James Bukomeko
James Bukomeko (yazaalibwa 1968) yali mulabirizi Omukulisitaayo / Omupolotesitante mu Uganda eyaweereza mu Uganda. Yeeyali Omulabirizi w'e Mityana owokutaano [1] okuva mu 2010.
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Bukomeko yazaalibwa nga 1 Omwezi ogwekkuminoogumu,19kibiina ky'abalabirizi 68 mu Luweero era yasinganyo obuto mu baana kkumi na babiri.Yasomera ku Yunivasite ya Uganda Christian University .Yafuna ddiguli eyokubiri mu by'obwa Katonda ( Divinity ) okuva mu Yunivasite ya Uganda Christian University ne Dipuloma ku mutendera ogwa waggulu mu kukulembera n'okukwasaganya abakozi okuva mu ttendekero lya Uganda Management Institute era ne ddiguli esooka ey'ebyenjigiriza ne dipuloma mu by'enjigiriza okuva mu Yunivasite y'e Nkumba.N'era yalina ssatifikeeti ey'ekikungu okuva mu Yunivasite y'e Heartfordshire.Yaweebwa ekitiibwa ky'obwa dokita okuva mu bbanguliro ly'obusuubuzi erya London Bridge Business School. Yatuuzibwa mu 1996. Aweerezako e Kireka, Namasuba, Kansanga, Namirembe, Maganjo ne Nansana.
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Omulabirizi Bukomeko yatuuzibwa ku budinkoni ne ku busumba mu 1994. Yaweereza mu biti eby'enjawulo mu bulabirizi bw'e Namirembe omuli okuba omusumba n'omumyuka wa vviika.Yatukuzibwaeranaatuuzibwaku bulabirizi nga 2 Omwezi ogwokubiri 2020 ku lutikko ya Andereya Omutukuvu. Yalondebwa ng'omulabirizi wa Mityana owookutaano ng'asikira Rt Rev Dr Stephen Kazimba Mugalu eyalondebwanga nga ssaabalabirizi w'ekkanisa ya Uganda ow'omwenda. Okulonda kwakolebwa ekibiina ky'abalabirizi ab'ekkanisa ya Uganda (House of Bishops) ekyatuula ku Namirembe Guest House nga 7 Omwezi ogwekkuminoogumu 2019.
Obufumbo bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Yawasa Rose Bukomeko mu 1996. Katonda abawadde ezadde ly'abaana bataano omuli n'abalongo ab'obuwala
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- New Vision
- "Mityana Diocese". Archived from the original on 2021-02-28. Retrieved 2020-03-01.
- "Rev. Bukomeko James elected 5th Bishop of Mityana Diocese". Monitor. 2020-09-11. Retrieved 2025-09-10.
- ↑ "Mityana Diocese". Archived from the original on 2021-02-28. Retrieved 2020-03-01.