Jump to content

Jinja–Iganga–Bugiri–Tororo Road

Bisangiddwa ku Wikipedia

Oluguudo lwa Jinja–Iganga–Bugiri–Tororo luguudo olusangibwa mu Buvanjuba bwa Uganda, olugatta ebibuga ebyamaanyi bibiri okuli Jinja ne Tororo . Oluusi oluguudo luyitibwa Tororo–Jinja Road olwokuba nga byebibuga ebisinga okumanyibwa ku luguudo luno.[1] Oluguudo luno lwelumu kunguudo ezisinga okusaabaza ebyamaguzi wamu nabantu era ebiseera byonna lubeerako emotoka zi lukululana naddala ezo eziva mu ggwanga ery'okumuliraano erya Kenya nga zisaabaza ebyamaguzi okubitwala mu bitundu bya mambuka ga Uganda kwossa ne mu kibuga kya Uganda ekikulu Kampala.[2]

Endagiriro

[kyusa | edit source]

Oluguudo luno lutandikira mu kibuga Jinja mu bwa Kyabazinga bwa Busoga nerweyongerayo mu buvanjuba nga lusalira mu bintundu nga Bugembe , Kakira mu Jinja Iganga , Bugiri ne Busitema mu disitulikiti ye Busia. Oluguudo luno lukoma mu koona e Tororo welugattira ku nguudo endala bbiri okuli olwa Tororo–Mbale–Soroti nga luno luyita mu kibuga kya Tororo okugenda e Mbale ne Soroti. Mu koona oluguudo luno era luyunga ku luguudo lwaTororo Malaba nga luno lugatta Uganda ne Kenya ku nsalo e Malaba. oluguudo Jinja-Iganga-Bugiri-Tororo luliko obuwanvu bwa kiromita 131 ze mayiro nga 81[3] [4]

Embeera y'oluguudo

[kyusa | edit source]

Oluguudo luno lwa kolaasi era nga luyisa emotoka emu buli luuyi. Oluguudo luli mu kitundu banna byantabula n'ebyobusuubuzi kyebayita Northern Corridor, nga kino kitegeeza enguudo ezigatta ebibuga ebisangibwa mu mawanga g'obuvanjuba bwa Afrika okuli Bujumbura, mu Burundi, Kigali, mu Rwanda ne Kampala, mu Uganda okutuukira ddala e Nairobi, mu Kenya n'ekumwalo e Mombasa ebyamaguzi binji ebiyita ku luguudo luno gyebiva. Oluguudo luno lukulu nnyo mu by’obusuubuzi byamawanga g'omukago gw'bwovunjuba bwa Afirika naddala ago agatatuuka butereevu ku nsalo za zi ssemayanja. Oluguudo luno era lukulu eri eggwanga Democratic Republic of the Congo anti lwelugatta ebitundu by'obuvanjuba bwensi eno ku zi ssemayanja nga Indian Ocean. [5]

Ebifo ebyenkizo ku luguudo luno

[kyusa | edit source]

Bino byebimu ku bifo ebiri okumpi n'oluguudo lwa Jinja–Iganga–Bugiri–Tororo ebitera okwettanirwa abatambuze:

  1. Ekibuga Bugembe ekitebe ky'obwa bwa Kyabazinga bwa Busoga . [6]
  2. Ekibuga Kakira ewasangibwa ekitebe ekikulu ekya kampuni za Madhvani Group . [7]
  3. Akabuga Musita awali enkulungo y'oluguudo lwa Musita–Mayuge–Lumino–Majanji–Busia. [8]
  4. Yunivasite ya Busoga University, esangibwa e Iganga. [9]
  5. Eddwaaliro ekkulu e Iganga
  6. Akabuga ke Nakalama awatandikira oluguudo lwa Iganga–Tirinyi–Kamonkoli–Mbale kiromita nga 7 nga ovudde e Iganga. [10]
  7. Bugiri general hospital eddwaliro ekkulu mu disitulikiti Bugiri. [11]
  8. Ekitebe kya Tilda Uganda Limited, kampuni eddukanya puloojekiti y'okulima omuceere esinga obunene mu Uganda esangibwa e Kibimba Kiromita 18 okuva mu mu kibuga Bugiri. [12]
  9. Ettabi ekkulu erya Busitema yunivasite e Busitema.
  10. Ekkolero lya seminti eyeyambisibwa mu kuzimba erya Tororo Cement Limited e Tororo.

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://dbpedia.org/page/Jinja%E2%80%93Iganga%E2%80%93Bugiri%E2%80%93Tororo_Road
  2. https://openjicareport.jica.go.jp/pdf/12013025_02.pdf
  3. https://www.google.com/maps/place/0%C2%B034'21.0%22N+33%C2%B044'46.0%22E/@0.5716722,33.7402657,1273m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.572507!4d33.74612
  4. https://www.google.com/maps/dir/Jinja/Tororo/@0.559782,33.6920619,9z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177e7b862c391f47:0x300fe90f956a9f4a!2m2!1d33.2026122!2d0.4478566!1m5!1m1!1s0x177f6b3e59520d45:0x46742a11bb30a51c!2m2!1d34.1865669!2d0.6782274!3e0
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2018-02-03. Retrieved 2024-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. http://www.busogatrust.co.uk/where-we-work/bugembe/
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2023-03-06. Retrieved 2024-09-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://www.google.com/maps/place/0%C2%B031'41.3%22N+33%C2%B023'05.6%22E/@0.5281514,33.3827067,450m/data=!3m2!1e3!4b1!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.528146!4d33.38489
  9. https://www.google.com/maps/place/Busoga+University/@0.5931573,33.4642154,3595m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x177ef1069524a5a1:0x58506719e09f5686!8m2!3d0.5916724!4d33.4591981
  10. https://www.google.com/maps/dir/Iganga/Nakalama/@0.6422581,33.5189574,11.75z/data=!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177ef28a75729ee9:0x2a5b0f015719e99d!2m2!1d33.4719832!2d0.6045833!1m5!1m1!1s0x177eedf8100eb4eb:0xcad3b42aae73a064!2m2!1d33.5182054!2d0.6290199!3e0
  11. https://www.google.com/maps/place/0%C2%B034'23.5%22N+33%C2%B044'34.5%22E/@0.5731675,33.7387915,902m/data=!3m1!1e3!4m5!3m4!1s0x0:0x0!8m2!3d0.573189!4d33.742904
  12. https://www.google.com/maps/dir/Bugiri/Tilda+Uganda+Ltd+-+Kibimba,+Jinja-Tororo+Road/@0.5406868,33.8110424,12z/data=!3m1!4b1!4m14!4m13!1m5!1m1!1s0x177efc37245a884b:0xa5c463e4d6656773!2m2!1d33.7461847!2d0.5671365!1m5!1m1!1s0x177f0128ba694ceb:0x6d638566663a6773!2m2!1d33.8758659!2d0.5332062!3e0