Jump to content

Ismail Ogama

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ismail Ali Ogama (yazaalibwa nga 1 Ogwokuna 1985) Munnayuganda omukugu mu mbeera z'abantu, omukugu ow'ebbaluwa mu by'okuddukanya pulojekiti era munnabyabufuzi. [1] Ye mubaka wa Palamenti eyalondebwa mu Ssaza lya Madi erya wansi, mu disitulikiti ya Arua, [2] era nga ye mukiise w'ekibiina kya National Resistance Movement, ekiri mu buyinza mu Uganda. Ono mmemba ku kakiiko ka Palamenti aka NRM era aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku bakozi ba gavumenti ne gavumenti ez'ebitundu mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi . [3] Yawangulwa Afidra Olema Ronald mu kulonda kwa Palamenti okwa 2021-2026. [4]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. UNRA hands over 3 bridges in Arua.
  2. https://en.wikipedia.org/wiki/Parliament_of_Uganda
  3. http://www.theugandatoday.com/news/2017/02/northern-mps-call-for-beef-and-grazing-police-over-balaalo-invasion/
  4. https://www.parliament.go.ug/file/members-11th-parliament-august-2021