Ibra Sekajja
Emirimu gya kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Uganda, yasomera siniya ku ssomero lya Ashburton Community School okuva mu 2004 okutuuka mu 2009.
Ibra yasooka kulabibwa omunoonyi w’abazannyi (Scout) okuva mu Crystal Palace, Kiraabu y'ekibinja kya babinnywera (Premier League), olw’ekitone kye eky'okukyanga omupiira bwe bwe yali azannya omupiira mu luzannya olwali ku Elmwood Primary School. Obwangu bwe, obukodyo,obujogoli n'obukugu mu kusala n'okubuusa buusa omulabe omupiira , (dribbling), obuwanvu bwe, n’obusobozi bwe mu kuteeba ggoolo, nga bino byonna byalengerwa ku myaka kkumi (10) .
Sekajja yasooka kuzannya mupiira mu Crystal Palace nga alaga obukugu bwe nga 30 Ogwokuna 2011, mu mupiira ogwali mu Hull City . Yateeba ggoolo ey’ekyenkanyi mu ddakiika ya kinanamumunana ng’asoose okukwata. Sekajja yali yefuze ekisaawe mu ddakiika ezisembayo enkulu mu mupiira guno, n’akakasa nti bagwa amaliri ne Hull ekyanyweza Palace obukuumi mu Championship . Yajaguzza okwevumba emabega emirundi esatu mu bbanga (‘triple backflip’.) [1]
Yawolwa Kettering Town ne Bromley wakati mu sizoni ya 2011–12, okufuna obumanyirivu mu ttiimu esooka.Olwo Milton Keynes Dons n'egula Sekajja ku bbanja nga 7 Ogwekkuminagumu 2012. Maneja Karl Robinson yategeezezza nti, "Ye kyennyini kye twetaaga mu ttiimu mu kiseera kino – muto, tatya era alina obwangu mukuzanya omupiira." [2] Nga 24 Ogwekkuminagumu 2012, yazannya omupiira gwe ku ttiimu eno, n'ajja ng'omuzannyi wa Dean Bowditch mu ddakiika ya kinanamunya mu mupiira gwe yawangula Colchester United ggoolo taano kwemu 5-1) [3] [4]
Nga 10 Ogwoluberyeberye 2013, Sekajja yeegatta ku Barnet ku bbanja lya mwezi gumu. [5] Yatandika obuwanguzi mu mupiira gwe ogwa Barnet, n'azannya omupiira gwonna mu bugenyi bwe yawangula Rotherham United ggoolo 2-0, nga 12 January 2013. [6] Oluvannyuma lw'omupiira gwe ogwasooka "ogw'ekitalo", omutendesi Edgar Davids yagamba nti "Nsuubira nti agenda kuba kyabugagga kinene eri ttiimu. Nsuubira nti yeekulaakulanya mu layini gye ndowooza nti asobola era asobola okufuuka omuzannyi omukulu mu Barnet." [7]
Ku nkomerero ye bbanja lye mu Barnet, Sekajja yakomyewo mu Crystal Palace kyokka n’alemererwa okuddamu okuzannya mu ttiimu esooka. Oluvanyuma nayimbulwa kiraabu eno mu Mwezi gwokutaano wa 2014. [8]
Oluvannyuma lw'okugezesebwa obulungi okumala wiiki bbiri, Sekajja yakola endagaano ne kiraabu ya Scotland eya Inverness Caledonian Thistle mu Pulimya muMwezi gwekkumi 2014. [9] Yasooka kuzannya mu ttiimu eno ku nkomerero y'omwezi ogwo, n'ajja ng'omuzannyi akyusiddwa ne St Mirren . [10] Sekajja yava mu Inverness mu January 2015, ng'endagaano ye ey'ekiseera ekitono ewedde. [11]
Nga 16 Ogwoluberyeberye 2015, Sekajja yakola endagaano ne kiraabu ya Scotland Championship eya Livingston . [12]
Oluvannyuma lw'okuzannya emipiira mu Braintree Town ne Hemel Hempstead Town mu sizoni ya 2015–16, Sekajja yeegatta ku Dulwich Hamlet owa Isthmian League Premier Division, n'azannya omupiira gwe ogusoose mu mupiira gwe gwali amaliri ne Enfield Town ggoolo 2-2 ku bugenyi nga 1 Ogwekkumi 2016. [13] Yamaliriza sizoni ye esooka mu kiraabu eno ng'ateeba ggoolo 17 mu mpaka zonna, omuli n'ekitundu ekisooka hat-trick nga battunka ne Enfield Town mu semi ya Ithmian League Premier Division play-off. [14] Oluvannyuma lw’okuteeba ggoolo 12 mu liigi mu Dulwich mu 2016–17, yeegatta ku Bognor Regis Town mu 2017–18. [15] Mu 2018-19 Sekajja yazannyira mu Havant & Waterlooville nga tannaba kwegatta ku Gosport Borough mu March. [16] [17]
Sekajja yeegatta ku Maidenhead United Ogwekkuminogumu 2019. [18] Mu Gwoluberyeberye 2020, yagenda mu kkooti mu Grimsby Town . [19]
Sekajja yaddamu okwegatta ku Dulwich Hamlet mu Gwoluberyeberye 2021. [20]
Nga 15 Ogwomunaana 2022, yakola endagaano ne AC Oulu e Finland okutuusa sizoni lwe yaggwaako. [21]
Nga 1 Ogwekkuminebili 2025, Sekajja yeegatta ku kiraabu ya Isthmian League South Central Division eya Raynes Park Vale . [22]
Emipiira gyazanye
[kyusa | kolera mu edit source]Sekajja abadde akwatiddwa Bungereza ku mutendera gwa bazanyi abali wansi wemyaka kuminamukaaga (U16). Mu Gwomunaana wa 2013, yayitibwa mu ttiimu ya Uganda mu mupiira gw’omukwano ne Misiri . [23] Teyazannya kuba yali tannafuna paasipooti ye eya Uganda. [24]
Embalirira z’obuwanguzi mu mulimu gwe
[kyusa | kolera mu edit source]| Club | Season | League | National cup | League cup | Other | Total | ||||||
|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
| Division | Apps | Goals | Apps | Goals | Apps | Goals | Apps | Goals | Apps | Goals | ||
| Crystal Palace | 2010–11 | Championship | 1 | 1 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 1 | 1 |
| 2011–12 | Championship | 1 | 0 | 1 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 2 | 0 | |
| 2012–13 | Championship | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | |
| 2013–14 | Premier League | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | |
| Total | 2 | 1 | 1 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 3 | 1 | ||
| Kettering Town (loan) | 2011–12 | Conference Premier | 2 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 2 | 0 |
| Bromley (loan) | 2011–12 | Conference South | 3 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 1[a] | 0 | 4 | 0 |
| Milton Keynes Dons (loan) | 2012–13 | League One | 1 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 1 | 0 |
| Barnet (loan) | 2012–13 | League Two | 4 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 4 | 0 |
| Inverness Caledonian Thistle | 2014–15 | Scottish Premiership | 4 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 4 | 0 |
| Livingston | 2014–15 | Scottish Championship | 11 | 2 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 11 | 2 |
| Braintree Town | 2015–16 | National League | 2 | 0 | 1 | 0 | 0 | 0 | 2[b] | 0 | 5 | 0 |
| Hemel Hempstead Town | 2015–16[25] | National League South | 14 | 2 | 0 | 0 | 0 | 0 | 1[c] | 0 | 15 | 2 |
| Dulwich Hamlet | 2016–17[26][27] | Isthmian League Premier Division | 35 | 12 | 0 | 0 | 0 | 0 | 15[d] | 4 | 50 | 16 |
| Bognor Regis Town | 2017–18[25] | National League South | 29 | 7 | 1 | 0 | 0 | 0 | 5[e] | 3 | 35 | 10 |
| Havant & Waterlooville | 2018–19 | National League | 14 | 0 | 1 | 0 | 0 | 0 | 5[f] | 4 | 20 | 4 |
| Gosport Borough | 2018–19[17] | SFL Premier Division South | 6 | 2 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 6 | 2 |
| Maidenhead United | 2019–20 | National League | 4 | 1 | 0 | 0 | 0 | 0 | 1[g] | 0 | 5 | 1 |
| Dulwich Hamlet | 2020–21 | National League South | 1 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 1 | 0 |
| 2021–22 | National League South | 11 | 5 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 11 | 5 | |
| Total | 12 | 5 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 12 | 5 | ||
| AC Oulu | 2022 | Veikkausliiga | 8 | 2 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 0 | 8 | 2 |
| Career total | 151 | 34 | 4 | 0 | 0 | 0 | 30 | 11 | 185 | 45 | ||
Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Ibra Sekajja nga ali Soccerbase
- Ibra Sekajja nga ali kuDulwich Hamlet official website
- Ibra Sekajja nga ali Soccerway
- ↑ "Hull 1 – 1 Crystal Palace". BBC Sport. 30 April 2011. Retrieved 30 April 2011.
- ↑ "MK Dons sign Crystal Palace's Ibra Sekajja on loan". BBC Sport. Retrieved 19 January 2013.
- ↑ "Loan MK Dons". 8 November 2012.
- ↑ "MK Dons 5–1 Colchester". BBC Sport. Retrieved 19 January 2013.
- ↑ "Barnet sign Crystal Palace forward Ibra Sekajja on loan". BBC Sport. Retrieved 19 January 2013.
- ↑ "Barnet sign Crystal Palace forward Ibra Sekajja on loan". BBC Sport. Retrieved 19 January 2013.
- ↑ Newson, Adam (15 January 2013). "Edgar Davids hopes Crystal Palace loanee Ibra Sekajja will become an important player for Barnet". times-series.co.uk. Retrieved 19 January 2013.
- ↑ "Crystal Palace: Gabbidon, Moxey & Parr among 12 players released". BBC Sport. 28 May 2014. Retrieved 8 October 2014.
- ↑ Inverness Caley sign ex-Palace striker Sekajja, BBC Sport
- ↑ "St Mirren 0–1 Inverness". BBC Sport. Retrieved 20 October 2014.
- ↑ "Ibra training with Ross County". Southern Reporter. Johnston Publishing Ltd. 8 January 2015. Archived from the original on 12 January 2015. Retrieved 8 January 2015.
- ↑ "New striker signs on". Livingston F.C. 16 January 2015. Retrieved 16 January 2015.
- ↑ "Ex-Palace Hero Joins Hamlet". Pitchero. 3 October 2016. Retrieved 3 October 2016.
- ↑ "Dulwich Hamlet 4–2 Enfield Town". Dulwich Hamlet F.C. 3 October 2016. Retrieved 28 April 2017.
- ↑ Ibra Sekajja Signs On T"Dulwich Hamlet 4–2 Enfield Town". Dulwich Hamlet F.C. 3 October 2016. Retrieved 28 April 2017.he Dotted Line
- ↑ "Dulwich Hamlet 4–2 Enfield Town". Dulwich Hamlet F.C. 3 October 2016. Retrieved 28 April 2017.
- 1 2 "Ibra Sekajja: 2018/2019 Biog & Stats". Archived from the original on 2 November 2019. Retrieved 2 November 2019. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "Gosport" defined multiple times with different content. - ↑ New Signing | Ibra is a Magp"Ibra Sekajja: 2018/2019 Biog & Stats". Archived from the original on 2 November 2019. Retrieved 2 November 2019.ie
- ↑ "Ibra Sekajja: 2018/2019 Biog & Stats". Archived from the original on 2 November 2019. Retrieved 2 November 2019.
- ↑ Template:Cite tweet
- ↑ "IBRA SEKAJJA SAAPUU LAIVOSTONSINISIIN" (in Finnish). AC Oulu. 15 August 2022. Retrieved 25 August 2022.
- ↑ Template:Cite tweet
- ↑ Template:Cite tweet
- ↑ Template:Cite tweet
- 1 2 "Ibra Sekajja Profile | Aylesbury United FC".
- ↑ "Ibra Sekajja – Dulwich Hamlet Football Club First XI".
- ↑ "Dulwich Hamlet | Appearances | Ibra Sekajja | 2016-2017 | Football Web Pages".