Joel Kitamirike
Joel Derick Kitamirike (yazaalibwa 5 Ogwokuna 1984) yaliko omuzannyi w'omupiira omukugu era yazannyanga ng'omuzibizi . Yazannyira mu liigi ya Football League One mu Brentford mu sizoni ya 2003–04 ne mu liigi ya Scotland Premier League Dundee mu 2005. Kiraabu gye yasembyeyo okuzannyiramu yali Chelmsford City . Yazaalibwa mu Uganda, yagenda e Bungereza ng’akyali mwana muto era alina obutuuze bwa Bungereza.
Mu Gwekkuminogumu 2008, yasibibwa okumala emyezi 20 olw’okusaasanya n'okusangibwa n'enjaga ekika kya Class A n’okusangibwa n’ebiragalalagala ebirala n’ekigendererwa eky’okubisaasanya.[1]
Emirimu gye mu kiraabu
[kyusa | kolera mu edit source]Kitamirike yazaalibwa mu Kampala, Uganda, mu 1984 era yagenda e Bungereza ng’alina emyaka mukaaga.[2] Yatandika omulimu gwe ng'omuzannyi omuto mu Chelsea, gye yazannyira omupiira gwe ogwasooka ku myaka 17, ng'amyuka mu mupiira gwa UEFA Cup ne Hapoel Tel Aviv, oluvannyuma lw'abazannyi abawerako obutaagenda mu Yisirayiri olw'okwekengera olw'ebyokwerinda.[3] Yeegatta ku Brentford ku bbanja mu Gwomwenda 2003 era n'ayongerayo ebbanja lye okutuusa mu Gwekkuminogumu 2003 sizoni ya 2003–04 yonna,[4] mu kiseera ekyo yazannyira Brentford emipiira 25 mu liigi n'ekikopo.[5] Yayimbulwa Chelsea ku nkomerero ya sizoni ya 2003–04, era oluvannyuma lw'okugezesebwa ne kiraabu ya Budaaki eya Willem II [6] ne Walsall,[7] yeegatta ku Mansfield Town mu Gwekkumineebiri 2004 ku musingi ogutali gwa ndagaano.[8] Yazannya emipiira ebiri mu Mansfield nga tannaba kwegatta ku Dundee mu Gwoluberyeberye 2005 ku ndagaano ya myaka ebiri.[9][10] Yatandika emipiira musanvu mu Dundee mu sizoni ya 2004–05 nga kiraabu eno evudde mu liigi ya Scotland Premier League era n'azannya emipiira emirala ebiri nga tannava mu ttiimu eno mu Gwekkuminogumu 2005 oluvannyuma lw'okukkiriziganya nti endagaano ye esazibwemu.[11] Nga wayise emyezi ebiri, yeegatta ku kiraabu ya Major Soccer League, Columbus Crew .[12]
Mu Crew yazanirayo omupiira gumu nga tannaba kwegatta ku mupiira gwa Bungereza ogutali gwa liigi ng'azannyira Fisher Athletic ne Weymouth.[13] Yayimbulwa aba Weymouth mu Gwokubiri 2008 era ne yeegatta ku Chelmsford City,[14] gye yazannyira omupiira gumu nga tannava mu kiraabu eno ku nkomerero ya sizoni ya 2007–08.[15]
MuGwekkuminogumu 2008, yasibibwa okumala emyezi 20 olw’okugasaasanya ebiragalalagala ekika kya Class A n’okusangibwa n’ebiragalalagala ebya Class A n’ebirala n’ekigendererwa eky’okubisaasanya.[16]
Emirimu gye mu nsi z'ebulaaya
[kyusa | kolera mu edit source]Kitamirike yakiikirira Bungereza ku mutendera gw’abali wansi w’emyaka 15 mu 2004, Ttiimu Uganda ey’omupiira yamussa mu ttiimu yaayo ey’okusunsulamu abalizannya World Cup ne Nations Cup 2006 nga battunka ne DR Congo mu Gwomukaaga 2004, nga beeyambisa amateeka amapya aga FIFA agamukirizisa okuzannyira ensi gy’azaalibwa ku mutendera gw’ensi yonna omujjuvu.[17] Newankubadde Kitamirike yali ayagala nnyo okuzannya, etteeka lya Uganda erikwata ku bantu abayingira mu ggwanga lyali terikkiriza kubeera buvo bwa mirundi ebiri. Kitamirike yali tayagala kulekawo butuuze bwa Bungereza olw'okwagala okufuna paasipooti ya Uganda bwatyo nasubwa omuzannyo.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- Joel Kitamirike omukutu omutongole ku Icons.com
- Joel Kitamirike
- ↑ Skene, Helen (8 November 2008). "Ex-Chelsea player jailed for drugs bust". East Anglian Daily Times. Archived from the original on 30 March 2015. Retrieved 9 November 2008.
- ↑ "Joel Kitamirike biography: the early years". Icons.com. Archived from the original on 12 March 2008. Retrieved 3 July 2008.
- ↑ "Hapoel stun subdued Chelsea". BBC Sport. 18 October 2001. Retrieved 3 July 2008.
- ↑ "Kitamirike extends Bees deal". BBC Sport. 20 November 2003. Retrieved 3 July 2008.
- ↑ "Games played by Joel Kitamirike in 2003/2004". Soccerbase. Racing Post. Retrieved 3 July 2008.
- ↑ "Kitamirike eyes Dutch move". BBC Sport. 11 August 2004. Retrieved 3 July 2008.
- ↑ "Walsall trial Kitamirike". BBC Sport. 25 August 2004. Retrieved 3 July 2008.
- ↑ "Games played by Joel Kitamirike in 2003/2004". Soccerbase. Racing Post. Retrieved 3 July 2008.
- ↑ "Thanks Stags – Kitamirike". Nottingham Evening Post. 24 January 2005. Archived from the original on 9 February 2012. Retrieved 3 July 2008.
- ↑ "Dundee sign defender Kitamirike". BBC Sport. 17 January 2005. Retrieved 3 July 2008.
- ↑ "Defender Kitamirike leaves Dundee". BBC Sport. 7 November 2005. Retrieved 3 July 2008.
- ↑ "Ugandan Kitamirike signs in USA". BBC Sport. 12 January 2006. Retrieved 3 July 2008.
- ↑ "Terras allow Kitamirike to leave". BBC Sport. 18 February 2008. Retrieved 3 July 2008.
- ↑ "King brings in Joel". Non League Daily. 3 March 2008. Archived from the original on 9 June 2012. Retrieved 3 July 2008.
{{cite news}}: CS1 maint: unfit URL (link) - ↑ "Club notes: Chelmsford City". Green'Un 24 (sports supplement, Ipswich Evening Star). Retrieved 9 November 2008.
- ↑ [Chelsea] Ex-Chelsea player jailed for drugs bust
- ↑ Oryada, Andrew (26 May 2004). "Uganda eye Kitamirike". BBC Sport. Retrieved 3 July 2008.