Jump to content

James Katorobo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Pulofeesa James Katorobo yaliko Munnabyabufuzi w'ekibiina ky'amawanga amagatte okuva mu Uganda era yaliko omusomesa mu yunivasite e Makerere mu Kampala .

Katorobo yali muwabuzi omukulu mu by’ekikugu ku kitebe ky’ekibiina ky’Amawanga Amagatte mu New York ng’avunaanyizibwa ku kitongole ekiddukanya emirimu, enkulaakulana n’enfuga [1] wansi w’enteekateeka y’ekibiina ky’amawanga amagatte ey’enkulaakulana (UNDP). Era yali kitundu ku minsani y’ekibiina ky’Amawanga Amagatte ey’abawabuzi mu Rwanda amangu ddala ng’ekittabantu kyakakolebwa mu 1994 nga tannagenda mu kibiina ky’Amawanga Amagatte mu New York mu 1997.

Katorobo bwe yali mu New York, yalina omulimu omutono ogw’okulabirira ebyetaago n’obuyambi e Somalia mu lutalo lwayo olw’omunda . Yakola okuva e Nairobi, mu Kenya, olw’effujjo eryali mu jjembe lya Afrika . Yakolagana n’ekibiina ky’Amawanga Amagatte mu East Timor, era yateranga okukyalira amawanga gano gombi ng’asimbudde mu New York.

Katorobo yafuna diguli eyokusatu (PhD) mu by’okunoonyereza ku Afirika okuva mu ttendekero lya Massachusetts Institute of Technology (MIT) mu 1975. [2] [3] [4] [5] [6]

Ebiwandiiko ebikozesebwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. UNDP; foreword by Eimi Watana (28 Jun 2013). "UNDP CAPACITY ASSESSMENT AND DEVELOPMENT In a Systems and Strategic Management Context - Capacity assessment and development.pdf" (PDF). Management Development and Governance Division, Bureau for Development Policy, UNDP. Retrieved 5 Dec 2014.{{cite web}}: CS1 maint: multiple names: authors list (link)
  2. José Oscar Monteiro (11 Dec 2002). "Public Administration and Management Innovation in Developing Countries" (PDF). United Nations. Archived from the original (PDF) on 5 December 2014. Retrieved 5 Dec 2014.
  3. James Katorobo (8 Apr 2011). "allAfrica.com: Uganda: Performance Contracts Will Not Work in the Public Service". AllAfrica. Retrieved 5 Dec 2014.
  4. "For GMO Use in Eastern Africa, Regulation or Elimination? - Nourishing the Planet". WorldWatch Institute. 7 Dec 2010. Archived from the original on 5 September 2014. Retrieved 5 Dec 2014.
  5. Boris Demodov (25 Jul 2005). "The Study of Best Practice in Civil Service Reforms by James Katorobo - Zunia.org". Zunia.org. Archived from the original on 2014-12-07. Retrieved 5 Dec 2014.
  6. United Nations (1 Apr 2010). Reconstructing Public Administration After Conflict: Challenges, Practices ... - Google Books. United Nations. ISBN 9789211231823. Retrieved 5 Dec 2014.