Imtiaz Sheikh
Imtiaz Sheikh Mungereza omuzannyi wa field hockey mu nga obuvo bwe buli mu Buyindi. Omulimu gwa Sheikh mu kuzannya omuzannyo gwa Hockey guwezezza emyaka egisukka mu 65, ng’avuganya mu kiraabu za hockey ez’omutindo ogwa waggulu ne mu hockey w’ensi yonna. Yeetaba ne mu mpaka z'e Kikopo ky'ensi yonna, mu za European Championships, okuddukanya hockey wa Bungereza n'okutendeka ku mitendera gyonna.
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Imtiaz Sheikh yazaalibwa mu Uganda, e Mbale nga 28 Ogwokubiri, 1947. Kitaawe yazaalibwa Amritsar,mu Buyindi, nga yali omusuubuzi omugagga era munnabyabufuzi. Sheikh okwagala emizannyo mu kusooka yatandikira mu ttena, yali Nnantameggwa wa Uganda Junior ne Open Singles.
Sheikh yatandika okuzannya Hockey ku myaka 12; obusobozi bwe obw’obutonde, ekitone n’obwagazi bwe byayolesebwa ku myaka emito ennyo egyo. Yasomerako mu ssomero lya Mbale Senior Secondary School. Ku myaka 16, yafuuka omuzannyi asinga obuto okwegatta ku ttiimu ya Uganda Hockey Squad.
Imtiaz Sheikh yagenda e London mu 1969 okusoma mu yunivasite. Kyokka oluvannyuma lwa Idi Amin, okugoba Abayindi mu 1972, Sheikh ne famire ye, baawalirizibwa okuviira ddala mu Uganda ne bagenda e Bungereza obutadda.
Omulimu gwe ogwa kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Imtiaz Sheikh yatandika emizannyo gye, n'afuuka nnantameggwa wa kiraabu ya ttena ey'omuntu omu ne South Croydon, South Hampstead Tennis Club [1] ne Wickham Sports Club.
Olumu e Bungereza, Sheikh yasenga e London, ne yeegatta ku Hendon Hockey Club okuva mu 1972 okutuuka mu 1974. Okuva mu 1977, Sheikh okwenyigira kwe mu English field hockey, kwafuuka kwa maanyi era yeetaba mu mpaka za The Men’s National Inter League Championship ezaagatta abawanguzi ba liigi zaabwe ez’ebitundu. Imtiaz Sheikh, yeegatta ku kiraabu ya Blackheath Hockey Club, [2] era n’afuuka Kapiteeni, n’akolaa bulungi nnyo era ne bafuuka abawanguzi b’empaka z’eggwanga ez’omunda eza 1975. [3] Sheikh yeegatta ku kiraabu ya Southgate Hockey Club, era ekikopo ky'empaka za Championship zaawangulwa Southgate. [4] Oluvannyuma yeegatta ku kiraabu ya Slough Hockey Club era n'afuna obuwanguzi obulala. Mu myaka egyaddirira yeegatta ku Indian Gymkhana era ne bawangula empaka z’eggwanga ezaawerako.
Okuvuganya mu mpaka z'eggwanga ez'omunda, ku Crystal Palace National Sports Center, ezaalagibwa ku ttivvi BBC, mu mpaka za Benson and Hedges Championship Cup eza 1977. [5] Sheikh yawangula engule ya zaabu, olw'omutindo omulungi ogw'omuntu kinnoomu mu mupiira ogwasembayo, [6] bwe yateeba ggoolo 4 ku 6.
Sheikh yawangula empaka za County Championships ezaawerako eza Middlesex County, [7] ggoolo ye ey'obuwanguzi yamuwanguza engule ya County mu 1977. [8] [9]
Hockey mu Bungereza
[kyusa | kolera mu edit source]Imtiaz Sheikh yagenda mu maaso n’omupiira gwa Hockey n’agenda ne ttiimu ya England Masters. Baakiikirira Bungereza mu mpaka z'ensi yonna ez'enjawulo, omuli Grand Masters World Cup [10] ne European Championships, n'awangula ebikopo bya Bulaaya 5 ne World Cup 4.
Mu Hong Kong, mu mpaka z'ensi yonna eza Grand Masters, Sheikh yawangula engule y'omuzannyi w'empaka z'ensi yonna, oluvannyuma lw'okuwangula Australia ggoolo 4-1 mu Gwekkumi gwa 2008. [11] [12] Okugatta ku ekyo, mu Real Club de Polo de Barcelona, mu World Cup 2018, [13] Imtiaz Sheikh yawangula engule y'okusinga okuteeba ggoolo ennyingi. [14]
Nga addukanya England Masters, (O65) yawangula World Cup ne European Cups.
Sheikh yaliko Ssentebe wa kiraabu ya LX Club okuva mu 2012 okutuuka mu 2015.
Yaweebwa awaadi ya Pulezidenti; olw’omutindo omulungi n’obuweereza bwe yawaayo okutumbula omuzannyo gwa Masters hockey, nga yamuweebwa ekibiina ekigatta abazannyi ba Masters mu nsi yonna. [15]
Omulimu gwe ogw’obutendesi
[kyusa | kolera mu edit source]Imtiaz Sheikh mutendesi wa Hockey alina ebisaanyizo. [16] Atendese Yunivasite nnyingi, omuli Oxford University, Imperial College London, King's ne Alleyn, Royal Holloway, Guys' Kings ne St Thomas's .
Ebiseera bya leero
[kyusa | kolera mu edit source]Mu kiseera kino Imtiaz Sheikh y’akulembedde England Hockey era maneja w'e kibinja ky'abasajja, abasukka emyaka 65, mu Masters England Hockey. [17] [18] [19] Era yeenyigira nnyo ku mutendera gw’okuzannya.
Asala emizannyo era n'azannyira kiraabu ya Bromley and Beckenham Hockey Club . [20]
Obulamu bw’obuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Imtiaz Sheikh yawasa Zahida, mu 1978, era balina abaana babiri, abalongo, Tahir ne Tahira. Abeera mu kibuga Surrey, ekya Bungereza.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ https://clubspark.lta.org.uk/southhampsteadtennisclub
- ↑ https://sikhsinhockey.com/Default.aspx?id=653526
- ↑ https://sikhsinhockey.com/Default.aspx?id=653526
- ↑ https://galeapps.gale.com/apps/auth?userGroupName=oxfshlib&origURL=https%3A%2F%2Fgo.gale.com%2Fps%2Fi.do%3Fp%3DTTDA%26u%3Doxfshlib%26id%3DGALE%257CCS185172793%26v%3D2.1%26it%3Dr&prodId=TTDA
- ↑ https://www.newspapers.com/image/750594111/?match=1&terms=Imtiaz
- ↑ https://www.newspapers.com/image/259552677/?match=1&terms=imtiaz
- ↑ https://www.newspapers.com/image/750581687/?match=1&terms=Imtiaz%20hendon%20hockey
- ↑ https://www.newspapers.com/image/750594292/?match=1&terms=imtiaz
- ↑ https://www.newspapers.com/image/750608771/?match=1&terms=middlesex%20imtiaz
- ↑ https://wgmahockey.org/world-cup/
- ↑ https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Imtiaz+Sheikh#:~:text=View-,Push%20Magazine%20(October%202008).%20%22World%20Cup%20Player%20of%20the%20Tournament%22.%20Push%20Magazine%20(17)%3A%2058.,-Issues
- ↑ https://lg.wikipedia.org/wiki/Special:ContentTranslation?from=en&to=lg&page=Imtiaz+Sheikh#:~:text=View-,Hadi%2C%20Hassan%20(10%20October%202008).%20%22Mahmood%20Find%20the%20golden%20touch%20for%20England%22.%20The%20Croydon%20Advertiser.%20p.%C2%A068.,-Issues
- ↑ "Grand Masters Hockey World Cup 2018 – WGMA".
- ↑ https://masters.altiusrt.com/people/5431
- ↑ https://www.facebook.com/photo.php?fbid=122099406080806042&set=pb.61574181274203.-2207520000&type=3
- ↑ https://www.englandhockey.co.uk/
- ↑ https://masters.englandhockey.co.uk/international-masters/current-men-s-squads
- ↑ https://masters.englandhockey.co.uk/international-masters/current-men-s-squads
- ↑ https://lindumhockey.co.uk/2018/06/10/kev-white-in-england-over-60s-masters/
- ↑ https://www.brombeckshockey.com/teams/208950/player/imtiaz-sheikh-2785162/51076