Janet Kainembabazi Kataaha yazaalibwa mu saza lya Kajarra mu Disitulikiti ye Ntungamo[7] nga bazadde be yeeyali Edward Birori ne Mrs. Mutesi. Yasomera ku Kyamate Primary School wamu ne Bweranyangi Girls' Senior Secondary School mu Uganda. Yatikirwa ne Diguli ey'okubiri mu By'enjigiriza mu by'okutegeka obukulembezze wamu n'okubudukanya nga 30 Ogwegumi mu 2015 okuva ku Uganda Christian University.[8]
Janet Museveni yagenda mu buwangaguse mu 1971 olw'okubeeta nga baali banyagulula eby'amaguzi okuva ku bantu ba Uganda mu kaseera k'olutalo olw'omunda, Idi Amin bweyavirako obukulembezze bwa Milton Obote okugwa nga akozesa amagye okumuwamba. Yafumbirwa Yoweri Museveni imu Gwomunaana miu 1973.[9] Obukulembezze bwa Idi Amin webwali buvudde mu buyinza mu Gwokuna mu 1979, yakomawo mu Uganda okuva e Tanzania gyeyali abeera mu buwangaguse ne bbaawe .
Mu Gwokubiri mu 1981, Yoweri Museveni yatongoza olutalo lw'obuyekera ku gavumenti ya Obote, Janet Museveni n'abaana bbe basengula nebagenda e Nairobi, mu ggwanga lye Kenya,ng'eno gyebabeera n'emikwano gya famire okutuuka mu 1983. Mu 1983, bagenda mu kibuga kya Gothenburg, e Sweden, gyebabeera okutuuka mu Gwokutaano mu 1986, emyezi enna oluvannyuma lwa magye ga Yoweri Museveni aga National Resistance Army okuwamba obuyinza mu Kampala.
Janet Museveni yatandikawo ekibiina ky'abakyala mu 1986 ekiyamba okuyamba bamulekwa ekya Uganda Women's Effort to Save Orphans (UWESO), nga kino kya bwanannyini, kyeyagamba kyali kikoleddwa n'obumannyirivu bwe bw'okubeera omunoonyi woobubuddamu. Yatandika okwenyigira mu kakuyege w'okulwanyida akawuka ka siriimu mu Uganda mu myaka gya 1990, n'atandikawo enkolagana n'abasumba nga Martin Ssempaolw'okusomesa munsonga z'obutenyigira mu kwegadanga mu Uganda.[10]
Mu Gwekuminoogumu mu 2005, yalangirira nga bweyali ayagala ekifo ky'obwa Paalamenti mu Saza lya Ruhaama mu kulonda kwabonna okwaliwo mu Gwokubiri mu 2006. Yavuganya mu kifo kino ng'attunka n'eyali ow'ekibiina kya Forum for Democratic Change, Augustine Ruzindana,gweyawangulira ddala nga amusingidde wala. Yaddamu n'alondebwa mu Gwokusatu mu 2011 kukisaja ekyali eky'emyaka emirala etaano.
Oga 27 ngwokutaano mu 2011 yalinyisibwasn'atekebwa ku ky'okubeera Minisita w'ensonga z'e Karamoja, nga ayongerezaako eky'okubeera Minisita Omubeezi ow'ensonga ze Karamoja.[12]
Nga 6 Ogwomukaaga mu 2016, oluvannyuma lwa baabwe okubeera nga yali azeemu okulondebwa nga Pulezidenti, yaweebwa eky'okubeeta Minisita avunaanyizibwa ku By'enjigiriza N'eby'emizannyo.
Natasha Karugire nga yazaalibwa mu 1976. Ono akola misono gyangoye ng'e ra yeebuzibwaako, ng'era mufumbo nga baawe ye Edwin Karugire. Omuwandiisi ow'okulusegere lwa Pulezidenti wa Uganda kunsonga z'awaka.[16]
Patience Rwabwogo yazaalibwa mu 1978, nga musumba w'e kanisa ya Covenant Nations Church,[17] e Buziga mu Kampala nga mufumbo ng'era baawe ye Odrek Rwabwogo.[18]
Diana Kamuntu eyazaalibwa mu 1980 nga mufumbo, ng'era omwami we ye Geoffrey Kamuntu.[19]