Jump to content

James Isabirye Mugoya

Bisangiddwa ku Wikipedia

James Isabirye Mugoya, amanyiddwa nga James Isabirye oba James Mugoya, engineer era musuubuzi Munnayuganda. Ye mutandisi, nannyini era omukulembeze ow'okuntikko owa kkampuni enzimbi eya Mugoya Constuction Company Limited.[1] Mu 2012, yateekebwa ku lukalala ng'omu ku bantu abasinga obugagga mu Uganda.[2]

Obuvo bwe n’okusoma kwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Mugoya yazaalibwa mu ttundutundu ly'obuvanjuba bwa Uganda, awo nga mu 1950. Yasomera mu King's College Budo nga tannayingira Yunivasite ya Nairobi, gye yafunira diguli esooka mu bwayinginiya bw'okuzimba.[3]

Ng'ali ku yunivasite mu Nairobi mu myaka gy'e 1970, yafuuka mukwano gw'omu ku batabani ba Pulezident Daniel Arap Moi . Oluvannyuma lw’okutikkirwa, yatandika kkampuni enzimbi eya Mugoya Construction and Engineering Company Limited. Okusinziira ku mikutu gy’amawulire ag'empapula mu Kenya ne Uganda, bizinensi ya Mugoya yaweebwa kontulakiti za gavumenti n’ezobwannannyi ensava nnyingi mu kiseera kino. Yagaggawala nnyo.[1][3]

Oluvanyuma lw’enkyukakyuka mu gavumenti e Kenya, kkampuni ya Mugoya gye yatandikibwawo era ng’eno bizinensi ezisinga gye zaali zisangibwa, kontulakiti(Contract) zaatandika okukendeera era Mugoya n’akola enteekateeka z’okusengukira mu Uganda.[4][5][6].Mu kiseera kye kimu kkampuni ya Nsimbe Estate Venture gyeyali atandise n'ekittavvu ekitereka ensimbi z'abakozi (Ekya Uganda) ab'obuyinza mu Uganda baagirandirira obutaba mu mateeka era n'eyimirizibwa

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Kisero, Jandi (24 March 2012). "Mugoya's Ksh342m award and the art of cowboy contracting". The EastAfrican. Nairobi. Retrieved 11 March 2016.
  2. Michael Kanaabi, and Ssebidde Kiryowa (6 January 2012). "The Deepest Pockets". New Vision. Kampala. Retrieved 11 March 2016.
  3. Olita, Reuben (3 August 2007). "Tycoon Mugoya charged in Nairobi". New Vision. Kampala. Retrieved 11 March 2016.
  4. Otuki, Neville (6 June 2013). "Tycoon Mugoya's fortunes dwindle with winding-up plan". Business Daily Africa. Nairobi. Retrieved 11 March 2016.
  5. Juma, Paul (14 August 2012). "Court freezes Mugoya firm's bank accounts". Daily Nation. Nairobi.
  6. Obore, Chris (24 July 2011). "NSSF in secret deal to pay off Mugoya". Daily Monitor Mobile. Kampala. Archived from the original on 13 November 2014. Retrieved 11 March 2016.
  1. 1 2 Kisero, Jandi (24 March 2012). "Mugoya's Ksh342m award and the art of cowboy contracting". Retrieved 11 March 2016.
  2. Michael Kanaabi, and Ssebidde Kiryowa (6 January 2012). "The Deepest Pockets". Retrieved 11 March 2016.
  3. 1 2 Olita, Reuben (3 August 2007). "Tycoon Mugoya charged in Nairobi". Retrieved 11 March 2016.
  4. Otuki, Neville (6 June 2013). "Tycoon Mugoya's fortunes dwindle with winding-up plan". Retrieved 11 March 2016.
  5. Juma, Paul (14 August 2012). "Court freezes Mugoya firm's bank accounts".
  6. Obore, Chris (24 July 2011). "NSSF in secret deal to pay off Mugoya". Archived from the original on 13 November 2014. Retrieved 11 March 2016.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]