)
  1. REDIRECT Template:Charles Muwanga
omuntu

Abantu (Humans).

Omuntu oba abantu "ensolo kalimagezi"(Intelligent animal). Mu takisonoma y’ebiramu, omuntu ali mu:

(i) bwakabaka bwa wansolo,

(ii)Ettabi lya luyansa (mammal),

(iii)Omutendela gwa bamuntunsolo (primates),

(iv)Olubu lw’omuntu “(genus homo),

(v)Ekikula (sipiisa) kya “Omuntu kalimagezi” (homo sapiens), the intelligent man.

Omuntu nsolo magulu abiri (bipedal animal ), ekitegeeza nti atambulila ku magulu abiri. Alina obwongo obukulaakulanye okumusobozesa okukozesa olulimi okwogera, okutondeka ebirowoozo, n’okufuga embeela ze ez’obuntu ( controling emotions).

Obwongo buno mwe muva “obusobozi bwa mulengela” (mental abilities) ate obutakozesa mikono ng’atambula kimusobozesa okukozesa “ebikola” (tools) obutafaanana sipiisa (kikula) ndala yonna.

Mu mutendela gw’ensolo oguyitibwa “bamuntunsolo” (primatees”) omuntu naye mw’ali era mwe musangibwa amazike agali okumpi ennyo n’omuntu. Omuntu okufaanana ne bamuntunsolo abalala, nsolo ntabaganyi . Bamuntunsolo bonna babeela mu bibinja, okuyambagana n’okwewa obukuumi, n’okulabirira ebito byabwe kyokka omuntu okuba omutabaganyi ne muntu munne kye kimufuuka omuntu ensolo y’ebyenfuna , ensolo y’ebyobufuzi ate era ensolo entabaganyi.