Janzi (musical instrument)
Janzi Munnayuganda, James Ssewakiryanga muyimbi eyeyiya ekivuga ky'enkoba era amanyikiddwa nga Ssewa Ssewa .kye kenenyezebwa era nekikakasibwa ab'ekitongole kya African Regional Intellectual Property Organization (ARIPO) okukyiwa obukuumi obw’omulembe (utility model protection) wansi w’omukago gwa Harare era n’ewandiisibwa ekitongole kya Uganda Registration Services Bureau mu mwaka gwa 2017.
Ekivuga kino kibadde kyankizo nyo mu bivvulu byonna ebya Janzi Band n'okwolesa kwa Ssewa okuva lwe kwatandikibwawo, wamu n’okutwalibwa abayimbi abalala.
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]Ssewa Ssewa yayagala okutondawo ekintu ekipya era nga kyanjawulo nga kitondedwa wo ye. Yalina ekirowoozo ky’okuggyawo n’okukyusa emisumaali ku adungu n’ebikozesebwa ebisinga okukkirizibwa mu mwaka gwa 2014, oluvannyuma lw’omu ku bammemba ba bbandi ye obutakkirizibwa kutambuza ekikozesebwa kino nga kiyita ku kisaawe ky’ennyonyi e Copenhagen kubanga kyalina emisumaali egy’ekyuma ng’ebikondo,[1] bino nga bitwalibwa ng’eby’obulabe eri ebyokwerinda.[2] Oluvannyuma yagamba nti yasikirizibwa okukola oluvannyuma lwa adungu ye okumenyeka.[3]
Janzi eyasooka yatondebwawo mu mwaka gwa 2015 era kyalabibwa nga ekyuma/ ekivuga era n'ekiwebwa olukusa aba kkampuni ya ARIPO era n’ewandiisibwa gavumenti ya Uganda mu mwaka gwa 2017. [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (April 2019)">citation needed</span> ] Erinnya lino lisibuka mu linnya lya bbandi eno, era oluvanyuma lyatumibwa okuva mulinnya lyabulijo erya grasshopper, kubanga baali baagala omuziki gwabwe gubuuke okwetoloola ensi yonna.[4]
Ng’oggyeeko Sewa Sewa ne Janzi Band, ekivuga kino kibadde kikozesebwa abayimbi abalala ab’ennono n’ensi yonna, nga kibeera mu bivvulu butereevu ebya Feridah Rose e Denmark ne Giovanni Kiyingi . [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (April 2019)">okujuliza kwetaagisa</span> ]
Ssewa Ssewa atutte janzi mu yunivasite n’amasomero g’okuyimba e Germany ne Sweden, era mu May 2019 agenda kuba akola emisomo e Switzerland ne Germany ku janzi kw’ossa n’ebivuga bya Uganda eby’ekinnansi.[5]
Okutongoza mu butongole mu Uganda
[kyusa | kolera mu edit source]Nga 13 omwezi Ogwokuna mu mwaka gwa 2019, Ssewa Ssewa yategeka omukolo gw’okutongoza janzi mu butongole mu Uganda, ku Katonga Hall e Kampala.[5]
Mu kutongoza, Lt.-Gen. Muhoozi Kainerugaba yasabye abayimbi ba Uganda obutasuula mirandira gyabwe egy’obuwangwa, era yeesunga janzi okutwalibwa mu maaso abayimbi abalala okwetoloola ensi yonna. Haka Mukiga, Price ne Keneth Mugabi be baazannya ku mukolo guno. Ssewa Ssewa yatandika okuyimba n’oluyimba lwa Bob Marley olwa No Woman, No Cry. Olwo n’anyumya enkyukakyuka ebikwata ku kivuga kino, nagamba nti oluvannyuma lw’okumenyeka kwa adungu ye era yali alinze omubazzi okujja okugitereeza kwe kulowooza ku ngeri y’okuzza ekivuga kino ku mulembe n’akola janzi. Olwo bbandi yonna n'ekuba ennyimba ezisunsuddwa okuva mu lutambi lwabwe Eka.[3]
Enzimba n’okutuunya
[kyusa | kolera mu edit source]Janzi erina ensingo bbiri empanvu ez’embaawo, nga wakati waliwo ekifo ekifunda. Kikolebwa n'enkoba abiri mu biri (22), n'ekoba kkumi n'emu (11) ku buli ludda, nga zikwataganira ddala ku bbokisi y’amaloboozi n’enkoba za plastic. Janzi eyongerezeddwaamu amaanyi era esobola okuyungibwa ku nkola y'amaloboozi . Omuyiiya ono yakozesa ebikondo bya gitaala mu kifo ky’emisumaali nga bwe kyakozesebwa mu kivuga eky’ennono eky’enkoba mu bukiikakkono bw’amaserengeta ga Uganda, adungu.[6]
"Nnalina okulowooza ku ngeri gye nnali njagala efaanana bulungi ate nga ya mulembe, kwe kusalawo okukozesa emiti joka ekyandimpadde eddoboozi ery'enjawulo eryawukanira ddala ku Adungu eya bulijjo" (Ssewa).[7]
Kituukiddwa mu bipimo byamirundi ebiri, ebipimo bya diatonic ne pentatonic. Ennyiriri ez'ekkumi n'emu (11) eziri ku kkono zikyusiddwa mu bipimo bya diatonic ate ennyiriri ez'ekkumi n'emu (11) ku ddyo mu bipimo bya pentatonic .
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "The janzi: Uganda's new sound". The East African. Archived from the original on 10 March 2018. Retrieved 2 May 2018.
- ↑ "Uganda has a new musical instrument". BBC News. 18 April 2019. Archived from the original (audio) on 19 April 2019. Retrieved 18 April 2019.
- 1 2 "Music, a great Platform through which people speak about injustice – Lt. Gen Muhoozi". Africa Tembelea. 14 April 2019. Retrieved 19 April 2019.
- ↑ Batte, Edgar Raymond (7 October 2015). "Ugandan artist Ssewakiryanga's musical journey with Janzi Band". Music in Africa. Archived from the original on 27 November 2024. Retrieved 18 April 2019.
- 1 2 Ilado, Lucy (2 April 2019). "Uganda: Ssewa Ssewa to launch janzi instrument at home". Music in Africa. Retrieved 19 April 2019.
- ↑ Alex de Lacey. "Ugandan musician invents new instrument". Songlines UK. Archived from the original on 12 May 2018. Retrieved 2 May 2018.
- ↑ "Meet man who made the Janzi". Daily Monitor. Archived from the original on 14 December 2016. Retrieved 13 December 2016.