Jump to content

Jemba of Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Jemba Busungwe (yafa 1584) yali Sekabaka wa Buganda owe 10 mu Obwakabaka bwa Buganda wakati wa 1564 - 1584. Ajukirwa ng'omufuzi eyalina obukkakamu.[1]

Okulya Obwakabaka

[kyusa | kolera mu edit source]

Yali mutabani wa Kabaka Nakibinge Kagali, Sekabaka wa Buganda, wakati wa 1524 -1554. Maama we yali Najjemba, mukyala wa kitaawe ow'okubiri. Yatuuzibwa ku Nnamulondo oluvannyuma lw'okufa kwa mukulu we. Yatandikawo olubiri lwe ku lusozi Bubango, kati eyafuulibwa e Ssaza erya Busiro, mu Disitulikiti y’e Wakiso.

Obulamu bw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yalina abakyalabasatu : [1]

  • Nabbanja muwala wa Kayiira ow’ekika ky’e Mbogo
  • Nakkazi muwala wa Gabunga, ow’ekika kya Mamba
  • Nanfuka muwala wa Kasujja, ow’ekika ky’e Ngeye

Yalina abaana bana ab’obulenzi: [1]

  • Omulangira (Omulangira) Kawaali, nga nnyina yali Nabbanja
  • Omulangira (Omulangira) Lulume, nga nnyina yali Nabbanja
  • Omulangira (Omulangira) Gogombe, nga nnyina yali Nakkazi
  • Omulangira (Omulangira) Zigulu, nga nnyina yali Nanfuka

Emyaka egyasembayo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yakisa omukono mu Lubiri lwa Bagambamunyoro, Bubango,mu Ssaza Busiro, mu 1584. Yaziikibwa e Gombe, mu Ssaza Bulemeezi akawanga ne katerekebwa mu kibuga kye ekikulu. [1] Ewalala kigambibwa akawanga ke katerekebwa Bubango,Busiro.[2]

Enambika y'obusika

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 3 4 Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 25.
  2. "Ssekabaka Jemba Is Buried at Bubango, Busiro". Buganda.com. Archived from the original on 15 June 2013. Retrieved 4 October 2014.

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | kolera mu edit source]