James Okello
| Ekikula | musajja | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Country for sport | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | James | |
| Erinnya lya famire | Okello | |
| Yazaalibwa nga | 26 Gusooka 1990, 26 Gusooka 1992 | |
| Gy'azaalwa | Kampala | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza, Luganda | |
| Omulimu | basketball player | |
| Ekifo ky'azannya/ obumanyi | power forward | |
| Azannyira mu Kiraabu | City Oilers | |
| Omuzannyo | basketball | |
| Sport number | 15 | |
| Height | 6.4 | |
James Okello (yazaalibwa 26 Ogwolubereberye 1990) Munnayuganda muzannyi wa nsero (basketball), azannyira mu tiimu ya City Oilers ne ttiimu y'eggwanga lya Uganda basketball.
Obuto bwe n'obulamu bwe obwomunda
[kyusa | kolera mu edit source]Kitaawe yazaala mu bakazi bangi abenjawulo, James Okello yali wa mukaaga ku baana mwenda mu maama we.[1]
Weyali ku ssomero, ng’oggyeeko ensero, yali yeenyigira mu mizannyo emirala nga emisinde (ng’omuddusi w’embiro ) n’omupiira. Kaweefube wa Okello 0kwennyigira mu mizannyo naddala ogw'ensero ngayita mu masomero gwamufunira sikaala mu Crane High School okumala emyaka etaano. Mu 2010, yafuna diguli ye eyo.
Mu ggwekkuminogumu gwa 2013, James Okello bwe yali wakati ddala mu mpaka z’eggwanga eza ‘playoffs’, kitaawe yaffa. Okuva olwo, James Okello natandika okulabirira amaka ago.
Alina Dipulooma mu by'okugula ebintu okuva ku Makerere University Business School.
Omuzannyi ow'amanyi owa ttiimu y'eggwanga lya Uganda eya Rugby Phillip Wokorach muganda wa Okello. Bombi bambala omujoozi nnamba 15. Okello bwe yawangula empaka z'eggwanga eza 2019, Wokorach yateeka ku mikutu gya yintaneeti nti "Nnamba 15 y'efuga eggwanga."
Omulimu ku kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]James Okello yayingizibwa ttiimu ya City Oilers mu 2012. Kino kkwali kuwagira na kuteesa kw’omutendesi wa Okello owomusiniya, Justus Mugisha, nga, okuva ku ntandikwa ya 2020 abadde akola ng’omuyambi w’omutendesi mu Oilers.
Mu 2019, Okello yalondebwa ng'omuzannyi wensero omusajja ow'omwaka mu kibiina kya Uganda Sports Press Association . Ekyo kyaliwo nga tannasikiriza Oilers okuwangula ekikopo kya National Basketball League (NBL) omulundi ogw’omusanvu ogw’omuddiring’anwa ekitabangawo.
Mu mpaka zakamalirizo eza 2019–20 eza ‘playoffs’ ne UCU Canons, Oilers yabulwa abazannyi abakulu: Stephen Omony ne Francis Azolibe eyayingizibwa okuva mu Nigeria. Ekirala, Jonathan Egau tebazannya. Tony Drileba ne Daniel Jjuuko baazannya ku ddagala eriweweeza ku bulumi. Wabula Okello yakakasa nti emisinde gya Oilers egy’obuwanguzi tegigenda kuggwaawo nga bw’akulembedde ttiimu ye n’ewangula ggoolo 4-3 ez’omuddiring’anwa.
Mu mpaka zakamalirizo eza 2018 eza ‘playoff’ nga battunka ne Betway Power, Oilers yakubwa omupiira ogusooka ku ggoolo 66–85. Mu mupiira ogwokubiri, akatundu akasooka kagenda okugwaako nga Okello avaamu omusaayi, oluvannyuma lw’emimwa gye egya wansi okukutukamu ebitundu bibiri. Wabula yazannya ng’ayita mu bulumi era n’ayamba Oilers okuwangula ggoolo 78-71. Oluvannyuma Oilers yaddamu okuwangula ekikopo ku ggoolo 4-1.
Tewali muzannyi amaze ebbanga mu City Oilers okusinga James Okello. Okutwalira awamu, yayamba ttiimu eno okufuna empaka z’eggwanga musanvu.
Omulimu gwa ttiimu y’eggwanga
[kyusa | kolera mu edit source]Yayamba ttiimu ya Uganda okuwangula empaka za Africa Zone Five bbiri mu 2017 ne 2018.
Oluvannyuma, yali kitundu ku ttiimu y’emipiira gy’okusunsulamu abagenda okuzannya mu mpaka za AfroBasket 2021 nga battunka ne Misiri, Morocco ne Cape Verde.[2]
Ebikwata ku muzannyi
[kyusa | kolera mu edit source]James Okello asinga kuzannya kifo kya mu maaso,[2] mu mbeera ezimu naye azannya amakatti .
Hamza Nyambogo, eyali omutendesi omukulu owa KIU Titans yakkaatirizza ebitakwatibwako Okello: “Simanyi muzannyi yenna leero ateekawo omubiri gwe gwonna ku layini ku ttiimu yaabwe nga Okello bw’akola ate nga buli kimu kisinziira ku kyo. Wabula mu Nsero, Okello takkiriza kuwangulwa.”
Ebibalo by’emirimu gya BAL
[kyusa | kolera mu edit source]Template:BAL player statistics legendTemplate:BAL player statistics start |- | style="text-align:left;"|2023 | style="text-align:left;"|City Oilers | 5 || 0 || 14.2 || .143 || .000 || .667 || 2.0 || .8 || .4 || .0 || 1.2 |- | style="text-align:left;"|2024 | style="text-align:left;"|City Oilers|| 6 || 0 || 13.0 || .462 || .000 || .000 || 1.3 || 0.8 || 0.2 || 0.0 || 2.0 |- Template:S-end
Ebiwandiiko ebikozeseddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Mister City Oilers! John Vianney Nsimbe (The Observer), 13 February 2020. Accessed 29 June 2021
- 1 2 Okello optimistic ahead of AfroBasket 2021 Qualifiers Franklin Kaweru (Kawowo Sports), 10 February 2021. Accessed 29 June 2021.