Jemba owa Buganda
Template:Infobox royaltyJemba Busungwe (yaseerera (yafa) mu 1584) yali Kabaka ow'ekkumi mu Bwakabaka bwa Buganda wakati wa 1564 ne 1584. Ku mulembe gwe ajjukirwa nga bwa Kabaka ow'ekisa era omukkakkamu. [1]
Okutuuzibwa ku Nnamulondo
[kyusa | kolera mu edit source]Yali mutabani wa Kabaka Nakibinge Kagali, Kabaka wa Buganda, wakati wa 1524 ne 1554. Maama we yali Najjemba, mukyala wa kitaawe owokubiri. Yatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka oluvanyuma lw'okufa kwa mukulu we. Yazimba Olubiri lwe ku lusozi Bubango, ery'afuuka Essaza ly'e Busiro mu Disitulikiti y’e Wakiso .
Obulamu bwe obw’obufumbo
[kyusa | kolera mu edit source]Yalina abakyala basatu : [1]
- Nabbanja muwala wa Kayiira ow’ekika ky’e Mbogo
- Nakkazi muwala wa Gabunga, ow’ekika kya Mamba
- Nanfuka muwala wa Kasujja, ow’ekika ky’e Ngeye
Ensonga endala
[kyusa | kolera mu edit source]Yazaala abaana bana ab’obulenzi:
- Omulangira Kawaali, nga nnyina yali Nabbanja
- Omulangira Lulume, nga nnyina yali Nabbanja
- Omulangira Gogombe, nga nnyina yali Nakkazi
- Omulangira Zigulu, nga nnyina yali Nanfuka
Emyaka gye egy'oluvannyuma
[kyusa | kolera mu edit source]Yaseererera (yafiira) mu Lubiri lwa Bagambamunyoro, Bubango mu Ssaza ly'eBusiro mu 1584. Yaterekebwa (yaziikibwa) e Gombe, mu Ssaza ly'eBulemeezi era akaba ke kaziikibwa mu lubiri lwe. Ensonda endala ziraga nti yaziikibwa Bubango, Busiro. [2]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Engeri ba Kabaka gye bazze b'eddiringana
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 25. Cite error: Invalid
<ref>tag; name "The Customs of the Baganda" defined multiple times with different content - ↑ https://web.archive.org/web/20130615070042/http://www.buganda.com/kings.htm
Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Olukalala lwa Bassekabaka ba Buganda kiterekeddwa