Jump to content

James Nyakuni

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

James Nyakuni musuubuzi era mutandisi wa mirimu mu Uganda . Ye mutandisi, nnannyini, era ye mukulu addukanya obuweereza bwa baasi za Gaagaa -(Gaagaa Services Limited). [1] Yategeezebwa mu 2007 ng’omu ku bannayuganda abagagga. [2]

Yazaalibwa mu disitulikiti y'e Arua awo nga mu 1970. Yava mu ssomero mu kibiina kya pulayimale eyomusanvu (P.7) . Yatandika n’okukola amatoffaali g’okuzimba ag’ebbumba nga tannapangisa mudaala mu katale, gye yatunda ebintu ebikoleddwa mu byuma. Oluvannyuma yaggulawo edduuka ng’atunda sipeeya w'obugaali. Bwe yatandika okusuubula sigala n’amafuta g’ebidduka bizinensi ye yali emwetaagisa okugenda e Nairobi Kenya emirundi egiwerako mu mwaka. Ku ngendo ng’ezo, yayiga obukodyo bwa bizinensi obupya era naafuna enkolagana n’abantu abapya mu bizinensi. Kino yakigobereza okuggulawo edduuka eryokubiri emitala w’ensalo mu bukiikakkono bw’obuvanjuba bwa Democratic Republic of the Congo. Kunkomerero yayingira bizinensi y’entambula. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (March 2016)">okujuliza kwetaagisa</span> ]

Bizinensi n’okusiga ensimbi

[kyusa | kolera mu edit source]

Ebintu byeyettanira mu bizinensi mulimu bbizinensi esaasanya ebyamaguzi ebikolebwa Coca-Cola mu ttundutundu lya West Nile, Obuweereza bwa bbaasi za Gaaga , ng’ebiddukaka byayo biwa entambula obudde bwonna wakati wa Arua ne Kampala, [3] ebizimbe by’amayumba n’ebizimbe ebirala ebipangisibwa mu Arua ne Kampala, n’ekibinja kya loole ezitambula engendo empanvu. [4] [5]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Felix Warom, and Clement Aluma (30 September 2013). "Location gives Arua an edge in business: Movers and Shakers". Daily Monitor. Kampala. Retrieved 11 March 2016.
  2. TMC News Quoting New Vision (9 April 2007). "Who Are the Richest People in Uganda?". Kampala: Tmcnet.com Quoting New Vision. Retrieved 14 March 2016.
  3. Agagati, John (19 May 2013). "Court gives tenants three-day eviction notice". The Observer (Uganda). Kampala. Archived from the original on 12 March 2016. Retrieved 11 March 2016.
  4. Rupiny, David (11 November 2005). "Arua district officials blast the UN Security Council over Nyakuni". Kampala: Uganda Radio Network. Retrieved 11 March 2016.
  5. Vision Reporter (6 September 2011). "Gaaga boss accounts frozen over UN report". New Vision. Kampala. Retrieved 28 March 2016.
  1. Felix Warom, and Clement Aluma (30 September 2013). "Location gives Arua an edge in business: Movers and Shakers". Retrieved 11 March 2016.
  2. TMC News Quoting New Vision (9 April 2007). "Who Are the Richest People in Uganda?". Tmcnet.com Quoting New Vision. Retrieved 14 March 2016.
  3. Agagati, John (19 May 2013). "Court gives tenants three-day eviction notice". Archived from the original on 12 March 2016. Retrieved 11 March 2016.
  4. Rupiny, David (11 November 2005). "Arua district officials blast the UN Security Council over Nyakuni". Uganda Radio Network. Retrieved 11 March 2016.
  5. Vision Reporter (6 September 2011). "Gaaga boss accounts frozen over UN report". Retrieved 28 March 2016.

Ebijuliziddwa wabweru wa wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]