James Mulwana
James Mulwana (24 Omwezi ogw'omusanvu 1936 – 15 Omwezi ogusooka 2013) yali munnayuganda omusuubuzi .Yeeyali ssentebe era omukulembeze owokuntikko ow'ekibinja kya kkampuni mu Mulwana ( Mulwana Group of companies ) ,bizinensi ez'enjawulo nnyingi nga ziri mu kulunda ente z'amata pulasitiika okukola ebintu, n'okugula n’okutunda ettaka n’ebizimbe. Okuva mu 1992 okutuusa lwe yafa mu 2013, Mulwana yaweereza nga dayirekita atali mukulu (non executive director) ku lukiiko olufuzi olwa Standard chartered Uganda, bbanka y’ebyobusuubuzi eyokubiri mu bunene mu ggwanga, okusinziira ku by’obugagga. Yeeyali ssentebe w’olukiiko olwo okuva mu 1998 okutuuka mu 2013,. [1] Mu kiseera we yafiira, yateekebwa ku lukalala ng’omu ku basinga obugagga mu Uganda . [2]
Obuvo bwe n’obuyigirize
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaalibwa mu Buganda nga 24 Omwezi ogw'omusanvu 1936. Yasomera mu Mengo Senior School, mu bukiikakkono bw’amaserengeta (northwest) ga Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekisinga obunene. Oluvannyuma yasomera ku Aggrey Memorial School, nga nalyo liri mu Kampala. Ku myaka emito, yatandika okwenyigira mu kuyingiza ebyamaguzi n’okubifulumya ebweru w’eggwanga. Mu 1961,ku myaka 25, yatandika kkampuni ye entongole eyasooka, eya Associated Battery Manufacturers Limited, ng’akolagana ne Chloride (UK) Plc.. [3] [4]
Amakampuni mu Mulwana
[kyusa | kolera mu edit source]Olukalala lwa bizinensi ze yalina kwaliko zino wammanga: [5]
Mu 1961, ku myaka 25, yakolagana ne Chloride (UK) Plc . okutondawo kkampuni ya Associated Battery Manufacturers Limited. Oluvannyuma, bizinensi eyo yafuuka Uganda Batteries Limited, kkampuni esinga okukola bbaatule mu Uganda. Mulwana yatwala obuyinza bwa bizinensi eno obusinga obungi mu 1991 .
Nice House of Plastics Limited ye kkampuni gye yatandikawo mu 1970. Ekola bintu bya pulasitiika omuli obusennya amannyo, obutebe, amabaafu , ebidomola , n’ebikopo ebinywerwamu.
Jesa Mixed Farm Limited yatondebwawo mu 1988. Esangibwa kumpi ne Busunju, kilo mmita nga 57 (35 mi), ng'okozeseza luguudo, mu bukiika kkono bwa Kampala, ku luguudo lwa Kampala-Hoima.[6]
Nsimbe Estate Limited yatandikibwawo mu 1992, ng’ekolagana n’omuguzi w'emigabo omukujjukujju okuva mu Bugirimaani.Kkampuni erima , elongoosa nokutwala ebimuli ebisale ebweru w'eggwanga.
Jesa Farm Dairy yatandikibwawo mu 1994. Efumba, elongoosa, n’okupakinga amata era ekola amata amapaakinge, bbata, bbongo, ne ayisi kuliimu.
Jesa Investments Limited, kkampuni y'obusuubuzi egula, etunda n'okukulaakulanya ettaka n'ebizimbe. Yatandikibwawo mu 2002.
Okufa
[kyusa | kolera mu edit source]Ku ntandikwa y'Omwezi ogusooka 2013, James Mulwana, eyafunanga okwekebejjebwa kw'abasawo okwa buli kiseera okuva mu London ne Thailand, yayingira eddwaliro lya Nakasero Hospital, eddwaliro ly’obwannannyini ery’omulembe mu Kampala, ng'alumizibwa mu lubuto. Ku ssaawa kkumi ez'ekiro, ekyakeesa olwokubiri nga 15 Omwezi ogusooka 2013, yafiira ,mu ddwaaliro. [7]
Okusinziira nga bweyayagala , omulambo gwe gwaziikibwa mu maka ga bajjajjaabe ku kyalo Masiriba mu Disitulikiti y’e Mityana, okumpi
n’akabuga k'e Bukomero . [8] Yaleka nnamwandu omu, Sarah Mulwana, abaana ab’obuwala babiri; Primrose Mulwana ne Barbara Mulwana n’omutabani omu Geoffrey Mulwana, omusika. Baagenda mu maaso n’okuddukanya bizinensi z’amaka oluvannyuma lw’okufa kwe. [9] [10]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- Kasoma, Aloysious (15 January 2013). "James Mulwana Is Dead". The Independent (Uganda). Archived from the original on 24 September 2015. Retrieved 8 December 2014.
- Michael Kanaabi, and Ssebidde Kiryowa (6 January 2012). "The Deepest Pockets". New Vision (Kampala). Retrieved 8 December 2014.
- Michael Kanaabi, and Ssebidde Kiryowa (6 January 2012). "The Deepest Pockets". New Vision (Kampala). Retrieved 8 December 2014.
- Ladu, Ismail Musa (16 January 2013). "A Businessman Who Stayed True To His Humble Origins". Daily Monitor. Kampala. Archived from the original on 22 December 2015. Retrieved 10 December 2014.
- Peter Nyanzi, Joan Akello, and Aloysious Kasoma (19 Gusooka 2013). "James Mulwana 1936-2013". The Independent (Uganda). Archived from the original on 3 Gwakuna(Kafuumuulampawu) 2015. Retrieved 8 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 2014.
- GFC. "Road Distance Between Kampala And Busunju With Map". Globefeed.com (GFC). Retrieved 9 December 2014.
- Ismail Musa Ladu, and Dorothy Nakaweesi (16 January 2013). "Renowned Businessman James Mulwana Is Dead". Daily Monitor (Kampala). Archived from the original on 4 March 2016. Retrieved 9 December 2014.
- Malaba, Tom (16 January 2013). "Museveni: Mulwana Was A Man of Action". Uganda Radio Network (URN). Retrieved 10 December 2014.
- Ntambaazi, George (19 January 2013). "Ten Great Things About The Late Dr. James Mulwana". New Vision (Kampala). Retrieved 9 December 2014.
- Francis Kagolo, and Carol Kasujja (17 January 2013). "Family Promises To Keep Mulwana Dreams". New Vision (Kampala). Retrieved 10 December 2014.
- ↑ Kasoma, Aloysious (15 January 2013). "James Mulwana Is Dead". Archived from the original on 24 September 2015. Retrieved 8 December 2014.
- ↑ Michael Kanaabi, and Ssebidde Kiryowa (6 January 2012). "The Deepest Pockets". Retrieved 8 December 2014.
- ↑ Mbanga, Jeff (16 January 2013). "The Untold Story of James Mulwana". Retrieved 9 December 2014.
- ↑ Ladu, Ismail Musa (16 January 2013). "A Businessman Who Stayed True To His Humble Origins". Archived from the original on 22 December 2015. Retrieved 10 December 2014.
- ↑ Peter Nyanzi, Joan Akello, and Aloysious Kasoma (19 Gusooka 2013). "James Mulwana 1936-2013". Archived from the original on 3 Gwakuna(Kafuumuulampawu) 2015. Retrieved 8 Gwakkuminebiri(Ntenvu) 2014.
- ↑ GFC. "Road Distance Between Kampala And Busunju With Map". Globefeed.com (GFC). Retrieved 9 December 2014.
- ↑ Ismail Musa Ladu, and Dorothy Nakaweesi (16 January 2013). "Renowned Businessman James Mulwana Is Dead". Archived from the original on 4 March 2016. Retrieved 9 December 2014.
- ↑ Malaba, Tom (16 January 2013). "Museveni: Mulwana Was A Man of Action". Uganda Radio Network (URN). Retrieved 10 December 2014.
- ↑ Ntambaazi, George (19 January 2013). "Ten Great Things About The Late Dr. James Mulwana". Retrieved 9 December 2014.
- ↑ Francis Kagolo, and Carol Kasujja (17 January 2013). "Family Promises To Keep Mulwana Dreams". Retrieved 10 December 2014.