Jack Sabiiti
Jack Crissy Sabiiti (yazaalibwa 27 Ogwokuna 1947) musomesa mu yunivasite mu Uganda, omukugu mu kuddukanya emirimu gya Gavumenti era munnabyabufuzi. Yaliko omubaka mu Palamenti owa Rukiga County, mu ttundutundu lya Kigezi sub-region [1] era nga y'omu ku batandisi b'ekibiina kya FDC, ekibiina ekivuganya gavumenti mu Uganda. Ye muwanika omukulu owa FDC eyasooka nga kati akola nga omuwanika w'ekibiina mu Disitulikiti y'e Kabale.
Yakiikirira abalonzi ba Rukiga County mu Palamenti ey’omusanvu n'ey’omwenda era nga yali mmemba w’olukiiko olwabaga Ssemateeka wa Uganda owa 1995. Mu Palamenti ey’omwenda, yaweerezaako nga ssentebe w’akakiiko akakola ku bakozi ba gavumenti ne gavumenti ez’ebitundu era nga mmemba w’akakiiko k’embalirira y'eggwanga so nga mu Palamenti ey’omusanvu, yali mumyuka wa ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku kubala ebitabo bya gavumenti era mmemba w’akakiiko k’embalirira n’akakiiko k’ensonga z’ebweru. [2]
Obuto bwe n’okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Sabiiti yazaalibwa mu muluka gw'e Mparo, mu ggombolola y'e Rwamucucu, mu Disitulikiti y’e Kabale nga 27 Ogwokuna, 1947 mu maka ag'enzikiriza y'Ekkanisa ya Uganda mu Bakiga. Ye wookubiri ku baana abataano abaazaalibwa bazadde baabwe era muganda w’omugenzi Dr. Jimmy Kamugisha. Kitaawe, Festo Bakainaga yali mulimisa ate nnyina Tabitha Rwomushana yali nnansi(musawo). Jjajjaawe ku ludda lwa kitaawe, Sirasi Kikooko yali mukulu wa Gombolola ate jjajjaawe owa nnyina, Tomasi Rwomushana, yali mukulu wa Ssaza.
Pulayimale yagisomera mu disitulikiti y'ewaabwe e Kabale ku ssomero lya Kihanga Primary School ne Nyakisoroza Primary School gye yali omukulembeze w'abayizi era lumu yakulemberamu okwekalakaasa ng'awakanya omusomesa w'okubala agambibwa nti kirabika yali takola bulungi mulimu gwe.[3] Yafuna ebbaluwa ya P7 mu 1961, oluvannyuma ne yeegatta ku Kigezi High School gye yasooka okusisinkana eyali Gavana wa Bank of Uganda Emmanuel Tumusiime-Mutebile n’afuna satifikeeti y'eddaala lya Junior Secondary School mu 1963.
Mu 1964, yeegatta ku Old Kampala Senior Secondary School okusoma mu Siniya, n'afuna ebbaluwa ya Siniya eyookuna mu 1967 n'eya Siniya eyoomukaaga mu 1969. Ku ssomero lino erya gavumenti, yali mukulembeze w’abayizi, ssentebe w’ekibiina ekikubaganya ebirowoozo ku ssomero era nga mmemba w’ekibiina kya katemba.
Sabiiti yeeyongerayo mu yunivasite y'e Makerere gye yavuganya n'alemererwa okufuuka pulezidenti w'abayizi, wabula n'atikkirwa mu 1973 ne diguli esooka mu byobufuzi n'okuddukanya emirimu gya gavumenti eya Bachelor of Arts in Political Science and Public Administration. Mu 1977, yeegatta ku yunivasite ya Dalhousie University ku sikaala era n’afuna diguli eyookubiri mu kuddukanya emirimu gya gavumenti mu 1978. Mu ttendekero lino ery'e Canada, yali mmemba ku kakiiko k’abayizi abaasomerangayo nga bava mu nsi ez'ebweru.
Mu 1982, Sabiiti yatendekebwa ng’omuserikale w’amagye mu Libya mu kiseera ky'olutalo lw'ekiyeekera era emyaka bwe gyayitawo, yafuna satifikeeti ez’enjawulo nga muno mwalimu: satifikeeti y’enkola n’okuddukanya amafuta ga gavumenti n’amakolero g’ebyokusima ebyobugagga eby’omu ttaka okuva mu Duke University mu 1993; satifikeeti y’okukebera n’okwekenneenya pulojekiti okuva mu American University mu 1994; satifikeeti y’okuddukanya emirimu etunuulidde ebyavaamu okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute (UMI) mu 1998; satifikeeti y’okugula ebintu n’okuddukanya ensimbi okuva mu kitongole ekiddukanya emirimu mu buvanjuba n’obugwanjuba bwa Afrika (ESAMI) mu 1999; satifikeeti ya gavumenti ez’ebitundu ku by’ensimbi n’okuddukanya emirimu okuva mu Institute for Public-Private Partnerships (IP3) mu 2003 ne satifikeeti y’okuddukanya obutonde bw’ensi mu bitundu okuva mu LIFE Academy mu 2005.
Emirimu gye n’ebyobufuzi
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvannyuma lw’okufuna diguli ye esooka mu 1973, Sabiiti yakola nga administrative officer mu minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu, minisitule y’ebyokwerinda ne ofiisi ya Pulezidenti. Era yaweerezaako nga kaminsona wa disitulikiti mu disitulikiti ezaaliwo okuli Acholi, Bukedi ne Madi okutuusa mu 1981.
Mu lutalo lw’ekiyeekera olwaliwo ku ntandikwa y'emyaka gya 1980 yaddukira e Nairobi n’akola ng’omusomesa atali wa nkalakkalira Nairobi University (UoN) era nga maneja w’ebyensimbi n’enzirukanya y’emirimu mu kkampuni ya CA Libirds & Associates, okutuusa mu 1984 lwe yafuna omulimu ng’omusomesa ow’enkalakkalira mu USIU Africa.
Mu 1985, Sabiiti yaliko omwogezi w’ekibiina kya Uganda Freedom Movement (UFM) mu nteeseganya z’emirembe ezaavaako okuwandiika endagaano ya Nairobi eya 1985. Mu mwaka gwe gumu, yagenda e Budaaki ne famire ye era n’akola nga maneja w’ebyensimbi n’enzirukanya y’emirimu mu kitongole kya Netherlands Refugee Foundation. Bwe yakomawo, yaweereza nga mmemba ku lukiiko olufuzi olw'ekitongole ky'amazzi mu ggwanga ekya National Water and Sewerage Corporation (NWSC) okuva mu 1988 okutuuka mu 1995 era nga mmemba w’olukiiko olwabaga Ssemateeka wa Uganda owa 1995.
Okuva mu 1995 okutuuka mu 1998, yayongera okuweereza nga mmemba w’olukiiko olufuzi olw’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi ekya National Environmental Management Authority (NEMA) n’oluvannyuma n’akola ng’omuwandiisi ow'ekyama mu minisitule y’ettaka, amazzi n’obutonde bw’ensi, minisitule y’amasannyalaze ne minisitule y’ebyamateeka ne ssemateeka okutuusa mu 2001 lwe yalondebwa okuba omubaka mu Palamenti ow’essaza ly’e Rukiga mu Palamenti ey’omusanvu eya Uganda. [3]
Mu 2002, oluvannyuma lw’okulonda kwa bonna okwa 2001, Sabiiti n’ababaka abalala abatonotono baateeka Palamenti ku nninga okussaawo akakiiko okunoonyereza ku butabanguko obwali mu kulonda kwa pulezidenti n'okw'ababaka ba palamenti okwa 2001. [4] Mu 2005, ng’omumyuka wa ssentebe w'akakiiko ka PAC, [5] yatandikawo ebbago eryaviirako ofiisi y’omubalirizi w’ebitabo bya gavumenti okwetongola okuva ku lukiiko olufuzi olwa Kabineti.
Olw’okuwangulwa mu kalulu ka 2006, Sabiiti yaweebwa omulimu ng’omuwi w’amagezi mu ttendekero lya International Republican Institute (IRI) mu 2007. Wakati wa 2008 ne 2010, yakola ng’omusomesa omujjuvu mu ssomo lya political economty mu Kampala International University (KIU). [6]
Mu 2011, yadda mu palamenti ng’omukiise w’essaza ly’e Rukiga. Mu Palamenti ey’omwenda, yaweereza nga ssentebe w’akakiiko ka gavumenti ez’ebitundu akakola ku kubala ebitabo, mmemba w’akakiiko k’ebyensimbi n’embalirira era nga Minisita ow'ekisiikirize wa Minisitule y'abakozi ba Gavumenti.
Mu kalulu ka 2016, yawangulwa Herbert Kabafunzaki nga kati akola nga omusomesa omujjuvu mu Kampala international University era mu mirimu emirala, akola ng’omuwanika omukulu owa FDC mu Disitulikiti y’e Kabale. [7]
Ebirala ebimukwatako
[kyusa | kolera mu edit source]Jack Sabiiti mufumbo ne Stella Mystica Sabiiti era balina abaana bana: Ritah Asiimwe Sabiiti, Moses Rwomushana Sabiiti, Jason Ntaro Sabiiti ne Tabitha Kentaro Sabiiti. Ye muyima w'ekibiina ekigatta abaasomerako mu Old Kampala SSS ekya Old Kampala Students Association era atuula ne ku lukiiko olufuzi olw'ekitongole ky'amazzi mu ggwanga. Mukwano nnyo gwa Dr. Ruhakana Rugunda, Gen. Moses Ali.
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebiwandiiko ebikozeseddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "SABIITI JACK". Parliament of Uganda.
- ↑ Kasasira, Risdel (23 January 2014). "My family endured persecution, exile and survived poisoning – Jack Sabiiti's son". Daily Monitor.
- 1 2 Bisiika, Asuman (3 May 2004). "Sabiti's political path shaped his world view". New Vision. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "JCS6" defined multiple times with different content - ↑ Borzello, Anna (14 March 2001). "Uganda's Museveni leads in 'rigged' elections". The Guardian.
- ↑ "Uganda: Sh11bn Unaccounted for Annually --Public Accounts Committee". New Vision. 30 October 2001.
- ↑ "Upsets in Parliamentary Race". Daily Monitor. 25 February 2006.
- ↑ "Powerful voices of the 1970s and 1980s long gone or silent: Part 4". eagle online. 14 August 2015.