Jump to content

Ibrahim Kironde Kabanda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ibrahim Kironde Kabanda, musuubuzi era muyiiya mu Uganda . Yaliko ssentebe w’ekitongole ekiwooza omusolo ekya Uganda Revenue Authority, ng’ayaweereza mu kifo ekyo okuva mu 2004 okutuuka mu 2010. [1]

Mu 2013, Muwenda Mutebi II, Kabaka wa Buganda ali ku Ddamula, yawa abantu basatu ssekinnoomu okuli ne Kabanda obuyinza okuvuga omusango ogw'ali guvunaanibwa ab'ekitongole ky'amazzi n'emyala ekya National Water and Sewerage Corporation olw’okuzimba ekyuma ekirongoosa emyala ku ttaka lye e Lubigi, nga tabafunye lukusa. Abalala babiri ssekinnoomu kuliko Omulangira wa Buganda Daudi Kintu Wasajja ne Godfrey Kaaya Kavuma. [2]

Mu mwaka gwa 2015, Kabanda ye yakwata ekifo ekyokubiri mu basiga nsimbi abaali bateeka ssente mu sitoowa ya Stanbic Bank (Uganda) Limited, ng’emigabo gye gyali gya buwumbi bwa UGX:6.7. [3]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1098631/ura-board
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2016-03-14. Retrieved 2025-07-13.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://web.archive.org/web/20150925212013/http://www.monitor.co.ug/Business/Markets/Sudhir-Bitature-ranked-earners-stock-exchange/-/688606/2737878/-/i2hoxvz/-/index.html

Ebijuliziddwamu eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]