Jump to content

James Mutende

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

James Shinyabulo Mutende yazaalibwa nga 26 Ogwokubiri, n'afa nga 2 Ogwekumi mu 2015) yali Munnayuganda omusawo w'ebisolo, omukugu mu by'enfuna, omusomesa era munnabyabufuzi. Yeeyali Minisita Omubeezi ow’amakolero mu Kabineti ya Uganda okuva nga 27 Ogwokutaano mu 2011 okutuusa lwe yafa. Yadira Faaza Simon Lokodo mu bigere eyali yalondeddwa okubeera Minisita Omubeezi ow'Empisa n'obutebenkevu mu ofiisi ya Pulezidenti.[1] Okugata ku ky'okubeera minisita wa kabineeti, James Mutende era yali Mubaka wa Paalamenti eyali amannyikiddwa. [2]

Obulamu bwe n'eby'enjigiriza

[kyusa | kolera mu edit source]

Mutende yazaalibwa Mbale, nga 26 Ogwokubiri mu 1962. Oluvannyuma lw’okusomera mu masomero g’omu kitundu, yakirizibwa mu Busoga College Mwiri, esomero lya siniya ery’ekisulo erya balenzi bokka okulinaana Kakira mu Disitulikiti y’e Jinja . Yatikkirwa okuva mu Busoga College Mwiri, ne satifikeeti eyali eraga nti yali amaliriza Siniya Ey'okuna mu 1980 ate n’afuna ne Satifikeeti eyali eraga nti yali amaliriza Siniya Ey'omukaaga mu 1983. Mu 1984, yaweebwa ekifo ku Makerere University okusoma obusawo bw’ebisolo, n’atikirwa mu 1988 ne diguli mu By'okujanjaba Ebisolo. Mu 1999, yaweebwa diguli ey'Okubiri mu By'okudukanya Bizineensi, nga nayo yagigya ku Makerere University. Oluvannyuma, mu 2005, yafuna Diguli Ey'okusatu mu By’enfuna okuva mu New School University mu kibuga New York. [2] Yafa nga 2 Ogwekumi 2015. [3]

2013-DG Li ne Minisita wa Uganda Omubeezi ow’amakolero Shinyabulo-Mutende

Yatandika emirimu gye ng'omumyuuka w'omusomesa ku Makerere University mu 1987, mu biseera by'omwaka gwe ogwaali gusembayo ogwa diguli ey'okubiri, gye yagenda mu maaso n’omulimu gwe gumu okutuusa mu 1989. Okuva mu 1989 okutuuka mu 1994, yakola nga maneja mu gamu ku matabi ga Uganda Commercial Bank eyali eya gavumenti mu kiseera ekyo . Okuva mu 1988 okutuuka mu 2009, yakolagana n’ekitongole kya Uganda Investment Authority ng’akulira bamusigansimbi. Okuva mu 2003 okutuuka mu 2005, yakola diguli ye ey’okusatu mu New York, ng’akola ng'ow'ekiseera ng’omumyuuka wa pulofeesa mu by’enfuna ku The New School era mu kiseera kye kimu ng’akola okunoonyereza ku nkulaakulana y’eby'ensimbi mu ofiisi z’ekibiina ky’Amawanga Amagatte mu kibuga New York. [2] Mu Gwokutaano 2011, yalondebwa okuba Minisita Omubeezi Ow’amakolero ne Tekinologiya. [4]

Mutende yava mu famire eyali abantu abaakuguka mu bintu eby'enjawulo, nga muno mwemwali ne bannabyabufuzi. Kitaawe Michael Mutende ye yali Town Clerk wa Uganda eyasooka mu Munisipaali y’e Mbale, okuva mu 1964 okutuuka mu 1974. Kojja we James Francis Wapakhabulo yali minisita wa Uganda ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga we yafiira mu 2004. Mutende eyalina diguli ey'okusatu mu by’enfuna y’omu ku baminisita abasatu abaali baasoma ennyo mu gavumenti ya Museveni eyaliwo ebiseera ebyo. [5]

Yali mufumbo ne Lydia Wanyoto. [6]

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Comprehensive List of New Cabinet Appointments & Dropped Ministers". Uganda State House. 27 May 2011. Retrieved 19 March 2015.
  2. 1 2 3 "Profile of James Shinyabulo Mutende, Ex-Officio Member of Parliament". Parliament of Uganda. 2011. Retrieved 19 March 2015. Cite error: Invalid <ref> tag; name "Profile" defined multiple times with different content
  3. "State minister for industry Mutende dies". newvision.co.ug.
  4. Kirunda, Abubaker (15 May 2014). "Uganda To Produce Cars by 2018". Retrieved 19 May 2015.
  5. Nandudu, Prossy (2 September 2014). "Japan MPs Set Out To Promote Uganda's Tourism". Archived from the original on 2 April 2015. Retrieved 19 March 2015.
  6. "Mutende praised as a man of many traits". Monitor (in Lungereza). 2021-01-19. Retrieved 2025-08-24.

Ewalala w'oyinza okubigya

[kyusa | kolera mu edit source]