Jack Odur Lutanywa
Endabika
Jack Odur Lutanywa Munnayuganda munnabyabufuzi eyaweereza ng'Omubaka wa palamenti owa Kibanda South County mu Disitulikiti y'e Kiryangong mu palamenti ya Uganda ey'omulundi ogw'ekkumi. [1] Yawangulwa Karubanga Jacob Atenyi mu kulonda kw'ababaka ba Palamenti okwa 2021 mu kitundu kya Kibanda South. [2]
Mu mwaka gwa 2020 Jack Odur Lutanywa yaleeta mu Palamenti ebbago ly'etteeka erikyusa Ssemateeka nga lyali lyasaba okukkiriza ekika kyaba Maragoli ng'ekimu ku bika enzaalwa mu Uganda . [3]