Jump to content

Irene Eyaru

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Irene Eyaru yazaalibwa 23 Ogwekkumi 1996. Munnayuganda omuzannyi w'omupiira gw'okubaka ng'akiikirira Uganda mu nsi yonna era azannyira mu kifo ky'okulumba ggoolo. [1] Era mu kiseera kino ye kapiteeni wa Ttiimu y'eggwanga ey'omuzannyo gw'okubaka.

Yasooka kuzannya mu nsi yonna ng’akiikirira Uganda mu 2015. Abadde azannyira mu kilaabu ya KCCA Netball Club okuva mu 2014 era kapiteeni wa kiraabu eno. Yali muzannyi mukulu mu mutindo gwa Uganda ogw’ebyafaayo bwe yawangula omudaali gwa zaabu bwe yali azannya ne South Afrika mu mizannyo gya World Netball University Games egya 2018, bannyinimu Uganda gye bweyangula South Afrika wansi w’obukulembeze bwe nga yaguwangula ne ggoolo 44-43 mu muzannyo ogwali ogw'obunkenke. [2] [3] [4]

Yalondeddwa okwegatta ku Ttiimu ya Uganda mu mpaka za SPAR Challenge Series eza 2021 eza tegekebwa mu South Africa era okukkakkana ng’awangudde ekipande ky’omuteebi asinga mu mpaka zino. [5] [6] Era yali omu kubazannyi mu Ttiimu ya Uganda eyeetaba mu mpaka za Fast5 Netball World Series eza 2022 . [7] Yakiikirira Uganda mu mizannyo gya Commonwealth egya 2022 nga Uganda yamalira mu kifo kyakutaano. [8]

Yadda mu bigere bya Peace Proscovia n'afuuka kapiteeni wa Uganda ng'ebula mbale empaka z'ensi yonna eza Netball World Cup eza 2023 zitandike . [9] [10] Yasooka kuzannya mu mpaka za Netball World Cup South Africa bwe yali ekyaza empaka z'ensi yonna ez'omupiira gw'okubaka eza 2023 Netball World Cup . Yatuuka n’okubeera kapiteeni wa Ttimu y’eggwanga eya Uganda mu mpaka z’ensi yonna eza Netball World Cup eza 2023.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Archive copy". Archived from the original on 2025-05-14. Retrieved 2025-10-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.pulsesports.ug/netball/story/2023-netball-world-cup-she-cranes-irene-eyaru-looking-to-draw-inspiration-from-world-netball-university-win-2023070916244831744
  3. https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/other-sport/uganda-are-world-netball-champions-1779920
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/other-sport/netball-eyaru-optimistic-ahead-of-university-event-1777888
  5. https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/other-sport/eyaru-eager-to-show-off-netball-test-series-success-in-league-3416830
  6. https://chimpreports.com/netball-18-make-she-cranes-provisional-squad-for-cape-town-test-series/
  7. https://netballscoop.com/fast-5-netball-world-series-2022/
  8. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_140181
  9. https://web.archive.org/web/20230829143427/https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_162059
  10. https://www.pulsesports.ug/netball/story/she-cranes-head-coach-fred-mugerwa-names-new-captains-ahead-of-netball-world-cup-2023060113234906961