Jump to content

Joe Opio

Bisangiddwa ku Wikipedia

Joe Opio Munnayuganda munnakatemba era nga muwandiisi wa pulogulamu za ttivvi. Yaliko omutegesi wa LOLUganda, pulogulamu y’amawulire ga Uganda ey’okusaaga. Muwandiisi wa pulogulaamu ya The Daily Show.

Obuto bwe n'emirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Opio yazaalibwa mu Kampala mu Uganda. Yafuna diguli mu mateeka era n’akola ng’omubalirizi w’ebitabo mu kkampuni ya Deloitte okumala emyaka mingi, oluvannyuma n’akyuka n’afuuka munnakatemba. Mu 2012, yatandika okutegeka n'okukola ku pulogulaamu y’amawulire ag’okusaaga eya LOLUganda. Oluvannyuma lwa sizoni bbiri, Opio yasalawo okugenda mu kibuga New York okukola omulimu gw’obwanakatemba. Bwe yali nga azanya ku Comedy Cellar, yasisinkana Trevor Noah eyamupangisa ng'omuwandiisi mu sizoni ye esooka eya The Daily Show.[1] Opio asunsuddwa okuwangula engule bbiri eza Writers Guild of America Awards olw'okuwandiika ku pulogulaamu ya The Daily Show.[2][3]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. Klein, Alyssa (December 3, 2015). "Meet The Ugandan Comic Behind Trevor Noah's 'Daily Show' Success". Okay Africa.
  2. "Uganda's Opio nominated for Writers Guild of America award". The Independent. December 8, 2016.
  3. Hilary Lewis; Sara Kempton; Kimberly Nordyke (February 19, 2017). "WGA Awards: 'Moonlight,' 'Arrival' Win Big at Politically Charged Ceremony". The Hollywood Reporter.