Jacqueline Asiimwe
Jackie Asiimwe-mwesigwa,( amanyikiddwa nga Jacqueline Asiimwe) (yazaalibwa March 1970), munnamateeka w'addembe ly'obuntu mu Uganda era omuwabuzi w'eddembe ly'obuntu. Mu kiseera kino ye ssentebe w'ekibiina kya East African Philanthrophy Network (EAPN) era akulira ekitongole kya Civsource Africa, ekitongole ekigabi kyobuyambi kye yatandikawo mu 2017.[1][2][3]
Mukiseera kye kimu aweereza nga ssentebe w'ekitongole kya International Center for Research on Women Uganda, ekikolagana n'ekitongole kya International Center for Research on Women ICRW, ekisangibwa mu Washington, DC, Amerika. Jacqueline mmemba ku kakiiko k'ensi yonna aka ICRW. Era yaliko omumyuka w'omukulembeze w'ekitongole kya Civil Society Capacity Building Programme, ekiyambibwako European Union, okuva mu 2007 okutuuka mu 2009.[4]
Obulamu bw'obutu n'obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Asiimwe yazaalibwa mu March wa 1970 mu ddwaaliro ly'e Mengo Hospita mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu. Bazadde be ye Reverend Benon Mugarura ne Mrs Joye Mugarura.[1]
Asiimwe yasomera mu Mengo Primary School gye yasomera P7 mu 1983. Okuva mu 1984 okutuuka mu 1989 yeegatta ku ssomero lya Gayaza High School erisinga obukulu mu Uganda, gye yasomera seniya ye yona .Alina ddiguli mu mateeka eyamuwebwa Makerere University, yunivasite esinga obunene era esinga obukulu mu yunivasita z'agavumenti mu Uganda.[1]
Asiimwe alina Postgraduate Diploma mu by'amateeka gye yafunye okuva mu ttendekero lya Law Development Centre mu Kampala. Ddiguli ye ey'okubiri mu mateeka yamuwebwa essomero lya Georgetown University Law School mu Washingtom, D.C.[1]
Omulimu
[kyusa | kolera mu edit source]Ng'akyali mu yunivasite ye Makerere, Jacqueline yafuuka mmemba mu kibiina kya Uganda ekya Federacion International De Abogadas (FIDA) (International Federation of Women Lawyers).[5]
Asiimwe yakolako ng'omulwanirizi w'eddembe ly'abakyala mu Uganda Women's Network (UWONET). Mu kiseera kino, yakolagana n'abakazi bangi abalwanyisa obumenyi bw'amateeka, okutulugunya abantu mu maka, n'okusobya ku baana.[6][7][8][9][10]
Era yakolako nga maneja w'ekitongole ky'omuyambi atamanyikiddwa, omumyuka w'omuwandiisi w'ekitongole kya European Union Civil Society Capacity Building Programme, Chief executive Officer wa Uganda Women's Network, Fellow, ekitongole ekirwanirira eddembe lya'bakyala ekya Human Rights Watch. Asiimwe ye Chief Executive Officer wa CivSource Africa, ekitongole ekivunaanyizibwa ku nkolagana n'okuwagira emirimu gy'ebitongole by'obwannakyewa n'ebitongole by'obwannakyewa mu Afirika. Ekitongole kino kinoonyereza naddala ku nkolagana n'okuwagira obukulembeze bw'omubitundu oba Afiraka era kiwa obuyambi ku mbeera n'enteekateeka.[11][12][13][14]
Assimwe era yawerezaako nga ssentebe w'ekitongole kya Uganda ekikolagana n'ekitongole kya Internation Center for Research on Women. Y'omu ku bammemba ku kakiiko ka Femme Forte, Project Soar ne East Africa Philantrophy Network. Era yaweerezako nga maneja wa Uganda mu Wellspring Advisors, kkampuni y'Abamerika ebuuliriza ku by'obuwangwa.[15][16]
Asiimwe amanyiddwa olw'okulwanirira eddembe ly'abakyala, si mu Uganda mwokka wabula ne mu nsi yonna.[1] Yeenyigira mu kampeyini ya "Black Monday"; ekikola ekyatandibwawo ebitongole ebyenjawulo kulwanyisa obuli bw'enguzi mu Uganda.[17]
Obwammembe obw'obuyigirize n'enkolagana
[kyusa | kolera mu edit source]Jacqueline Asiimwe mmemba w'ebibiina n'ebitongole bino, (a) Uganda Association of Women Lawyers (FIDA), (b) the Uganda Charpter of the Internation Coach Federation (c) memmba wa Forum for Women in Democracy (FOWODE) (d) mmemba wa Gayaza Old Girls Association (GOGA) (e) mmemba wa Uganda Feminist Forum (UFF) ne (f) mmemba wa Law ne Advocacy for Women in Uganda (LAW Uganda)
Obumanyirivu mu kwebuuza ku bantu
[kyusa | kolera mu edit source]GiZ Human Rights Program, Global Rights Alert,[18] Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA), OXFAM GB Pan African office-Nairobi, UN Women, Forum for Women in Democracy, DFID, International Centre for Research on Women, HIVOS, OSIEA, SHARP, European Union Delegation in Kenya, Ministry of Justice Kenya, African Union Women and Gender Directorate, Action Aid International, National Democratic Institute ne British Council Uganda.[19]
Famire
[kyusa | kolera mu edit source]Jacqueline yafumbirwa Peter Mwesige, munnamawulire nga 22 December, 2002 mu Perryman, Maryland, Amerika. era nebazaala abatabani babiri mu bufumbwo bwabwe. Obufumbo buno bwasaanyizibwawo mu butongole mu lutuula lwa Kkooti Enkulu eya Uganda mu Kampala mu Uganda nga 30 November, 2021. Abafumbo bano bakkirizibwa okulabirira abaana baabwe ababiri wamu.[20]
Ebibiina ebirala
[kyusa | kolera mu edit source]Asiimwe mmemmba wa Fellow of the Women's Rights Division of Human Rights Watch.[21]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ 1.0 1.1 1.2 1.3 1.4 https://observer.ug/lifestyle/56620-jackie-asiimwe-has-climbed-five-mountains
- ↑ https://www.andariya.com/post/on-giving-and-generosity-an-interview-with-jacqueline-asiimwe
- ↑ https://www.icrw.org/news/tara-abrahams-and-jacqueline-asiimwe-to-join-icrw-board/
- ↑ https://www.icrw.org/news/tara-abrahams-and-jacqueline-asiimwe-to-join-icrw-board/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/OpEd/Commentary/16-Days-Activism-Against-Gender-Based-Violence--hope-redress/689364-5365914-p1thbq/index.html
- ↑ https://edition.cnn.com/2020/05/15/africa/uganda-domestic-violence-as-equals-intl/index.html
- ↑ https://www.hrw.org/reports/2003/uganda0803/6.htm
- ↑ https://mulerasfireplace.com/2099-2/
- ↑ https://books.google.com/books?id=p3msSO2dBUAC&q=Jacqueline+Asiimwe+yale&pg=PA178
- ↑ https://www.independent.co.ug/interview-jacqueline-asiimwe-finding-human-rights-calling-early/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-10-05. Retrieved 2025-04-13.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1513918/social-enterprises-neglected-uganda
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1507905/corruption-threatening-space-csos-east-africa
- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/1508804/women-reject-hike-nomination-fees
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2020-06-26. Retrieved 2025-04-13.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://reigniteafrica.org/become-a-mentor/2018-professional-mentors/13913817_10154478251664009_8269218016286923927_o/
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/The_Observer_(Uganda)
- ↑ https://www.civsourceafrica.com/our-workmitooma2
- ↑ https://www.newvision.co.ug/articledetails/1127895
- ↑ http://nilepost.co.ug/2021/12/01/dr-peter-mwesige-wife-part-ways-after-20-years-in-marriage/
- ↑ https://www.hrw.org/report/2003/08/13/just-die-quietly/domestic-violence-and-womens-vulnerability-hiv-uganda