Jesca Ruth Ataa
Jesca Ruth Ataa Munnayuganda alwanirira eddembe ly’obuntu, Mulwanirizi w’eddembe era nga ye mukulembeze w’ekitongole kya Nakere Rural Women Activists (NARWOA), ekitongole ekigatta abantu mu bitundu by’e Kotido mu Karamoja. [1] NARWOA eyatandikibwawo mu 2002, ekola ku nsonga omuli obutabanguko mu maka, obutali butebenkevu mu byobufuzi, n’okutumbula eby'enfuna by’abakyala. [2] Omulimu gwa Ataa gutuuse ku bakyala abasoba mu 15,000 n'abaana 250,000. Yasunsulwa mu mpaka za EU Human Rights Defenders Award eza 2024. [2] [3] [4] [5]
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | kolera mu edit source]Jesca Ruth Ataa yazaalibwa Kotido, Karamoja mu Uganda ng’eno obuto bwe n'embeera z'ekitundu kino bikoze kinene okumusindikiriza okukola emirimu gye. [1]
Emirimu gye n'okulwanirira eddembe
[kyusa | kolera mu edit source]Ataa mulwanirizi w’eddembe ly’obuntu naddala amanyiddwa nnyo olw’emirimu gy’akola ne Nakere Rural Women Activists (NARWOA). NARWOA yatandikibwawo mu Gwekkuminogumu 2002, era kiwagira ebibiina by’abakyala okwetoloola okwetoloola Disitulikiti y’e Kotido . [5] Ekitongole kino kissa essira ku kubutabanguko obubalukawo, obutali butebenkevu mu by'obufuzi okuyita ku nsalo n’entalo z'amawanga, obutabanguko mu maka, n’okusosola abakyala. [4]
Ng’omukulembeze w’ekitongole kya NARWOA, Ataa abadde munene nnyo mu kuteekawo enteekateeka ezisoosowaza abakyala mu by’enfuna n’embeera z’abantu. Enteekateeka za NARWOA zituuse ku bakyala abasoba mu 15,000 n’abaana 250,000, nga babateerawo emirimu egisobola okuvaamu ssente n’okutumbula enyingiza y’amaka n’emmere nga bayita mu kwongera ku by’obulimi. [5] [6]
By'akoze n'okusunsulwa
[kyusa | kolera mu edit source]Mu 2024, yasunsulwamu okuwangula engule ya EU Human Rights Defenders Award, ng’asiima emirimu gye egy’amaanyi mu kulwanirira eddembe ly’obuntu mu Uganda. [6] [7] [8] [9]
By'akoze mu kuleeta emirembe n’okugonjoola obukuubagano
[kyusa | kolera mu edit source]Ataa abadde yeenyigira nnyo mu nteekateeka z’okuzimba emirembe. Akwasaganya kaweefube n’ebibiina eby’enjawulo okutabaganya enkaayana n’okutumbula obumu ne mirembe mu Karamoja. Okugeza, NARWOA yategeka omusomo ogusomesa emirembe nga gw'avujirirwa Gavumenti ya Norway, okwanguyiza enteeseganya wakati w’abantu b'abulijjo n'abakozi b'amateeka ku nteekateeka z’okuddamu okuzimba oluvannyuma lw’olutalo. [4] [10]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 https://www.newvision.co.ug/articledetails/NV_181219 Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content - 1 2 https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/dr-spire-two-others-shortlisted-for-eu-human-rights-award-4576638
- ↑ https://www.pulse.ug/news/three-shortlisted-for-eu-human-rights-award-in-uganda/eq6lw80
- 1 2 3 https://www.whrdnuganda.org/tag/ataa-jessica/ Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":3" defined multiple times with different content - 1 2 3 https://wipc.org/meet-our-grassroots-partner-nakere-rural-women-activists-narwoa/,%20https://wipc.org/meet-our-grassroots-partner-nakere-rural-women-activists-narwoa/ Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":4" defined multiple times with different content - 1 2 https://www.independent.co.ug/spire-wins-eu-human-rights-award-2024/ Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":5" defined multiple times with different content - ↑ https://www.eeas.europa.eu/delegations/uganda/eu-human-rights-defenders-award-2024-%E2%80%93-three-shortlisted-nominees-announced_en?s=127
- ↑ https://charmarnews.com/tag/jesca-ruth-ataa-and-doreen-kyazze/
- ↑ https://www.theeastafrican.co.ke/tea/magazine/why-ugandan-activist-spire-won-eu-rights-award-again-4619938
- ↑ https://www.prospectmagazine.co.uk/world/africa/65100/women-peace-keeping-climate-change-uganda