Jump to content

Jack Maumbe Mukhwana

Bisangiddwa ku Wikipedia

Jack Maumbe Mukhwana (18 Ogwokubiri 1939 – 27 Ogwokubiri 2017) yali Munnayuganda munnabyabufuzi, omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu, omulwanyi w'olutalo era nga Mulwanirizi w'abantu. Ono y’omu ku baatandikawo ekibiina ky’ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement (NRM) ekibiina ky'obufuzi mu Uganda ekikulemberwa Pulezidenti Yoweri Museveni . [1] [2] [3]

Obulamu bw'obuto

[kyusa | kolera mu edit source]

Jack Maumbe Mukhwana yazaalibwa mu maka agalimu abakazi abangi e Busiu mu disitulikiti y’e Mbale mu buvanjuba bwa Uganda kyokka oluvannyuma n’asengukira ku kyalo Mabanga mu Gombolola ya Bungokho, mu Parish ya Busilikori. Yasomera mu Nabongo Primary School, Nabumali SSS era n’asembayo mu Makerere University eno nga gyeyasisinkanira mukyala we Beth Maumbe era naamuwasa mu 1970. Yalina abaana mukaaga. [4] [5] [6] [7] [8] [9]

Omulimu gw’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Yalwana mu lutalo lw'okununula eggwanga okulwanyisa gavumenti ya nnakyemalira eya Idi Amin . Yali muyeekera w’ekibinja ekyali kimanyiddwa nga Front for National Salvation (FRONASA) ng’ali wamu n’abaazirwanako abalala nga Museveni eyali omukulembeze mu kiseera ekyo. Era yali mulwanirizi w'abantu ng’akola ng’omukutu wakati wa bannabyabufuzi b’obuvanjuba bwa Uganda ne gavumenti eya wakati mu biseera by'obutakkaanya n’okuwakanya. Mu kiseera ekimu mu lutalo lw’okununula, ajjukirwa nnyo olw’okukweka n’okukuuma Pulezidenti Museveni okuva ku bajaasi ba Idi Amin abaali beesomye okutta bannakibiina kya FRONASA bonna abaali abayeekera mu kiseera ekyo. Mu 1986 Jack yalondebwa okuba Minisita omubeezi ow’amawulire ate oluvannyuma n’afuuka omubaka wa palamenti mu disitulikiti y’e Mbale. [10] [11]

Yafa kookolo w'ekyenda nga 27 Ogwokubiri 2017. [12] [13]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://observer.ug/viewpoint/51614-tribute-to-maumbe-mukhwana
  2. https://theugandan.com/tag/jack-maumbe-mukhwana/
  3. https://chimpreports.com/tag/jack-maumbe-mukhwana/
  4. https://www.watchdoguganda.com/news/20170227/14308/nrm-historical-member-jack-maumbe-mukhwana-passes-on.html
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2024-05-01. Retrieved 2025-07-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://allafrica.com/stories/201704240021.html
  7. https://web.archive.org/web/20190504090635/http://dispatch.ug/2017/03/04/mbale-municipality-mp-maumbe-died-poor-man/
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2024-05-01. Retrieved 2025-07-28.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://ugandaradionetwork.net/story/mps-pay-tribute-to-maumbe-mukhwana
  10. https://www.newvision.co.ug/tag/jack-maumbe-mukhwana/
  11. https://web.archive.org/web/20190621193207/https://www.ditclip.com/new-vision-tv/LssDW3v9l_Y.html
  12. https://www.youtube.com/watch?v=OwQcwlSLhVs
  13. https://www.monitor.co.ug/News/National/Former-FRONASA-fighter-Maumbe-Mukhwana-succumbs-to-cancer/688334-3830486-93vh85z/index.html