Jump to content

Ibrahim Mukiibi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ibrahim Mukiibi (yazaalibwa 15 Ogwomusanvu, 1935). Munnayuganda minisita, omubaka wa Uganda mu mawanga amalala, era omutandisi w'emirimu. Yali Minisita w’ensonga z’omunda mu myaka gya 1990 gyonna nga gitandika ku mulembe gwa pulezidenti Yoweri Museveni, era abadde omubaka wa Uganda mu mawanga ag’ebweru agawerako. [1] Era alina wooteeri, nga Serenada Eco-Resort gy'addukanya ne mukyala we Harriet nga eri ku lubalama lw'ennyanja Nalubaale . [2]

Omulimu gwe ogw’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ennaku ezisooka

[kyusa | kolera mu edit source]

Omu ku mirimu Mukiibi egyasooka okumanyika mu byobufuzi kwe kubeera omubaka wa Uganda mu mawanga ga Scandinavia, ekifo kye yalina ku mulembe gwa Idi Amin . [3] Yali avudde mu buyinza bw'ebyobufuzi mu kisanja kya Apolo Milton Obote ekyokubiri, kyokka n'addamu okuyingira munne Yoweri Museveni bwe yakwata obuyinza. Era yakolera mu mukago gwa African Union ku lwa Uganda ku mulembe gwa Idi Amin . [4]

Obwa Minisita bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Mukiibi yali minisita ow'amaamnyi mu nnaku za Yoweri Museveni ezaasooka. Yali Minisita wa Uganda ow’ensonga z’ebweru okuva mu 1986, Museveni lwe yakwata obuyinza, okutuusa mu 1988. [5] Olwo n’aweereza nga Minisita ow’amaanyi ow’ensonga z’omunda mu Uganda okuva mu 1989 okutuuka mu 1994, ng’adda mu bigere bya Kahinda Otafiire, eyalina okulekulira obwa Minisita w’ensonga z’omunda oluvannyuma lw’okutunuza mu mukazi emmundu bwe yali ku bbaala emu mu Kampala . [6] [7] Ibrahim Mukiibi yava mu kifo kino mu 1987, n'asikizibwa Crispus Kiyonga . [8]

Addayo mu Uganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Mukiibi yalondebwa okuba omubaka wa Uganda mu Ukraine mu 2002, n'aweereza okutuusa mu 2003. [9] Mu 2003, yadda ku bwa mubaka wa Uganda mu Misiri . [10] Mu 2005, mu nkyukakyuka ezaakolebwa mu kabineti, Museveni yakyusa Mukiibi n'amuwa omulimu gw'omubaka mu Saudi Arabia . [11] Mu 2006, Yagenda e Tanzania, nga gwe gwali omulimu gwe ogwasinga okuwangaala ng'ali n'ensi enkulu ey’omuliraano. [12] Yava ku kifo kino mu 2012, n'agenda ku kabaga k'okusiibula mu Dar es Salaam nga akiikiridde gavumenti ya Tanzania . [13]

Addayo mu Uganda

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu 2012, Mukiibi yakomezebwawo ewaabwe abeere ku lusegere lwa Pulezidenti Museveni n’okuweereza ng’omuwabuzi wa Pulezidenti omukulu ku nsonga z’obukuumi, ng’ali wamu ne Francis Butagaira, omubaka wa Uganda mu mukago gwa Bulaaya e Brussels. [14]

Ekifo kya Serenada Eco Resort

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu myaka gya 1980 nga gitandika, Ambasada Ibrahim Mukiibi yagula ettaka ku muko we omugenzi Haji Tambula nga mu kiseera ekyo yali yawasa muto we. Ettaka lino lisangibwa ku kyalo Butere ku lubalama lw’ennyanja Nalubaale mu kibira e Kyaggwe, mu Disitulikiti y’e Mukono . [15] Ku ttaka lino kwe baatandika Serenad[15]a Eco-Resort, nga mulimu weema ez’ebbeeyi, okuvuga amaato, eky’okulya, n’ebbaala, eddakiika 25 ng’ovuga eryato okuva e Ggaba . [15] Ambasada Ibrahim Mukiibi ye nnannyini kifo kino ne mukyala we Harriet Mukiibi

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.refworld.org/docid/3ae6aafb84.html
  2. https://www.serenadaecoresort.com/about-us
  3. https://en.wikipedia.org/wiki/Idi_Amin
  4. https://en.wikipedia.org/wiki/Template:Cite_web
  5. https://www.mofa.go.ug/data/smenu/7/About-us.html?option=smenu&id=7
  6. https://en.wikipedia.org/wiki/ISSN_(identifier)
  7. https://www.refworld.org/docid/3ae6aafb84.html
  8. http://www.newvision.co.ug/D/8/25/464991
  9. https://books.google.com/books?id=XLvU9lroRuUC&q=ambassador+ibrahim+mukiibi&pg=PA1497
  10. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1255302/envoy-investment-promoter
  11. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1118180/museveni-picks-ambassadors
  12. https://www.independent.co.ug/ugandas-ageing-cabinet/
  13. https://allafrica.com/stories/201211220157.html
  14. "Archive copy". Archived from the original on 2019-03-24. Retrieved 2025-10-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  15. 1 2 3 https://www.monitor.co.ug/artsculture/Travel/Adventure--culture-and-nature-meet/691238-2928384-d65s3w/index.html