Jump to content

Isaac Ssemakadde

Bisangiddwa ku Wikipedia

Isaac Ssemakadde mulwanirizi w'eddembe ly’obuntu mu Uganda, eyazaalibwa nga 15 Ogwomwenda 1984. Munnamateeka omutendeke nga yeeyogerako ng’omuntu alowooza mu ngeri etali ya ssaawa era omujeemu mu mateeka. [1] [2] [3] Yalondebwa ku bwapulezidenti bw'ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society nga 28 Ogwomwenda, 2024 ku Speke Resort Hotel, Munyonyo . [3] [4]​ Lumu yayogerwako nga munnamateeka asinga okuyimirira bwe kijja ku kulwanirira ebyetaago by'abantu nga bino byayogerwa aba Uganda Law Society. Agoberera empisa nga eddembe, obumu, obwenkanya, demokulasiya, eddembe ly’obuntu, enfuga y'etteeka, obwenkanya , obwesimbu, obwenkanya n'okugenda mu maaso.

Isaac Ssemakadde era amanyiddwa okuba omukakafu era omwogezi era nga asisinkanye okunenyezebwa olw'embeera ze mu bulamu nga ogyeko okulwanirira eddembe ly'obuntu ku butali bwenkanya olw’ebituli mu nfuga n’okussa ekitiibwa mu nfuga y’amateeka. [5] [6]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Isaac Ssemakadde yatuula ebigezo by'okumaliriza P.7 ebya Primary Living Examinations (PLE) mu ssomero lya Bright Grammar Primary School mu kibuga Masaka gye yavaayo ng’asinga mu Disitulikiti y’eMasaka yonna. Olw’omutindo gwe yakola ogw’ekitalo, yaweebwa sikaala okuwandiisa siniya mu St Mary’s College Kisubi (SMACK). Bwe yali mu SMACK, yali mu bayizi kkumi abasinga, n’olwekyo n’afuna sikaala ya gavumenti mu yunivasite y’eMakerere Kampala gye yeewandiisa okusoma diguli esooka eya Bachelor of Laws . Yaddamu okuvaayo nga asinze banne mu kibiina nga bwe baatikkirwa bonna mu kibiina 2008. [3]

Era yakola obulungamya mu kkooti ensukkulumu eya Uganda, era n’akolera mu Bowman’s AF Mpanga eya munnamateeka omututumufu era Ssaabawolereza w'Obwakabaka bwa Buganda, David Mpanga okumala kumpi omwaka mulamba.

Isaac Ssemakadde ng’ali wamu ne banne be baatandikawo pulojekiti ya Legal Brains Trust nga bakyali bayizi mu ttendekero lya Law Development Center (LDC) eyatandikibwawo mu 2008. Mu kiseera kino, akolera mu kkampuni ya Legal Brains Trust ekola ku by’amateeka okusinga eri abanyigirizibwa mu bitundu gye babeera. [3]

Isaac Ssemakadde yalondeddwa ku bwa Pulezidenti bw'ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society , [4] naawangula n'obululu 2,101 ng'akuba munne Isaac Atukunda eyafuna obululu 898 bwokka. Yadda mu bigere bya Bernard Oundo eyali pulezidenti w’ekibiina ekigatta bannamateeka ekya Uganda Law Society okuva mu 2022. Oluvannyuma lw’okulondebwa, yasuubiza okulwanyisa ebbula ly’emirimu, obuli bw’enguzi n’obutali bwenkanya mu nkola y’obwenkanya mu Uganda, mu kwogera kwe oluvannyuma lw'okuwangula. [2]

Ekiwandiiko kya Poliisi y’ensi yonna eky'okumukwata

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga 19 Ogwokusatu, 2025, kkooti ya Buganda Road Chief Magistrate’s Court mu Kampala yafulumya ekiragiro ekyali kiragira Interpol okukwata Pulezidenti wa ULS, Isaac Ssemakadde, oluvannyuma lw’okulemererwa okulinnya mu kkooti okuggulwako emisango gy’okuyisaamu amaaso ekitiibwa kya Director of Public Prosecutions, Jane Frances Abodo. [7] [8] [9]

Emisango gyakozeeko

[kyusa | kolera mu edit source]

Isaac Ssemakadde munnamateeka omututumufu amanyiddwa olw’okukiikirira abantu ab’amaanyi n’okulwanirira obwenkanya mu Uganda . Mu misango gye egy’enjawulo, yawolereza Dr. Stella Nyanzi, omunoonyereza ow’ekitiibwa mu yunivasite y’eMakerere, mu 2019 era n’akiikirira Pulofeesa Isaiah Omoro Ndiege, eyali Chancellor wa yunivasite y’eKyambogo, ng’awakanya okumugoba. Ssemakadde era akoze kinene mu nnongoosereza mu mateeka, n’ayambako mu kusazaamu obutundu obuli mu tteeka erifuga ebiragalalagala erya Narcotic Drugs and Psychotropic Substances Control Act erya 2016. [5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://observer.ug/lifestyle/71215-lawyer-isaac-ssemakadde-to-his-ex-please-come-back-counsel-misses-you
  2. 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/isaac-ssemakadde-uganda-law-society-president-rebel-4783086
  3. 1 2 3 4 "Archive copy". Archived from the original on 2024-10-07. Retrieved 2025-09-06.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. 1 2 https://uls.or.ug/staff-member/mr-isaac-kimaze-ssemakadde/
  5. 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/ssemakadde-elected-new-uganda-law-society-president-4779302
  6. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/isaac-ssemakadde-uganda-law-society-president-rebel-4783086
  7. https://nymynet.com/why-isaac-ssemakadde-is-facing-an-international-arrest-warrant/
  8. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/court-issues-international-warrant-for-arrest-of-uls-president--4971156
  9. https://observer.ug/news/buganda-road-court-orders-interpol-to-arrest-ssemakadde/