Jump to content

Jay Mulucha

Bisangiddwa ku Wikipedia
Jay Mulucha

Jay Mulucha Munnayuganda, mulwanirizi w'eddembe ly'abantu abalina omukwano ogw'ebikukujju (LGBT) era muzannyi w'omupiira gw'ensero nga azanyira mu tiimu ya Magic Stormers, ttiimu ezannya mu liigi y'emizannyo gy'ensero eya Federation of Uganda Basketball League (FUBA). Era y’omu ku ba maneja ba ttiimu eno.

Mulucha yatandika okuzannya basketball ng’akyali mu myaka gy'ekivubuka.[1]

Mulucha, yasimatukkira watono nnyo oluvannyuma lw'abalimbaganyi abamukuba bwe yali akuyegera eddembe ly'abantu abali mu mukwano ogw'ebikukujju.[2] Ng'ali ku ngyegoyego z'okwetta bwe yali mu ddwaliro, yasalawo okweyongerayo ne kampeyini z'okulwanirira eddembe ly'abantu ab'engeri za LGBTIQ ewaabwe ku butaka.[3] Yali mukubiriza wa Pride Uganda era yeetaba mu bikujjuko bya Pride Festival ebyasooka mu 2012.[4] Ye pulezidenti w'ekitongole kya Fem Alliance Uganda, ekissa essira kutendeka amasomo ga kompyuta ne pulojekiti z'okuyigiriza abantu ku by'ensimbi okusobola okutondawo emiwaatwa eri abo abali mu mukwano ogw'ebikukujju.[5][6]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Lawrence, J. P. (2015-03-15). "Meet Uganda's transgender basketball players: discriminated, harassed but unbroken". The Guardian (in British English). ISSN 0261-3077. Retrieved 2017-11-30.
  2. "Out and proud in Uganda". Washington Blade: Gay News, Politics, LGBT Rights (in American English). 2016-04-07. Retrieved 2017-11-30.
  3. "Young African leaders share vision at BGSU". The Blade (in American English). 2017-07-16. Archived from the original on 2017-12-01. Retrieved 2017-11-30.
  4. "These are the faces of gay pride in Uganda". Public Radio International (in American English). Retrieved 2017-11-30.
  5. "Interview with LGBTI Grassroots Activist Jay Mulucha". Pulitzer Center (in Lungereza). Retrieved 2022-10-27.
  6. Sistiaga, Jon (2013-04-10). "Reportaje | Caza al homosexual". EL PAÍS (in Lusipanya). Retrieved 2017-11-30.