Jump to content

Jackson Kafuuzi

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Jackson Karugaba Kafuuzi Yazalibwa 25 Ogwokuna 1977 Munnayuganda, munnabyabufuzi aweereza nga Mmemba wa Paalamenti aliko akiikirira konsityuwensi y'e Kyaka ey'Obukiikaddyo mu Disitulikiti y'e Kyegegwa mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkuminemu.[1][2][3]

Okutandika nga 14 Ogwekkuminebiri 2019, yali aweereza ng'omumyuka wa Ssaabawolereza wa Uganda, mu kabineeti ya Uganda . [4]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Kafuuzi yazaalibwa nga 25 Ogwokuna 1977 mu Disitulikiti y'e Kyegegwa mu kitundu ky'e Toro mu Buggwajuba bwa Uganda . Yasomera mu ssomero lya St. Joseph's Primary School e Nabbingo. N'asomera mu ssomero lya St. Maria Goretti Secondary School okumaliriza Siniya ey'okuna era n’afuna satifikeeti ya Uganda Certificate of Education mu 1995. Mu 1998, yamaliriza emisomo gye egya Siniya ey'omukaaga n’afuna satifikeeti endala eya Uganda Advanced Certificate of Education . [1]

Yayingizibwa mu Ssettendekero wa Makerere, Yunivasite ya gavumenti esinga obukadde n'obunene mu Uganda, n’atikkirwa mu 2002 n’afuna Diguli mu mateeka . Omwaka ogwaddako, yafuna Dipuloma mu kukwasisa amateeka, okuva ku Law Development Centre, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda, era n'akkirizibwa mu kibiina ky'abannamateeka mu Uganda. [1]

Emirimu gye nga tannetaba mu by'abufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Okumala emyaka 13, okuva mu 2003 okutuuka mu 2016, Jackson Kafuuzi yali munnamateeka mu kkampuni ya bannamateeka eya Rwakafuuzi & Company Advocates, esangibwa mu Kampala. [1]

Emirimu gye egy’ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Kafuuzi yayingira ebyobufuzi bya Uganda eby’okulonda bwe yavuganya ku kifo ky’omubaka wa konsityuwensi ya Kyaka ey'Obukiikaddyo mu 2011 ku tikiti ya FDC kyokka n’awangulwa munna NRM eyali avudde mu busomesa ku Yunivasite y’e Makerere. Oluvannyuma yasalawo okwesimbawo ku tikiti ya NRM mu 2016 n’awangula akalulu. Oluvannyuma yaddamu okuwangula mu 2021 nga tavuganyiziddwa era mu kiseera kino ye mubaka mu Paalamenti akiikirira Essaza ly'e Kyaka ey'Obukiikaddyo. [5] Mmemba mu kibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement . [1]

Nga 14 Ogwekkuminebiri 2019, yalondebwa mu kabineeti ya Uganda ng’omumyuka wa Ssaabawolereza wa Uganda, ekifo kye yalondebwamu omukulembeze w'eggwanga lya Uganda Yoweri Kaguta Museveni . [4] Oluvannyuma lw'okukkiriza Paalamenti, okulayizibwa kwe kwaliwo nga bwe kwali kutegekeddwa ku Lwokubiri nga 11 Ogwokubiri 2020. [6] [7]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]