Ivan Edwards

Ivan Edwards musawo enzaalwa ya Uganda oluvannyuma n’afuuka munnansi wa Amerika. Kitaawe yeeyali Teddy Edwards, workshop manager mu Uganda Breweries, ate mama mwe ali Ludmilla Nnabisooli. Bazadde bbe bombi baalina bataata baabwe nga bazungu, ng'ate banyaabwe baali banauganda.[1]. Ali musawo mu ggye lya Amerika erya Air Force Reserve, ku ddaala lya lieutenant colonel.[2] Ye musawo asoose mu ggye ly’omu bbanga ng’ava mu Uganda.[3] Yalwanyisa okutunda essabo ery’ebyafaayo mu Kampala mu Uganda, n’alitaasa obutagulibwa.[4] Ono mwogezi wa lujjudde mu nsi yonna.[5][6] Alina eddwaaliro, alaba n’okujjanjaba abalwadde abafunye obuvune mu kibuga San Antonio mu gwanga ly’e Texas.[7]
Ensibuko n’Ebyenjigiriza
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Kampala mu Uganda, n’abeera eyo mu kiseera ky’obufuzi bwa Idi Amin, omufuzi eyafuga obubi n’okusaanyaawo obulamu bw’abantu bangi.[8] Ku nkomerero y’emyaka gya 1980, yajja mu USA n’afuuka munnansi wa Amerika.[1] Yasomera mu Rivier University, n’atikkirwa diguli eyookubiri mu Biology mu 1999. Oluvannyuma yamaliriza okusoma obusawo mu Midwestern University, e Glendale, Arizona, mu 2004. Mu 2005, yamaliriza emisomo gye egy’obusawo obw’omunda mu Eastern Virginia Medical School, mu Norfolk, Virginia . Oluvannyuma yamaliriza emisomo gye egy’oku ntikko mu by’obusawo bw’omubiri n’okuddaabiriza mu UTHSCSA mu 2008. Oluvannyuma yamaliriza emisomo egy’enjawulo mu ttendekero ly’amagye g’omu bbanga erya United States Air Force School of Aerospace Medicine okufuuka omusawo w’amagye g’omu bbanga alina ebisaanyizo eby’amaanyi.[9][10]

Era mu kiseera kino ye USAF Flight Surgeon, ku ddaala lya Lt. Colonel. Ono muwanguzi w’omudaali gw’okusiima amagye g’omu bbanga ga Amerika ne Oak Leaf Cluster, omudaali gw’abazirakisa abasinga obulungi mu magye, n’omudaali gw’amagye agakuuma.[2][11]
Yatandikawo enteekateeka y’okusponsa abaana abaana abataliiko mwasirizi ne bamulekwa mu Uganda ku ntandikwa y’emyaka gya 1990.[12] Okuva mu 2013 okutuuka mu 2017, yaddukanya enteekateeka z’okuddaabiriza abantu abalina obuzibu bw’obusimu n’obulumi mu kibuga San Antonio mu gwanga ly’e Texas.[13]
Emirimu gy’omukitundu
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2009, Edwards yalwana okukomya okutunda essabo erikadde mu Kampala mu Uganda. Essabo lino eriyitibwa Kampala European Cemetery, mwe baaziikibwa abantu bangi abakulu okuva mu Uganda mu biseera eby’emabega omuli n’abamu ku ba famire ya Edwards.[14] Abantu abamu baali baagala okugula essabo lino okuzimbayo ekifo eky’amaduuka, naye Edwards yali tayagala ekyo kibeerewo. Yatandika okwekalakaasa n’ayingizaamu abantu bangi. Olw’okufaayo okuva mu mawulire g’ekitundu n’obuwagizi bw’abantu b’omu kitundu, essabo lino lyawona okutundibwa. Era kyamanyibwa ng’ekifo eky’ebyafaayo ekyali kyetaaga okukuumibwa.[15][16][17]
Edwards ayogedde ku mikolo gya Uganda Diaspora egy’ensi yonna egitegekebwa buli mwaka mu Kampala mu Uganda. Nga December 30, 2017, yaliko omwogezi ow’enjawulo ku mukolo gw’abagwira mu Uganda, oluvannyuma n’afuna engule ya Ugandan Diaspora Award ng’asiima ebituukiddwaako n’okubunyisa amawulire. Omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda Edward Ssekandi (eyamukwasizza engule) n’omubaka wa Bufalansa mu Uganda mu kiseera ekyo Stéphanie Rivoal baabaddewo.[18][19][20]
Omulimu gw'obusawo
[kyusa | kolera mu edit source]Ng’omukugu mu PM&R, Dr. Edwards ajjanjaba abalwadde abalina ensonga ezikwata ku magumba, ennyondo, ebinywa, obusimu, n’obulumi. Abalwadde be abatonotono bafunye obuvune, obuvune mu mizannyo, omugongo n’obuvune ku bwongo. Essira lye ery’enjawulo kwe kuddaabiriza obusimu n’okujjanjaba obulumi mu ngeri ey’enjawulo.[7]
Okwogera mu Lujjudde
[kyusa | kolera mu edit source]Edwards awagira obulamu bw’abantu, obujjuvu, n’obulungi bw’abantu. Ayogedde mu bifo eby’enjawulo, mu ggwanga n’ensi yonna. Ayogera ku nsonga z’ebyobulamu, okuwona, okwekula, n’okwewa amaanyi. Era alabiseeko ku ttivvi za wano n’ensi yonna era ayitibwa ebitongole eby’enjawulo okwogera mu nkuŋŋaana ennene n’emisomo.[21][22]
Ebirala ebirowoozebwa
[kyusa | kolera mu edit source]Awandiika ku nsonga ez'enjawulo ku mukutu gw'amawulire nga Watchdog Uganda, empapula z'amawulire n'ebirala.[23][24][25][26][27]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Dr. Ivan Edwards, a Ugandan, is a Major in the US Air Force, Serving as a Flight surgeon – Uganda Diaspora News
- 1 2 Alamo Wing flight surgeon receives prestigious fellowship > Joint Base San Antonio > News
- ↑ THE HEALTH SECTOR IN UGANDA - Kmaupdates
- ↑ Uganda: U.S. Soldier to Fight for KCC Cemetery - allAfrica.com
- ↑ Lt. Col. Dr. Ivan Edwards | A Special keynote Speaker at the Diaspora Gala 2017 Edition – Uganda Diaspora News
- ↑ (6) Video | Facebook
- 1 2 True Health Begins With The Mind - Top Doctor Magazine
- ↑ Ugandan immigrant finds rehabilitation in Air Force service
- ↑ Dr Ivan Edwards | ASU Search
- ↑ Dr. Ivan Edwards, DO | San Antonio, TX | Physiatrist | US News Doctors
- ↑ Drs. Edwards, Fredericson, & Haig: In the News, August 25, 2021
- ↑ Nashua Telegraph Newspaper Archives, Nov 24, 1991, p. 2
- ↑ Dr. Ivan Edwards | Becomes an Inducted Fellow of the Royal Society of Arts (RSA) in London | Welcome to the Ugandan Diaspora News Online
- ↑ Uganda: Family Opposes City Cemetery Giveaway - allAfrica.com
- ↑ Uganda: Sebaggala Stops Grave Relocation - allAfrica.com
- ↑ Uganda: KCCA Denies Cemetery Sale - allAfrica.com
- ↑ Uganda: Jinja Road Cemetery to Become Tourist Site - allAfrica.com
- ↑ Diaspora Gala Awards | Maj. Dr. Ivan Edwards Has Accepted to be One of Our Special Guest Speakers For 2017 | Welcome to the Ugandan Diaspora News Online
- ↑ Lt. Col. Dr. Ivan Edwards | A Special keynote Speaker at the Diaspora Gala 2017 Edition | Welcome to the Ugandan Diaspora
- ↑ Diaspora Gala 2017 | Ugandan Diaspora Social Networking Gala Video Highlights & Keynote Speech | Welcome to the Ugandan Diaspora News Online
- ↑ Choosing the right rehab for MS treatment
- ↑ Lt Col Dr Ivan Edwards recognised for excellence in his adopted country USA by Uganda Diaspora Network. | By Maggie | Facebook
- ↑ DR. IVAN EDWARDS: The Silent Killer Is At Work In Uganda – we must mitigate it - Watchdog Uganda
- ↑ DR. IVAN EDWARDS: Issues of the Heart Africa Can No Longer Ignore - Watchdog Uganda
- ↑ DR. IVAN EDWARDS: Imported Diets & Lifestyles Come With A Price - Watchdog Uganda
- ↑ You searched for Ivan Edwards - Watchdog Uganda
- ↑ Texas leaders had no Plan B for power outages. Or even a Plan A