Ivan Semwanga
Ivan Semwanga (12 Omwezi ogw'ekkumi n'ebiri 1977 - 25 Omwezi ogwokutaano .) Yali nzaalwa ya Uganda omutuuze wa South Africa omwejaasi ayagala ennyo okuba mu butaala .Yali omu kuba mmemba b'ekibiina ekyeyita ki Rich Gang ekimanyiddwa obulungi mu South Africa ne Uganda . Ekibiina kya Rich Gang kyali kyesigamiziddwa ku misingi gyombi egy’obuntubulamu n’obuzirakisa nga gigenderera abavubuka abatalina nkizo okusingira ddala Bannayuganda ababeera mu South Africa . Ba mmemba abalala ab'ekinzo ab'ekibiina beba; Kizibwe wa Ivan Lawrence nagagga munnayuganda ng’asinziira South Africa, ne Eddy Kyeyune. [1] Ekibinja kya kya Rich gang kyetabanga ku mikolo egiwerako mu Uganda ne South Afrika .N'era, Ivan yasiga ensimbi mu matendekero g’ebyenjigiriza mangi mu South Afrika .
Obuto bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Ivan yazaalibwa Nakaliro mu Disitulikiti y’e Kayunga . Awo yagenda e South Afrika okunoonya ku mirimu egisasula ku kasente akawerako, era kigambibwa nti Ivan yakolako ng’omumusawo w'ekinnansimu ssabo mu South Afrika . Yali ayamba bannansi ba South Africa abagagga okugonjoola ebizibu byabwe ng’abisuula ku ttaka n’okubawa amazzi amatukuvu aganaanaaza ebizibu byabwe. Kino kyayamba Ivan okukungaanya obugagga era we yafiira, Ivan yali afunye obugagga ne bizinensi eziri mu bukadde n'obukadde bw'ensimbi omwali Amasomero (mu South Africa), ebisulo by’abayizi, n’emizigo n’ebirala bingi . Ivan yabatizibwa ekya 'taata w'obutaala n'obwejaasijaasi ow'omulembe oguliko mu Uganda kubanga yawa ekisaawe ky'abaagazi b'obutaala n'okwejaaka ekifanayi ekipya. Abaagazi b'obutaala n'abejaasijaasi bonna abaliko kati mu Uganda akazannyo kano baakayiga kuva ku Ivan. [2] Ivan yawasa Zarinah Hassan, amanyiddwa ennyo nga Zari. Abaagalan bano baalina abalenzi basatu nga bali bombi. Mu 2011, Ivan ne Zari baategeka omukolo gw’okwanjula okw'enonno ogwamalawo sillingi za Uganda ezisoba mu kawumbi. Mu 2013, abaagalana bayawukana oluvannyuma lwa Zari okulumiriza Ivan ku butabanguko mu maka Zari yennyigira mu mukwano n'omuyimbi Omutannzaniya ayitibwa Diamond Platinumz mu 2014 era n'ayawukana naye mu 2018. [3] [4] [5]
Byeyatuukako
[kyusa | kolera mu edit source]Ivan yatandikawo amatendekero ga Brooklyn agalina amatabi 6 agabunye mu bitundu by'e Durban Pretoria ne Johannesburg. Amatendekero essira gasinga kulissa mu tekinologiya w'amawulire oba obubaka, eby’okusima eby’obugagga eby’omu ttaka n'obuweereza bwa Poliisi n’ebirala. Mu Uganda, Ivan yali azimba wooteeri ku luguudo lwa Sir Apollo Kagwa, era yalina amayumba agawerako e Bunga, Munyonyo ne Mutungo. Bwogatta pulojekiti ezo zonna awamu kimuleka n’amagobkisaa agasukka mu siringi za Uganda obukadde 700 buli mwezi. Okugatta kwekyo, Ivan yalina ennyumba bbiri enkulu mu Sandton ne Pretoria .
Obuzira kisa
[kyusa | kolera mu edit source]
Ivan yalowoozebwako okubeera ssentebe wa Bannayuganda mu South Afirika . Yayamba abantu abali mu bwetaavu bangi mu South Afirika ne Uganda . Ng’ebula wiiki ssatu afe, yakyalira abaana abataliiko mwasirizi mu kifo kya bamulekwa ekya M-Lisa, Nsambya . Mu kukyala kwe yawaayo ebintu by’awaka ng’ensawo z’omuceere, ssukaali, ssabbuuni, butto n’ebyetaago ebirala bingi eri bamulekwa. N'era buli mulekwa yamuwa siringi za Uganda emitwalo ebiri (Shs 20,000) nga tannadda South Africa gye yafiira. [6] Emabegako, Ivan yawa ttiimu ya Uganda ey'eggwanga ey'omupiira ogw'ebigere (Uganda Cranes) obukadde bw'ensimbi za Uganda kkumi mu mpeke mu mupiira gw'ekikopo ky'amawanga ga Afirika wakati wa Uganda ne Ghana. N'era yasuubizza ttiimu ya Uganda obukadde butaano ku ggoolo zonna ezinaateebwa. Mu ddakiika 90, Uganda Cranes yali ekubye Ghana nga tennasalako peneti. Ekirala, lumu Ivan yaatambuza abawagizi kumi (10) nebyetaago byaabwe byonna mu lugendo okuva e South Afirika okutuuka e Uganda okulaba omupiira gwa Uganda ngevuganya Zambia butereevu mu kisaawe kya Mandela National Stadium (Namboole).
Enfa ye
[kyusa | kolera mu edit source]Ivan yafuna obulwadde bw'omutima oluvannyuma lw'okuva mu Uganda nga tannagenda South Afrika . Ivan yaweebwa ekitanda ku ku ddwaliro lya Steve Biko mu Pretoria eyali mukyala we; Zari gyeyamulabiririra Oluvannyuma yafa ku Lwokuna nga 25 Omwezi ogwokutano 2017 ku makya.
Amaziika ge
[kyusa | kolera mu edit source]Omulambo gw'omugenzi gwakomezebwawo mu Uganda nga 28 Omwezi ogwokutaano 2017 (Ssande). Olumbe lwakumwa mu makaage mu Muyenga, Uganda ekiro ekyo. Omulambo gwa Ivan awo gwatwalibwa mu Lutikko e Namirembe nga 29 Omwezi ogwokutaano 2017 (Mmande) okumusabira mu kkanisa bweyali tannatwalibwa Kayunga okuziikibwa. [7] Ivan yaziikibwa nga 30 Omwezi ogwokutaano 2017( Lwakubiri) mu maka ga bajjajjaabwe e Kayunga, Uganda . bwe yali akyali mulamu, Ivan yategekanga obubaga mwe yamansizanga abantu obupapula bwa sente za South Afirika zi Rands, Siringi za Uganda ne Ddoola za Amerika. Akakodyo ke kamu kaakozesebwa ba mmemba ba Rich gang abaasigalawo nga bamuziika. Kale nno, mu kifo ky’okuyiwa enfuufu mu ntaanaye nga bwe kiri mu nnono y'ekikulisitaayo, aba Rich gang baasuulamu sente za South Afirika zi Rand, Siringi za Uganda ne Ddoola z'Amerika n'omwenge ogwa Champaigne mu ntaana ya Ivan. [8] Bannansi abakwatibwako; Abey Mgugu ne Gideon Tugume baawalawala Kampuni ya A-Plus ekola omulimu gw'okuziika abafu ne Bbanka enkulu eya Uganda mu kkooti enkulu nga basaba ekiragiro nti omulambo gw’omugenzi Ivan guziikulwe era empapula za sente zonna zebaamuziika nazo ziggyibweyo. Baawakanya nti ssente zino zaatyoboolwa. N’olwekyo, baali baagala ziggyibweyo zikomezebwewo zikole omugaso gwazo. Bano bagenda mu maaso n’okukaayana nti ssente za Uganda n’amawanga amalala nga South Africa ne America zirina okussibwamu ekitiibwa so si kumaliriza nga ziziikiddwa. [9] Mu kwanukula, Bbanka ya Uganda enkulu yawandiika ekiwandiiko ekiraga engeri ggyetakyetaaga kuggyayo ssente ziziikiddwa mu ntaana engeri gyezitakyatuukiriza mugaso gwazo. Baategeezezza nti sente zino zaakwatibwa bubi naye era ziyinza okuba nga zaayonooneka, zaakyafuwala oba okukutukakutuka era bwekityo tezijja kuddamu kutuukiriza mugaso ogwazigendererwamu. [10] Ekirala, ennongoosereza zakolebwa mu tteeka lya Bbanka ya Uganda enkulu kubanga eryasooka teryayogera ku kubonereza muntu akwata obubi ssente z’empapula.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Nga wayise ennaku nga Ivan aziikiddwa, engambo zaatandika okuyitingana nti Ivan yajingirira okufa kwe era yali South Africa ng’anyumirwa obulamu. Mu mboozi ey’enjawulo, Zari (eyali mukyala wa Ivan) yayogera engeri mutabani wa Ivan eyafudde gyeyakebereddwa okuva ku kisaawe ky'ennyonyi eky'Entebbe ng’ayita mu nnyonyi y'eggwanga lya South Afirika ng’akozesa erinnya eritali ttuufu ne satifikeeti y’okufa ey’ekicupuli – Ali Sennyomo. Zari era yakakasa enneeyisa ya Ivan ey’okukyusakyusa ennyo endagamuntu ye mu South Afrika okusinziira ku ddiiru zeyali akola. Yali akyakozesa erinnya Ali Sennyomo ng’erinnya lye ettongole we yafiira. Abasawo mu Ddwaliro lya Steve Biko baali bajjanjaba omulwadde ono; Ali Sennyomo era n’omulambo ogwakeberebwa mu kuyingira n'okufuluma ,Ekisaawe ky'ennyonyi eky'Entebe mu Uganda gwali gwa Ali Sennyomo. Zari agenda mu maaso n'okulemerako nti omulambo ogwaziikibwa e Kayunga gwali gwa Ivan yekka , nti ng'akola e South Afirika yali akozesa linnya lya Ali Ssennyomo . Ivan yayinzanga okukyusa nadda ku linnya lya Semwanga buli lwe yatuukanga ku kisaawe ky'ennyonyi eky'Entebe mu Uganda . Kino kyaliwo mu ngendo ze ng’akomawo awaka ku mirimu oba okukyalira abantu naye ku kisaawe kya South Afirika eky'ennyonyi ki Olivier Tambo International Airport, yali Ali Sennyomo. [11]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Ariba, Caroline. "Spendthrift socialite Ssemwanga dies, aged 39". New Vision. Retrieved 25 May 2017.
- Afunah, Badru. "Furious MC Kats Spills Secrets Behind Ivan Semwanga & Rich Gang's Fame". Ug News. Archived from the original on 2 June 2017. Retrieved 25 May 2017.
- "The Life and Times of Ivan Semwanga". May 25, 2017. Archived from the original on 28 July 2017. Retrieved 25 May 2017.
- "The Life and Times of Ivan Semwanga". 25 May 2017. Archived from the original on 28 July 2017. Retrieved 25 May 2017.
- Manishimwe, Wilson (17 February 2018). "Zari dumps Diamond, off to make more boss ladies". New Vision. Kampala. Retrieved 20 February 2018.
- Musungu, Nahashon (15 February 2018). "Zari Hassan Finally Divorces Diamond Platinumz On Valentine's Day". Nairobi News. Nairobi: Nation Media Group. Archived from the original on 20 February 2018. Retrieved 20 February 2018.
- Daily Nation (18 February 2018). "Reasons for Zari's split with Diamond". Daily Nation. Nairobi: Nation Media Group. Retrieved 20 February 2018.
- "Who is Ivan Semwanga". No. Friday, 19 October 2012. Archived from the original on 16 June 2017. Retrieved 25 May 2017.
- Kasadah, Badru. "Zari speaks out on the life and times of Ivan Semwanga". Eagle Online. Retrieved 25 May 2017.
- "Who is Ivan Semwanga". 25 May 2017. Archived from the original on 16 June 2017. Retrieved 25 May 2017.
- Kasoba, William. "Zari in hospital, taking care of ex-hubby Ivan Ssemwanga who is in critical condition". Archived from the original on 19 May 2017. Retrieved 25 May 2017.
- "Ivan Semwanga's Burial Arrangements Set". Retrieved 11 June 2017.
- Bwire, Nelson. "Rich gang splash booze, cash in Semwanga's grave". Archived from the original on 4 July 2017. Retrieved 11 June 2017.
- Ssali, Godfrey. "Ivan 'Don' Ssemwanga funeral money case in court". The Independent. Retrieved 11 June 2017.
- "Rich Gang exempted for throwing money in Sewanga's grave". Retrieved 11 June 2017.
- "Police Stuck in Bid to Recover Monies Buried in Ivan Ssemwanga's Grave". Jun 6, 2017. Archived from the original on 11 June 2017. Retrieved 11 June 2017.
- "Ivan Semwanga had a fake identity, died and buried with different names – Zari spills secrets". The Ugandan. Archived from the original on 17 January 2018. Retrieved 11 June 2017.
- ↑ Afunah, Badru. "Furious MC Kats Spills Secrets Behind Ivan Semwanga & Rich Gang's Fame". Ug News. Archived from the original on 2 June 2017. Retrieved 25 May 2017.
- ↑ Cite error: Invalid
<ref>tag; no text was provided for refs named "auto3". - ↑ Manishimwe, Wilson (17 February 2018). "Zari dumps Diamond, off to make more boss ladies". Retrieved 20 February 2018.
- ↑ Musungu, Nahashon (15 February 2018). "Zari Hassan Finally Divorces Diamond Platinumz On Valentine's Day". Nation Media Group. Archived from the original on 20 February 2018. Retrieved 20 February 2018.
- ↑ Daily Nation (18 February 2018). "Reasons for Zari's split with Diamond". Nation Media Group. Retrieved 20 February 2018.
- ↑ Kasadah, Badru. "Zari speaks out on the life and times of Ivan Semwanga". Eagle Online. Retrieved 25 May 2017.
- ↑ "Ivan Semwanga's Burial Arrangements Set". Retrieved 11 June 2017.
- ↑ Bwire, Nelson. "Rich gang splash booze, cash in Semwanga's grave". Archived from the original on 4 July 2017. Retrieved 11 June 2017.
- ↑ Ssali, Godfrey. "Ivan 'Don' Ssemwanga funeral money case in court". The Independent. Retrieved 11 June 2017.
- ↑ "Rich Gang exempted for throwing money in Sewanga's grave". Retrieved 11 June 2017.
- ↑ "Ivan Semwanga had a fake identity, died and buried with different names – Zari spills secrets". The Ugandan. Archived from the original on 17 January 2018. Retrieved 11 June 2017.