Jump to content

Jacqueline Kyatuheire

Bisangiddwa ku Wikipedia

  

Jacqueline Kyatuheire (yazaalibwa 30 Ogwokutaano 1973) Munnayuganda omukugu mu mbeera z'abantu era munnabyabufuzi. Yaliko omubaka wa Paalamenti ya Uganda ng’akiikirira Disitulikiti y’e Kanungu wansi w’ekibiina kya National Resistance Movement [1] [2] [3] [4] [5] okuva mu 2002 okutuuka mu 2011 lwe yawangulwa Elizabeth Karungi. [6] [7]

Obuto bwe n'emisomo gye

[kyusa | kolera mu edit source]

Jacqueline yazaalibwa nga 30 Ogwokutaano 1973 mu Disitulikiti y’e Kanungu okuva mu maka g’abawala bataano ku kyalo okumpi ne Democratic Republic of Congo. Yakuzibwa nnyina ali obwannamunigina. [3]

Jacqueline yatikkirwa diguli eya bachelor of Arts degreebin Social Science mu 1997.

Ebirala bye yakola

[kyusa | kolera mu edit source]

Mu Gwokusatu 2004, Jacqueline yatongoza ssemateeka w’ekibiina ky’abayizi abakulu ekya Bishop Comboni old students Association mu Kampala . [8]

Yatandikawo essomero ly'ekisulo erya abawala bokka erya St Teresa .

Emirimu gye egy'ebyobufuzi

[kyusa | kolera mu edit source]

Nga tannaba kuyingira by'abufuzi, Jacqueline yaliko omuyambi w’akulira enzirukanya y’emirimu mu Disitulikiti y’e Rukungiri .

Yawangudde ekifo ky’omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y’e Kanungu mu Paalamenti n’obululu 2,859 nga yawangula Catherine Musinguzi eyafuna obululu 2,325. [9] Yali omu ku bakubiriza b'ekibiina kya Kanungu district Image Group, ekyasisinkana Pulezidenti Museveni mu maka g'obwa Pulezidenti e Entebbe okulaga obukakafu bwabwe mu kumuwagira mu kwesimbawo mu 2016. [10]

Jacqueline akola nga omumyuka w’omuwanika w'ekibiina kya NRM mu ggwanga, [11] [12] [13] ekifo kye yalondebwa Yoweri Kaguta Museveni nga ye ssentebe wa NRM era ne kikkirizibwa akakiiko akafuzi aka Central Executive Committee mu Gwomukaaga 2020, [14] [15] [16] [17] ng’adda mu bigere bya Keneth Omona. [18]

Olukalala lw’abakiise mu Paalamenti ya Uganda ey’omunaana

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_139757
  2. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  3. 1 2 "Archive copy". Archived from the original on 2024-03-12. Retrieved 2025-11-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  5. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/nrm-fronts-kwizera-for-bukimbiri-by-election-3898794
  6. https://chimpreports.com/team-appointed-by-museveni-at-nrm-secretariat-is-solid-competent-tumwebaze/
  7. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/nrm-unveils-new-team-to-spearhead-campaigns-1896068
  8. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_139757
  9. https://en.wikipedia.org/wiki/Rukungiri_District
  10. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_139757
  11. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_139757
  12. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  13. https://www.newvision.co.ug/articledetails/undefined
  14. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/nrm-fronts-kwizera-for-bukimbiri-by-election-3898794
  15. https://chimpreports.com/team-appointed-by-museveni-at-nrm-secretariat-is-solid-competent-tumwebaze/
  16. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_139757
  17. https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_139757
  18. https://eagle.co.ug/2020/06/21/dombo-kasamba-eat-big-in-new-nrm-changes/

Ebijuliziddwamu w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]