Ivy Claire Amoko
Ivy Claire Amoko munnayuganda omuzannyi w'omuzannyo gwa chess mu Uganda. Mu 2014, yafuuka woman fide Master eyasooka mu bugwanjuba bwa Afirika ( ekimu ku bitiibwa ebitongole ebiweebwa abakazi bokka ekibiina ekitwala omuzannyo gwa Chess mu nsi yonna ). [1] [2]
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Amoko yazaalibwa Stella Arach-Amoko ne Idule Amoko. [3] Yasomera ku Shimoni Demonstration School ku pulayimale n’oluvannyuma St Joseph’s Nsambya (ku misomo egimutuusa ku siniya eyokuna- O-level) ne Nabisunsa Girls (ku misomo egimumazaako siniya eyomukaa- A-level). [3]
`Olugendo lwe mu muzannyo gwa Chess
[kyusa | kolera mu edit source]Amoko yatandika okuzannya chess mu 2007. [4]
Yali muwanguza wa mudaali gwa zzaabu mu muzannyo gwa Chess mu mizannyo gya zi yunivaste mu 2007 ne 2008, ng’azannyira yunivasite y'e Makerere . [5]
Mu 2012, Amoko ne Phiona Mutesi baaweebwa ekitiibwa kya Women Candidate Master oluvannyuma lw’okuteeba ebitundu ataano ku kikumi (50%) ebyetaagisa okuva mu mizannyo omwenda mu mpaka za Chess ezaamakumi ana eza Olympiad mu Istanbul Turkey. Kino kyabafuula abazannyi abakyala abasooka okuwangula engule mu byafaayo bya chess wa Uganda. [6] [7] [8]
Amoko yawangula ku luzannya kwe olwasooka mu mpaka za Rwabushenyi Memorial Chess mu nsengeka y'abakazi mu 2014, oluvannyuma lw’okuwangula emizannyo gyonna omunaana egy’empaka ze n’awamba engule okuva ku Phiona Mutesi . [9]
Mu kuggalawo empaka z'omulundi ogw'amakumi ana mwogumu eza Chess Olympiad mu Tromso mu 2014, Amoko yalinnyisibwa okutuuka ku ddaala lya Woman Fide Master ; ye mukyala eyasooka okufuna ekitiibwa kino mu Buvanjuba bwa Afirika. [1] [2]
Mu kiseera kino azannya ne kiraabu ya Chess eya Kireka Panthers Chess mu liigi ya Uganda ey'omuzannyo gwa Chess [10]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 "Uganda's Ivy Amoko becomes first Woman Fide Master". Kawowo Sports. August 15, 2014. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "auto" defined multiple times with different content - 1 2 "Chess Players List - 365Chess.com". www.365chess.com. Retrieved 2022-03-19. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "auto1" defined multiple times with different content - 1 2 Isabirye, David (2014-01-06). "Meet Ivy Amoko, A Chess Playing Law Clerk". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2022-03-19.
- ↑ "From Slum Girl to World Chess Prodigy". Inter Press Service. 2013-05-28. Retrieved 2022-03-19.
- ↑ David Isabirye (6 January 2014). "Meet Ivy Amoko, A Chess Playing Law Clerk". Kawowo.com. Retrieved 4 August 2020.
- ↑ Corry, Phillip (2012-09-09). "Uganda gets first titled lady players". Kawowo Sports News.
- ↑ Corry, Phillip (10 September 2012). "Wanyama becomes Uganda's sixth FIDE Master at World Chess OIympiad". Kawowo Sports News. Archived from the original on 14 September 2012.
- ↑ Odongo, Jacinta (2012-09-11). "Mutesi, Amoko set to become Candidate Masters". Daily Monitor (in Lungereza). Archived from the original on 2020-07-24. Retrieved 2020-07-24.
- ↑ "KNOW YOUR STARS: Ivy Amoko - The 1st East Africa Female Chess Fide Master". Kawowo Sports (in American English). 2015-01-23. Retrieved 2022-03-19.
- ↑ "Chess League: More than 50 players grace fourth round". Monitor (in Lungereza). 2021-11-17. Retrieved 2022-03-19.
"Uganda's Ivy Amoko becomes first Woman Fide Master". Kawowo Sports. August 15, 2014.
- "Chess Players List - 365Chess.com". www.365chess.com. Retrieved 2022-03-19.
- Isabirye, David (2014-01-06). "Meet Ivy Amoko, A Chess Playing Law Clerk". Kawowo Sports (in American English). Retrieved 2022-03-19.
- "From Slum Girl to World Chess Prodigy". Inter Press Service. 2013-05-28. Retrieved 2022-03-19.
- David Isabirye (6 January 2014). "Meet Ivy Amoko, A Chess Playing Law Clerk". Kampala: Kawowo.com. Retrieved 4 August 2020.
- Corry, Phillip (2012-09-09). "Uganda gets first titled lady players". Kawowo Sports News.
- Corry, Phillip (10 September 2012). "Wanyama becomes Uganda's sixth FIDE Master at World Chess OIympiad". Kawowo Sports News. Archived from the original on 14 September 2012.
- Odongo, Jacinta (2012-09-11). "Mutesi, Amoko set to become Candidate Masters". Daily Monitor (in Lungereza). Archived from the original on 2020-07-24. Retrieved 2020-07-24.
- "KNOW YOUR STARS: Ivy Amoko - The 1st East Africa Female Chess Fide Master". Kawowo Sports (in American English). 2015-01-23. Retrieved 2022-03-19.
- "Chess League: More than 50 players grace fourth round". Monitor (in Lungereza). 2021-11-17. Retrieved 2022-03-19.