Jump to content

Jacklyn Jolly Tukamushaba

Bisangiddwa ku Wikipedia

Jacklyne Jolly Tukamushaba Munnayuganda, munnabyabufuzi, y'amyuka Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP) mu bugwanjuba bwa Uganda .[1][2][3][4]

Obuto bwe n’okusoma

[kyusa | kolera mu edit source]

Tukamushaba bamuzaala ku kyalo Kigara B, Kamwezi Sub‐county, mu Disitulikiti y’e Rukiga . Yasomera mu Kamwezi Primary School ne St. Theresa Secondary School oluvanyuma neyeyongerayo nafuna Dipulooma mu Business Education okuva ku National Teachers College Kabale ne diguli ya Bachelor of Commerce okuva ku Makerere University, oluvannyuma n'amaliriza diguli eyookubiri mu by'obusuubuzi ku Uganda Martyrs University e Nkozi .[5][6][7][8]

Omulimu gw’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Tukamushaba awereza ng’omumyuka wa Pulezidenti w’ekibiina kya National Unity Platform (NUP) mu bugwanjuba bwa Uganda. Mu gwekkumi 2025, yasunsulwa okuvuganya mu NUP ku kifo ky’omubaka omukyala mu disitulikiti y’e Rukiga kyokka n’awangulwa mu kulonda okwaliwo mu gwoluberyeberye 2026.[1][9]

Mu gwokubiri 2026, Tukamushaba bamuzaayo mu kkomera e Luzira ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu n'okukola effujjo.[1][3]

Emirimu emirala n'ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Tukamushaba nga tannawebwa bukulembeze mu kibiina kya National Unity Platform (NUP), yali akola nga mubalirizi wabitabo n’okusomesa. Yasomesa mu masomero ga siniya mu kitundu era yeyakwata nga ensimbi n’okuddukanya emirimu gy'obukulembeze mu World Vision Rukiga Area Development Program ne mu kitongole kya Community Efforts for Child Empowerment (CECE).[7][1][5]

  1. 1 2 3 4 "Missing NUP deputy president for western Uganda arraigned in court, remanded". Monitor (in Lungereza). 2026-02-06. Retrieved 2026-02-08.
  2. ↑ "Uganda: Post Election Assault on Political Opposition" (in Lungereza). Human Rights Watch. 2026-01-28. Retrieved 2026-02-08.
  3. 1 2 Ssebugwawo, Sulaiman. "NUP Deputy President Jolly Jacklyne Tukamushaba Remanded Until February 24". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2026-02-08.
  4. ↑ "Muwanga Kivumbi appointed NUP Buganda Deputy President". The Independent Uganda (in American English). 2025-01-16. Retrieved 2026-02-10.
  5. 1 2 Kimeze, Ruth (2022-06-06). "Jacklyn Jolly Tukamushaba eyes Rukiga Woman MP seat". The East African Watch (in American English). Retrieved 2026-02-08.
  6. ↑ "Tukamushaba was picked up from home". Monitor (in Lungereza). 2021-02-06. Retrieved 2026-02-08.
  7. 1 2 Tumwijukye, Gideon (2025-05-05). "How Abduction Propelled Jolly Jacklyn Tukamushaba into Political Prominence". The Source Reports (in Lungereza). Retrieved 2026-02-08.
  8. ↑ Nantaba, Lukia. "Another Jolly for NUP in Western Uganda". Nilepost News (in Lungereza). Retrieved 2026-02-08.
  9. ↑ "VIDEO: We live in fear, says family of missing NUP deputy president". Monitor (in Lungereza). 2026-01-31. Retrieved 2026-02-08.