Jump to content

Ivan Lumanyika

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Ivan Lumanyika Jumba (yazaalibwa 28 Ogwomukaaga 1992) munna Uganda azannya omuzannyo ogw'ensero oba basketball ku kiraabu eya City Oilers mu Uganda. [1]

Ku mutendera ogw'ensi

[kyusa | kolera mu edit source]

Lumanyika azannyira ku tiimu ya Uganda mumuzannyo gwensero wakati wamawanga. Lumanyika y'omu ku bazannyi abayamba ttiimu ya Uganda okukiika mu mpaka zamawanga ku ssemazinga Africa eza AfroBasket omulundi ogwasooka mu mwaka 2015. Omutindo ogwayolesebwa Lumanyika nabalala nga Henry Malinga gwayamba Uganda okuwangula tiimu ezenjawulo mu mutendera ogwokusunsula nga muzino mwalimu; Somalia gyebawangula obugoba 85 ku 74 nga 21 Ogwomwenda 2014. [2] Mu muzannyo wakati wa Uganda ne Kenya, yateeba obugoba 15 ne 'rebounds' 11. [3] Olwomutindo gwe yayolesa muzokusunsula, Lumanyika yali omu kubazannyi 20 abaalangirirwa nga 6 Ogwomusanvu 2015 okusobola okufunako abo abaali ab'okukiikirira Uganda mu mpaka za AfroBasket 2015 . [4]

Ebirala ebimukwatako

[kyusa | kolera mu edit source]

Lumanyika asinga kuzannyisa mukono gwa kkono . [5]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]