James Ssebaggala
James Ssebaggala mulabirizi omupolotesitante aweereza mu Uganda : abadde Mulabirizi wa Mukono owokuna era aliko mu kiseera kino okuva mu 2010.
Enzaalwa ya Disitulikiti y'e Mukono yatendekebwa ng' omukubi wa ppulaani z'ebizimbe Entebe . Yasomerera obubuulizi ku Yunivesite y'abakulisitaayo eya Uganda Christian University naatuuzibwa mu 1984. Aweerezzaako mu Uganda, Germany ne Zambia .
Nga 10 Omwezi ogusooka 2022 , olunaku lw'okuddamu okuggulawo amasomero ga Uganda oluvannyuma lwa kumpi emyaka ebiri egyomuggalo gw'ekirwadde kya Lumiima mawuggwe, yakola amawulire olw'okulemerako nti abawala abali embuto n'abayonsa tebakkirizibwa okudda mu masomero. Kino kyali kikontana butereevu n’okulungamya kwa Minisitule y’Ebyenjigiriza ku kuddamu okuggulawo amasomero
Ebijuliziddwa
- Bristol Anglican
- Church of Uganda
- "Block pregnant girls from attending school, bishop tells teachers". 10 January 2022.
Template:Bishops of BugandaAbalabirizi ba BugandaTemplate:Church of UgandaEkkanisa ua UgandaTemplate:Uganda topicsAmasomo ga Uganda