Joan Rwabyomere
| Ekikula | mukyala | |
|---|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Uganda | |
| Erinnya eriweereddwa | Joan | |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza | |
| Omulimu | munnamateeka, musuubuzi, diplomat | |
| Omukozesa | Electricity Regulatory Authority, Civil Aviation Authority of Uganda | |
| Ekifo ky'alimu | State Minister for Agriculture, mubaka wa palamenti | |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere | |
| Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi | Ekibiina kya National Resistance Movement | |
Joan Rwabyomere Munnayuganda nga munnamateeka , omusuubuzi era omukungu nga yaliko High Commissioner wa Uganda mu London ne Nigeria .Mu kiseera kino mmemba ku lukiiko olufuzi olwa Electricity Regulatory Authority (ERA).[1][2][3]
Okusoma kwe
[kyusa | kolera mu edit source]Joan munnamateeka alina ebisaanyizo ng’alina Master of Laws (Hons) okuva mu yunivasite y’e Makerere, Diguli eyookubiri mu by’obusuubuzi n’okusiga ensimbi mu nsi yonna ne Masters mu by’obusuubuzi mu kuddukanya amafuta ne ggaasi.[1]
Emirimu gye
[kyusa | kolera mu edit source]Joan yaliko omumyuka wa Dayirekita omukulu ow’ekitongole ky’ebyokwerinda eby’ebweru (ESO) nga tannalondebwa ku bwa Kaminsona wa Uganda e London (2006 – 2013), ne mu Nigeria (2000 – 2005). Alina obumanyirivu bungi mu byobufuzi, enzirukanya y’emirimu, obukungu, bizinensi n’obukulembeze mu bitongole by’obwannannyini n’ebya gavumenti, ku mutendera gw’eggwanga, mu bitundu n’ensi yonna.[3][1]
Yali omukiise w’abakyala b’e Kabarole mu lukiiko lwa National Resistance Council (1989–1996), Minisita omubeezi ow’ebyobulimi (1995–1996), Dayirekita w’olukiiko lw’amasannyalaze mu Uganda (1989–1995); Ssentebe, Board of Directors, Uganda Civil Aviation Authority (1989–1995),mmemba ku lukiiko lwa Women in Diplomatic Service, National Enterprise Corporation n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’amasannyalaze ; Omubaka mu lukiiko lw’awamu olwa EU–ACP (1989–1995).[4][1][3][5]
Ebikontana
[kyusa | kolera mu edit source]Kigambibwa nti Joan yagaana bannakibiina kya NRM okukozesa ekisenge mu Uganda House (London) okutegeka ebikujjuko ebijaguza emyaka 24 egy’obufuzi bwabwe mu 2010. Era kigambibwa nti yawa omulimu ow'oluganda lwe ku kakiiko akakulu.[6]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- 1 2 3 4 NA, Super (2024-07-28). "Authority Members". www.era.go.ug (in British English). Retrieved 2025-04-04. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":0" defined multiple times with different content. - ↑ "Museveni picks new ambassadors". New Vision. Retrieved 2025-04-05.
- 1 2 3 "Rwabyomere Appointed Ambassador". New Vision. Retrieved 2025-04-04. Cite error: Invalid
<ref>tag; name ":1" defined multiple times with different content. - ↑ "633730.pdf" (PDF). library.oapen.org. 2025-04-05.
- ↑ https://books.openedition.org/obp/136?lang=en
- ↑ "Museveni drawn into fight over London embassy". Monitor (in Lungereza). 2021-01-24. Retrieved 2025-04-04.