Jimmy Akena Obote

Jimmy Akena Obote (yazaalibwa 25, Ogwomwenda 1967) munnabyabufuzi Munnayuganda era mukiise wa palamenti era mutabani wa ssaabaminisita wa Uganda eyasooka Militon Obote ne Miria Obote .
Obuto bwe
[kyusa | kolera mu edit source]Akena yazaalibwa nga 25, Ogwomwenda, 1967 mu ddwaaliro e Mulago. Kitaawe yeeyali Pulezidenti wa Uganda era omutandisi w’ekibiina ky'ebyofuzi ki Uganda People’s Congress, Milton Obote ne mukyala we Miria Obote . Akena mubaka wa palamenti akiikirira Munisipaali y'e Lira mu bukiikakkono bwa Uganda[1] [2]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Oluvanyuma lwa Idi Amin okuwamba gavumenti ya Milton Obote mu 1971, Akena yagenda mu buwanganguse mu gwanga lya Tanzania ne kitaawe era namalayo emyaka mwenda okuva mu 1971 okutuuka mu 1980. Oluvannyuma lwa Milton Obote okwezza obuyinza nga ayita mu kalulu ka 1980, Akena yadda mu Uganda. Kyokka oluvannyuma lwa Museveni okukwata obuyinza mu 1986, Akena yaddamu okugenda buwanganguse mu ggwanga lya Zambia era nabeera ne kitaawe okutuusa mu 2005 kitaawe lwe yafa. Mu kalulu ka 2006 Akena yeesimbawo era naaawangula ekifo ky’obubaka bwa Paalamenti ku kaada y'ekibiina ki Uganda People’s Congress (UPC) kitaawe Obote kyeyatandikawo era naddamu okuwangula akalulu emirundi egiddiringana mu kulonda kwa 2011, 2016, wamu nw 2021. [3] [4]
Ebirala
[kyusa | kolera mu edit source]Akena yalaga obwagazi okuvuganya ku ntebe y'Obwapulezidenti mu Uganda mu kulonda kw'omwaka 2026 kyokka naalemererwa okusunsulwa akakiiko k'ebyokulonda olw'endoolito z'obukulembeze eziri mu Kibiina ki UPC nga zatuuka ne mu kooti wakati Akena ne Peter Walubiri.[5][6][7]
Akena Munnabyamizannyo era ye pulezidenti w'ekibiina ekiddukanya omuzannyo gwa motoka z'empaka mu Uganda ki Federation of Motorsports Clubs of Uganda (FMU)[8][9][10][11]
Akena musajja mufumbo era mukyala we Betty Amongi nga bafumbiriganwa mu mwaka 2013. Amongi naye mubaka wa Palamenti era minisita avunaanyizibwa ku kikula kyabantu mu kabineti ya Uganda ekulemberwa Gen. Yoweri Museveni.[12][13]
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Jimmy Akena Obote | Profile | Africa Confidential". www.africa-confidential.com (in Lungereza). Retrieved 2023-02-07.
- ↑ Nabiruma, Diana (8 July 2015). "Jimmy Akena: life as a president's son tough". The Observer - Uganda (in British English). Archived from the original on 2023-01-31. Retrieved 2023-02-07.
- ↑ "Akena James Michael Jimmy - 2021 General Election". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-08.
- ↑ "Akena James Michael Jimmy - 2016 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2023-02-08.
- ↑ https://nilepost.co.ug/2026-election-watch/289397/akena-challenges-ec-vows-to-contest-2026-elections-despite-nomination-block
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/akena-vs-walubiri-what-next-for-upc-party--1912048
- ↑ https://nilepost.co.ug/index.php/news/289265/upc%E2%80%99s-akena-says-his-candidature-is-being-fought
- ↑ https://nbssport.co.ug/2024/05/01/jimmy-akena-elected-president-of-federation-of-motorsports-clubs-of-uganda/#google_vignette
- ↑ https://kawowo.com/2024/12/02/you-are-being-misled-fmus-akena-hits-back-at-ncs-ig/
- ↑ https://www.newvision.co.ug/category/news/jimmy-akena-elected-new-fmu-president-NV_187073
- ↑ https://kawowo.com/2024/05/01/james-akena-slides-to-easy-fmu-presidency/
- ↑ https://chimpreports.com/minister-betty-amongi-elected-lango-parliamentary-group-chairperson/https://chimpreports.com/minister-betty-amongi-elected-lango-parliamentary-group-chairperson/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/akena-to-nrm-museveni-did-not-marry-amongi-for-me-5011584