Jump to content

Irene Drusilla Namaganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Lady Irene Drusilla Namaganda (omweezi ogw'ekkumi n'ogumu 11, 1896 – mumweezi gw'omwenda nga 15, 1957) ye mukyala eyasooka okufuna ekitiibwa kya Nnabagerekka ( queen consort ) obwakabaka bwa Buganda.Yali Nnabagerekka era mukyala wa Kabaka (kabaka) Daudi Chwa II ne Nnamasole ( maama nnabagereka ) eyasooka eri mutabani we Mutesa II.Yagobwa ku bwa Nnamasole mu musango ogumanyiddwa ennyo mu lujjudde olw’okubeera mumukwano n’omuntu wa bulijjo.

Irene Drusilla Namaganda yazaalibwa mumweezi gw'e kumi n'ogumu nga 11, 1896, muwala wa munnaddiini w’Abangereza Yonasani Kaidzi ne mukyala we Ketula Nakato Kaidzi.Yasomera mu ssomero lya Gayaza High School,eryatondebwawo ekibiina kya Church Missionary Society okusomesa abaana b’abakulu mu Buganda.Yawasa Daudi Chwa mu 1914 nga bombi baalina emyaka kumi na munaana. Yamuwa ekitiibwa ekipya ekya Nnabagerekka mu kifo ky’okumuwa eky’ennono ekya Kaddulubale (omukyala omukulu). Wadde ng’ekigendererwa kyabwe nti obufumbo bwabwe bubeere bwa Kikristaayo nga bugendereddwamu okulaga Buganda okwettanira enzikiriza y’Abangereza,Daudi Chwa yakung’aanya abakyala abalala kkumi na mukaaga n’azaala abaana 36. Bombi baazaala abaana babiri okuli Omumbejja Margaret Juliana Lwantale n’Omulangira Edward Mutesa II.[1]

Daudi Chwa yafa mu 1939. Mutesa omuvubuka ye yafuuka Kabaka eyaddako atte Namaganda n’afuuka Nnamasole.Namaganda teyalwa n’atandikawo omukwano ne Simoni Petero Kigozi,omusomesa w’amasomero eyali amusinga emyaka kkumi na mwenda.Yafuna olubuto ne bafumbiriganwa mu 1941. Emivuyo egy’ebyobufuzi egyabalukawo gyavaamu emisango egy’enjawulo mu kkooti okuva mu 1941 ne 1943,ne gituuka ku ntikko y’abafumbo bano okuwang’angusibwa okuva mu kibuga ekikulu ekya Buganda,Ssaabaminisita Martin Luther Nsibirwa okulekulira, ne Namaganda okwewozaako ku bwa Nnamasole ng’awagira mukulu we Perepetwa Nnaabawesi Kaidzi.[1]

Mu,1949, Namaganda yeegatta ku kibiina ky’Abakristaayo eky’enjawulo ekya Balokole n’afuuka omwogezi omututumufu ku mikolo gy’a Balokole.[1]

Irene Drusilla Namaganda yafa kookolo wa nabaana nga 15 omweezi gw'omwenda 1957 mu kibuga London. [1] [2]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 Musisi, Nakanyike B. (2021-04-26), "Lady Irene Namaganda", Oxford Research Encyclopedia of African History (in Lungereza), Oxford University Press, doi:10.1093/acrefore/9780190277734.013.1010, ISBN 978-0-19-027773-4, retrieved 2025-02-09Musisi, Nakanyike B. (2021-04-26), "Lady Irene Namaganda", Oxford Research Encyclopedia of African History (in Lungereza), Oxford University Press, doi:10.1093/acrefore/9780190277734.013.1010, ISBN 978-0-19-027773-4, retrieved 2025-02-09
  2. Musisi, Nakanyike B. (January 1996). "A Personal Journey into Custom, Identity, Power, and Politics: Researching and Writing the Life and Times of Buganda's Queen Mother Irene Drusilla Namaganda (1896–1957)". History in Africa (in Lungereza). 23: 369–385. doi:10.2307/3171949. ISSN 0361-5413.