Jump to content

Jjuuko owa Buganda

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox monarchJuuko Mulwaana yali Kabaka w’Obwakabaka bwa Buganda ow’ekkuminomukaaga, wakati wa 1680 ne 1690.

Okutuuzibwa ku ntebe y’obwakabaka

[kyusa | kolera mu edit source]

Yali mutabani wa Kabaka Kateregga Kamegere, Kabaka wa Buganda owookubiri wakati wa 1644 ne 1674. Maama we yali Namutebi ow’ekika kya Mamba ng'ono yali mukyala wa kitaawe ow’omunaana. Yalinnya ku Nnamulondo oluvannyuma lw'okufa kwa mukulu we mu mwaka gwa 1680. Yatandikawo olubiri lwe e Ngalamye. [1] Ajjukirwa ng’omufuzi omubi. [1]

Obulamu bwe obw’obufumbo

[kyusa | kolera mu edit source]

Yawasa abakyala mukaaga (6):

  • Nabatanzi muwala wa Sebugulu ow’ekika ky’e Lugave
  • Nakimera muwala wa Kalanzi ow’ekika ky’e Nsenene
  • Nakisozi muwala wa Sekayiba ow'ekika ky'e Mbogo
  • Nalunga muwala wa Semaluulu ow'ekika ky'e Nvuma
  • Nandawula Kabengano muwala wa Nkata ow'ekika ky'e Nsenene
  • Nantume muwala wa Sekayiba ow'ekika ky'e Mbogo

Ensonga endala

[kyusa | kolera mu edit source]

Yazaala abaana bangi omuli:

  • Omulangira Batanzi, nga nnyina yali Nabatanzi
  • Omulangira Kimera, nga nnyina yali Nakimera
  • Omulangira Kisozi, nga nnyina yali Nakisozi
  • Omulangira Lumweeno, nga nnyina yali Nalunga
  • Kabaka Ndawula Nsobya, Kabaka wa Buganda, eyafugira wakati wa 1724 ne 1734, nga nnyina yali Nandawula Kabengano
  • Omulangira Kasagazi, nga nnyina yali Nantume
  • Omulangira Kyekaka.
  • Omumbejja Kagere

Emyaka gye egy'oluvannyuma

[kyusa | kolera mu edit source]

Yaseerera (yafa) mu mwaka gwa 1690. Tewali mawulire galiwo ku kifo oba ekyamuviirako okufa . [ <span title="This claim needs references to reliable sources. (August 2020)">citation needed</span> ] Yaterekebwa (yaziikiddwa) Bujuuko mu Busiro. [2]

Engeri Bakabaka gye bazze B'eddiringana

[kyusa | kolera mu edit source]

Template:S-start Template:Succession box Template:S-end

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. 1 2 Kaggwa, Apollo; Kalibala, Ernest B. (1934). The Customs of the Baganda. p. 28.
  2. https://web.archive.org/web/20130615070042/http://www.buganda.com/kings.htm

Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]