Jump to content

James R Tumusiime

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

James Rwehabura Tumusiime, Munnayuganda omuwandiisi, [1] munnamawulire, era omutanisi w'emirimu. Yazaalibwa mu 1950 e Rugando mu Disitulikiti y'e Mbarara . Asinga kumanyikwa olw’okukulembera okutandikawo kw'olupapula lwa The New Vision mu 1986, [2] Fountain Publishers mu 1988, [3] National Book Trust of Uganda (NABOTU) mu 1997, omukutu gwa 100.2 Fm Radio West mu 1998, [4] ne Igongo Cultural Center mu 2008. [5] Ye yali omuwandiisi w'akatabo akayitibwa what makes Africans Laugh. [6] Awerezaako ku bukiiko obuli ku mitendera gy’ensi yonna obuwerako, omuli African Publishers Network (APNET), o (AABC) n'aka International Board of Books for Young People (IBBY). Yawerezaako nga Ssentebe w'Akakiiko ka Mbarara University of Science and Technology ne ssentebe w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’Obulambuzi mu Uganda.[7][8][9]

Obuyigirize bwe

[kyusa | kolera mu edit source]

Yasomera ku Mbarara High School gyeyafunira satifikeeti ye eya Siniya 4 ne King's College Budo, gyeyafunira Satifikeeti ya Siniya 6. Alina Diguli ya Sayaansi mu By’obulimi n’eby'enfuna okuva ku Makerere University, Diguli ey'okubiri mu By'okudukanya Bizineensi okuva mu ESAMI ne Dipuloma Mukufulumya Ebiwandiiko okuva e Bungereza.[10]

Mu 2016, yafulumya ekiwandiiko mu New Vision ekyali kikwata ku kulonda: "tetusobola kubuusa maaso buwanguzi". [11] Yeeyali amuwandiisi w'akitabo akatumibwa Uganda's presidents - An illustrated Biograph y. [12]

Era yawandiika ekiyitibwa Ungrateful Mothers. [13] Alina n'ekitabo ekiyitibwa A directory of Uganda's Sixth parliament 1986-2001. [14]

Awandiise ekitabo ky'engero mu lulimi Olunyankole, Entanda y'omugambi w'Orunyankore-Rukiga, ekyafulumizibwa mu 2007, aba Fountain Publishers mu Kampala, Uganda. Kifunibwa ku mutimbagano gya yintaneeti ng'oyise ku mukutu gwa Archive.org.

Ebijuliziddwaamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. "Amin's Catholic father, Museveni as Obote spy". Daily Monitor (in Lungereza). Retrieved 2020-06-01.Template:Dead link
  2. "Why New Vision reprinted the 1986 edition!". www.newvision.co.ug. Retrieved 2020-06-01.
  3. Matsiko, Kahunga (2012-08-27). "James Tumusiime, a pillar of indigenous publishing in Uganda". Daily Monitor (in Lungereza). Retrieved 2020-05-31.
  4. R, Tumusiime, James (2014-06-12). What Makes Africans Laugh? Reflections of an Entrepreneur in Humour, Media and Culture (in Lungereza). Fountain Publishers. ISBN 978-9970-25-310-4.
  5. Tumushabe, Alfred (2014-09-01). "Museveni warns cultural communities on tribalism". Daily Monitor (in Lungereza). Retrieved 2020-06-01.
  6. "'What makes Africans Laugh?". www.newvision.co.ug. Retrieved 2020-05-31.
  7. "African Books Collective: James R. Tumusiime". www.africanbookscollective.com. Retrieved 2020-05-31.
  8. "News | Uganda Tourism Board". www.corporate.nwtdemos.com. Retrieved 2020-06-01.
  9. "uganda tourism board gets new boss | Uganda Tourism Board". utb.go.ug. Archived from the original on 2022-07-25. Retrieved 2020-05-31.
  10. Author, this (2017-06-24). "TUMUSIIME: Helping young people is my joy". The East African (in Lungereza). Retrieved 2020-05-31. {{cite web}}: |last= has generic name (help)
  11. "Elections: We can't ignore the successes". www.newvision.co.ug. Retrieved 2020-05-31.
  12. "Uganda's Presidents - An Illustrated Biography". www.goodreads.com. Retrieved 2020-06-01.
  13. "James Tumusiime - AbeBooks". www.abebooks.co.uk (in British English). Retrieved 2020-06-01.
  14. "A Directory of Uganda's Sixth Parliament 1996-2001". www.books-by-isbn.com. Retrieved 2020-06-01.