Jump to content

James Kakooza

Bisangiddwa ku Wikipedia

James Kakooza munnayuganda omubalirizi w'ebitabo era munnabyabufuzi . Yaliko Minisita omubeezi ow'ebyobulamu avunaanyizibwa ku bujjanjabi obusookerwako mu Uganda okuva mu mwaka 2009.[1] Kakooza yaliko omubaka wa paalamenti akiikirira Kabula County mu Disitilukiti Lyantonde okuva mu mwaka 2001 okutuuka mu mwaka 2016.[2] Kakooza mubaka wa Uganda mu paalamenti y'omukago gw'Amawanga g'obuvanjuba bwa Afirika eyitibwa EALA[3][4]

Yazaalibwa nga 18 Ogwokubiri 1962, mu Disitulikiti y’e Lyantonde .

Alina diguli ya Bachelor of Business Administration (BBA) okuva mu yunivasite e Nkumba . Alina ne Diploma mu kutambuza ebyamaguzi, wamu ne Satifikeeti mu by'emisolo okuva mu kitongole ekiwooza ki Uganda Revenue Authority . Alina olukusa olwa Certified Public Accountant olumusobozesa okubalirira ebitabo mu Kenya .[5]

Obumanyirivu mu mirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

James Kakooza akozeeko mu mirimu egyenjawulo mubitongole ebyenjawulo kwossa nebifo eby'enjawulo mu gavumenti. Wakati wa 1989 ne 1990, yali wabyansimbi mu Karibu Forex Bureau ekimu ku bibanda by'ensimbi mu Kampala . [6] Wakati wa 1991 ne 1992, yakola nga Banking Officer mu Sembule Bank mu biro bino eyitibwa Bank of Africa. Bwe yava kubyokukola mu bbanka yayingira mu mirimu gy'okutambuza ebyamaguzi okubisaza ensalo okuva mu 1992 okutuuka mu 2001. Wakati wa 1994 okutuuka mu 2001, yakola nga avunaanyizibwa ku nzirukanya ya bizinensi mu kkampuni ya Kabale Distributors Limited. Kakooza yaliko ssenkulu w'ekibiina ekitaba abasuubuzi abayingiza n'okufulumya ebweru w’eggwanga ekya Uganda Importers and Exporters Traders Association. Mu 2001, yayingira ebyobufuzi eby'okuvuganya era n’alondebwa nga omubaka mu Palamenti ya Uganda akiikirira Kabula County, mu Disitulikiti y’e Lyantonde. Yaddamu okulondebwa mu kifo kye kimu mu 2006. Yalondebwa okuba Minisita omubeezi ow'ebyobulamu avunaanyizibwa ku bujjanjabi obusookerwako nga 16 Ogwokubiri 2009.

Obuvunaanyizibwa obulala

[kyusa | kolera mu edit source]

James Kakooza yaliko memba ku kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku kulondoola emirimu mu bitongole wamu n'amakampuni ga Gavumenti.

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. https://ugandaradionetwork.net/story/minister-kakooza-refuses-to-hand-over-health-ministry-car?districtId=553
  2. http://www.parliament.go.ug/index.php?option=com_wrapper&Itemid=37
  3. https://www.parliament.go.ug/news/3386/among-calls-united-east-africa-eala-sitting-moves-kampala
  4. https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/joy-tears-drama-as-mps-elect-nine-representatives-for-eala-3967488
  5. http://www.parliament.go.ug/index.php?option=com_wrapper&Itemid=37
  6. "List of Licensed Foreign Exchange Bureaus in Uganda" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2010-01-19. Retrieved 2010-04-02.