Jump to content

International Hospital Kampala

Bisangiddwa ku Wikipedia

International Hospital Kampala ( IHK ) ddwaliro lya bwannannyini mu Kampala mu Uganda era nga liri mu kibiina kya International Medical Group, ekibiina ky’obwannannyini ekisinga obunene mu by’obulamu mu Uganda. [1]

Werisinganibwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Eddwaliro lino lisangibwa Namuwongo mu Divizoni y'eMakindye, mu bukiikaddyo bw’obuvanjuba bwa Kampala mu kiromita nga 6.5, nga ze mayiro 4 ng'okozeseza luguudo, mu bukiikaddyo bw’obuvanjuba bw’eddwaliro lya Mulago National Referral Hospital. [2] Kino kiri nga ku kiromita 3.5, nga ze mayiro 2, ng'oli ku luguudo, mu buvanjuba bw’eddwaliro lya St. Francis Hospital Nsambya. [3] Ensengeka z'eddwaliro lya International Hospital mu Kampala ze zino:0°18'19.0"N, 32°36'40.0"E (Latitude:0.305289; Longitude:32.611112). [4]

IHK yatandika okukola mu 2000, era yatandikibwawo Dr. Ian Clarke, omusawo ow’enjawulo era omukugu mu by’obujjanjabi obw’omu bitundu eby’obutiti, eyazaalibwa mu Northern Ireland. Eddwaaliro lino lyasooka kugulwawo mu kifo ekitono mu Old Kampala, nga terinasenguka mu 2004, kugenda mu maka gebali kati. Okuva lwe lyagulwaawo mu 2000, IHK y'esoose okuteeka munkola ebintu eby'enjawulo mu bintu ebiwerako. Okulongoosa omutima oguggule okwasooka kwakolebwa mu ddwaaliro lino. Era kye kimu ku bifo ebyasooka mu Uganda okulongoosebwa nga bakozesa olupiita te tooci okulaba omubiri gw'omuntu munda oba ky'oyinza okuyita laparoscopic (keyhole). [5]

Mu 2012, IHK yakola endagaano y’okuddukanya eddwaaliro ne Fortis Hospital Group (FHG), esangibwa mu kibuga Delhi ekya Buyindi . Enkolagana eno yaleeta emigaso mingi mu IHK omuli okugabana obukugu n’okutendeka. Mu 2015, emigabo egisinga obungi mu International Medical Group lyaguzibwa CIEL Limited, kampuni esinga okusiga ensiimbi ng'esinziira mu Mauritius, ng’eyita mu kampuni yaayo yonna eya CIEL Healthcare Limited (CHL). [1]

Mu 2020, IHK yakyusa obwannannyini n’ekyusa erinnya n’efuuka CCARE IHK.

Empeereza eziweebwa ku IHK mulimu zino wammanga:  

Enzirukanya y'eby’emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Webwatuukira Ogwokuna mu 2018, obuweereza obw'ekikugu bwebwaali ku IHK. Olukalala terwagwaayo.[6]   Empeereza y’okutaasa abantu ekolebwa munda mu Uganda nga bayita ku nguudo okutuuka mu ddwaaliro ly’eby'obulamu wekiba kisoboka. Ambyulensi za IHK zirina ebikozesebwa byonna era nga zirimu abasawo abalina obumanyirivu abasobola okukola ku mbeera ez’amangu entonotono n’ennene.

Obuvunaanyizibwa bw’ebitongole n’embeera z’abantu

[kyusa | kolera mu edit source]

Kaweefube wa Hope Ward eyatandikibwaawo mu 2006, egenderera okuwa abantu abali mu bwetaavu nga tebasobola kwerabirira, obujjanjabi nga bw’amaanyi. Mu kusooka lwali lutalo lwa bujjanjabi n’okulongoosa olwetongodde, era okukakana nga lufuuliddwa waadi y’abaana kuba kino kyali kyetaagibwa nnyo okusinga. Kati abalwadde bajjanjabirwa ku waadi ezeekuusa ku bitereddwaako esira. Mu balwadde mubaddemu bano wammanga; [7]

  • Abalina ovuvune ku bwongo nga buva ku lutalo Lw'omubukiikakkono gwa Uganda abeetaaga okulongoosebwa nebakyusibwa emibiri [7]
  • Abantu abakulu n’abaana abalina abalina ebizibu ebiva ku kookolo [7]
  • Abantu abakulu n‟abaana abalina ebizibu ebiva ku kawuka akaleeta obulwadde bwa siriimu [7]
  • Okwokebwa n'okulumbibwa okukoleddwa asidi [7]
  • Abalwadde abalina obulwadde bwa fistula [7]
  • Abaana abazaalibwa n'obulemu [7]

Okubeerawo kw’ensimbi eziwebwaawo okudukanya ekifo kino kusalawo abalwadde bameka n’emirundi gye bajjanjabwa. Ensimbi ziva mu ba siponsa (abantu sekinnoomu n’ebitongole) n’okusonda ssente ne IHK, nga bakendeeza ku nsaasaanya okuva ku bitundu 10 ku buli 100, okutuuka ku bitundu 100 ku buli 100.

Abavugirizi abaasooka okugiwagira kwaliko Babulal Ruparelia, Stanbic Bank Uganda ne Bead for Life. Emisinde gya Hope Ward egitegekebwa buli mwaka gy’egimu ku mikolo emikulu.

Ebirala kampuni by'etekako esira mulimu okujjanjaba abalwadde ba siriimu n’akafuba ku bwereere nga bayita mu ddwaaliro lya Touch Namuwongo, enteekateeka ya International Medical Foundation, okubunyisa amawulire mu bantu nga bakolagana n’abalala abawerako n’okuvugirira abasawo ku mikolo gya kampuni zino egy'enjawulo gyebategeka okulaba nga baduukirira abantu ab'enjawulo.

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Staff Writer (24 June 2015). "Ian Clarke Sells Off IHK". Retrieved 27 April 2018.
  2. Template:Google maps
  3. Template:Google maps
  4. Template:Google maps
  5. Bamulanzeki, Nicholas (22 March 2018). "IHK gets regional nod for quality medicare services". Archived from the original on 28 April 2018. Retrieved 27 April 2018.
  6. International Hospital Kampala (27 April 2018). "International Hospital Kampala: Our Services". International Hospital Kampala. Retrieved 27 April 2018.
  7. 1 2 3 4 5 6 7 Health Market Innovations Organisation (27 April 2018). "Hope Ward at International Hospital Kampala". Healthmarketinnovations.org. Archived from the original on 28 April 2018. Retrieved 27 April 2018.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]