Joel Okuyo Atiku
Joel Okuyo Atiku Prynce Munnakatemba Omunnayuganda, [1] omwolesi w'emisono, omukubi w'ebifaananyi era omusomesa mu Uganda Christian University gye yatikkirwa Diguli mu kuyamba Abantu abalina obuzibu obw'enjawulo n'Okuddukanya Embeera z'Abantu (BSWSA) nga kuno kw'ogatta Makerere University, Amatendekero ag'Emirundi ebiri agasinga Uganda. Okumannyikwa ennyo mu by'okuzannya firimu kwajja bweyalondebwa okuzannya ekitundu kw'okubeera nga Sitaani yali akomeddewo mu ye ng'eno yalagirirwa Omunnauganda Matt Bish mu ffirimu ya 2007 emannyikiddwa nga Battle of the Souls, ffirimu ya kampuni ya Ugawood emanyikiddwa ennyo. Eno baali basiinzira byaliyo by'obulamu bwa muganda w'eyalagirira ffirimu eno, omukozi wa leediyo ya KFM, Roger Mugisha. Prynce era ye Pulezidenti wa kampuni ye eyitibwa The Lhynnq-X, Inc. Yazaalibwa mu Arua nga 4 Ogwekumineebiri 1983 mu bafumbo b’eggwanga ly'Abalugwaara, omugenzi Lt.Colonel Gabriel Francis Atiku ne Yema Drakuru Atiku, ekifo kyeyasooka okuzannya ng'omumennyi w'amateeka gwamuwanguza awaadi eziwera etaano eziri ku mutendera gw'ensi yonna omwali eya; Best Supporting Actor mu Balafon Film Festival e Bari, mu Yitale mu 2008 ne mu myaka gya 2009, Omuzannyi wakatemba eyasinga mu kifo ky'okuyambako ng'eno yagigya ku mikolo gya Africa Movie Academy Awards (AMAA) e Lagos mu Nigeria. Awaadi endala mulimu omuzannyi w'akatemba eyasinga ng'eno yamuweebwa ku mikolo gyamirundu ebiri okuli ogwaali mu Ubuntu Village mu Colorado ekya Amerika mu 2010 ne mu 2011 eza Zanzibar International Film Festival [ZIFF] mu Tanzania. Olupapula lw’amawulire mu Uganda, olumannyikiddwa nga ''The Observer'' lwakazaako Okuyo nga Brad Pitt wa Afrika.
Emirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Maama we ajjukira nti Joel yatandika okuzannya katemba ng'akyalina emyaka 4 bweyakopa nga sitayiro ya kitaawe ey’okutambula nga kw’ogase n’ebintu bye yalaba nga ku ttivvi oba bye yalaba nga kusomero. We yatuukira mu P.5, yali awangudde awaadi ye esooka era n’asigala ng’azannya katemba mu bumanyirivu bwe bwonna bweyalina musomero. Okuyo era yeegatta ku MITG (Music & Instrumental Training Group), ekibiina ky'okuzannya Katemba mu Arua ekyalwanirira enteekateeka z’Omukago gwa Bulaaya ez’okuyingira mu nsonga za mukenenya mu bitundu bya West Nile. Joel azannye ffirimu nyingi n’emizannyo gy'okusiteegi mu ggwanga n’ensi yonna nga kuno wk'oteeka n'okukola n'abalagirira ffirimiu abali ku mutendera gw’ensi yonna nga Michael Landon, Jr., Gabriel Range, Adrian McFarlane, Ruman Kudwai, Yuval Shefferman ne munnansi munne Matt Bish, ng'Amannya ge mu bujjuvu ye Matthew Bishanga. Joel yazannya ebifo eby'enjawulo mu ffirimu ennyimpi nga State Research Bureau (SRB) nga kwotadde ne ffirimu z'Obutundu ku Ttivi nga Locked Up Abroad, Raised Wild [2] ne Lost in Africa.
Ffirimu ennyimpi eza Maisha Film Lab ze yazannya oluvannyuma lw’okutendekebwa mu ttendekero lya ffirimu erya Mira Nair erya buli mwaka mulimu On Time mu 2008 eyalagirwa Patricia Olwoch, Looserpool, Live Joseph ne Estranged, gye yazannya ekifo nga y'akulembedde abazannyi yalagirwa Sandra Kosse.
Endala enyimpi zeyetabamu mulimu Fruits of Love, Journey to Jamaa ng'awereza nga Lucky, Haunted Souls ne A Good Catholic Girl eyalagirwa Matt Bish,eyateekebwa mu Africa First: Volume Two, ekitabo ekikuŋŋaanyiziddwamu ffirimu ennyimpi ttaano okuva mu bakola ffirimu abapya mu Abafirika.
Yeeyali kukifaanayi k'esimu ya BlackBerry Curve eya kampuni y'amasimu mu Uganda eya MTN mu 2007. Olwo mu 2009, n’afuuka omwolesi w'emisono kumukolo kw'abakungu mu kibuga Lagos ekya Nigeria.Abadde ayolesa emisono mu kampuni ya Vanity Models mu kibuga Verona, ekya Yitale n'eya Uganda emannyikiddwa nga Gorgeous Fashions. Feesi ya Joel era erabikira ku pulogulaamu ya SAB Miller ey'oku Ttivi, ku Bipaande ebinene n'obulango obubeera Bifulumiziddwa mu Mpapula z'Amawulira n'Obutabo Obw'enjawulo nga bikwata ku biya nga Stone Lager e Ghana, Safari Lager e Tanzania ne Nile Special Lager mu nsi ye gy'asibuka, nga byonna biragirirwa Mark Lawrie ku mukutu gwa 'Videolounge'. Ebirango ebirala ebifulumizibwa ku ttivvi kuliko Warid Telecom mu Congo Brazzaville, nga kalagirirwa Steve Jean; Warid mu Uganda, Stanbic Bank ne Johns Hopkins University nga ziragirirwa Carolyn Kamya nga kuno kwoteeka ne Baanka ya Uganda akalagirirwa Matt Bish.
Ye musajja eyasooka okulabika mu katabo ka African Woman Magazine ' s 'All Lights On' Segment mu 2010.
Joel yalabikira mu kulanga ffirimu y'oku ttivi ey'ebitundu emannyikiddwa nga Love Makanika, emu ku pulogulaamu ezaasooka okulagibwa ku mukutu gwa ttivi ya Pearl Magic eyagenda ku mukutu gwa GOtv okutandika ku Mmande nga 1 Ogwekumi mu 2018.
Leediyo
[kyusa | kolera mu edit source]Okuyo awoze ekitone kye ng’eddoboozi eriwagira ebifulumizibwa ku leediyo okuli ku Mako Meere eragirirwa Patricia Olwoch, ku lwa Mifumi, ne Rock Point eya Albert Mwesige eya Audio Central. Lumu yakolerako omukutu gwa leediyo ya Bob FM.
Katemba w'Okusiteegi
[kyusa | kolera mu edit source]Abadde mu katemba w'okusiteegi okuli ; Just You Me & the Silence egyalagirIRwa Judith Adong ng’ali wamu ne kampuni ya Alfajiri Productions. Mu 2017, yatwaala ekifo nga Lokil mu kutegeka omuzannyo gw'okusiteegi ogwaali gutumiddwa Strings ogwaali gugenda okusooka okuzannyibwa nga 22 Ogwekumineebiri.
Katemba eyamuvirako okuvumirirwa
[kyusa | kolera mu edit source]Okuyo yafuna okunenyezebw, n'okuvumirirwa okuva mu mikwano gye olw'okuzannya mu muzannyo The River and the Mountain, omuzannyo n'Akakiiko akavunaanyizibwa ku Biwerezebwa ku Mpewo kekyagamba nti omuzannyp guno gwaali " gutumbula ebikolwa by'ebisiyaga mu ngeri etegeerekeka". [3] Gwawandikibwa omutontomi eyasoma mu Oxford Beau Hopkins ng’akolagana ne David Cecil, Omugereza afulumya ffirimu n'okudukanya ekifo ekimannyikiddwa nga Tilapia, ekifo Ky'eby'obuwangwa omuzannyo gye gwamala wiiki emu okutuusa nga 23 Ogwomunaana mu 2012, kyatwalibwa ng’ekikontana n’amateeka, emisingi gy’eby'obuwangwa n’empisa za Uganda ekyavirako okukwatibwa kwa Cecil nga 6 Ogwomwenda mu 2012. Mu muzannyo guno, Okuyo yazannya nga Samson, omusajja eyali adukanya ekifo ewasinganibwa abali b'ebisiyaga eyatibwa abakozi be oluvannyuma lw’okubeera nga baali kakumiddwaamu omuliro mu abasumba abaali abakambwe ennyo. Okuyo yali alumizibwa ''okubeera nga yali atekebwaamu ssente ekibiina ky'abali b'ebisiya", wabula n'addamu nti, "Nze siri mu kulwanirira bali babisiya. Nga tuyita mu muzannyo guno, twagala okutegeera abantu nti ffenna tuli bantu. Tetulina kulamula, kusosola, kulumya oba kutta balala."
By'asinga okwagala ng'omuntu
[kyusa | kolera mu edit source]Joel anyumirwa nnyo okukuba ebifaananyi, emisono, okuzannya ffirimu, okwolesa emisono, okusisinkana emikwano emipya, okuyamba abantu, okuzannya basketball, entongoolo, okuwuga, okuvuba, okusoma, okufumba, okuwandiika n’okutambula. Mu Gwokusatu gwa 2020, yayanjulwa omuyimbi w'ennyimba za dancehall a,amannyikiddwa nga Cindy Sanyu gwe yali akoze naye ku ffirimu bbiri okuli eya November Tear ne Bella. [4] [5]
Ffirimu zazze azannya
[kyusa | kolera mu edit source]- Vidiyo z'ennyimba
Okuyo yali mu luyimba lwa Priscilla Kalibala olwa "Boo", oluyimba olwakozesebwa mu ffirimu ya Battle of the Souls nga kwogasse ne "Free People" olwawandiikibwa era ne luyimba Terry De Vos ng'oluyimba olwali mu ffirimu ya State Research Bureau. Era ali mu vidiyo ya Winnie Nwagi ey'oluyimba lwa "Kibulamu" ng'omwagalwa we. Omuyimbi amugamba nti omukwano gwabwe gulina ebintu ebimu ebikwata ku mukwano ebibulamu, era nga buli omu alina okukwata amakube gge, baawukane. Winnie era ategeka n'ensawo ze okugenda. Ku nkomerero, batabagana kyokka babeera batudde ku mmeeza, paketi biri ez'obupiira bugali mpitawo buva mu kooti ya Okuyo era akatambi ne kazikira. Era ali mu vidiyo ya "Ready To Leave" eya Abasa. Prynce ng'ayita mu kampuni ye efulumya vidiyo akoledde abayimbi nga Cindy omuli ey'oluyimba lwa "Whine Yo Waist", "Sunset" ne "Kiki", n'endala.
- Ffirimu
| Omwaka | Bw'eyitibwa | Ekifo kyeyazannya | Kampuni eyagifulumya | Eyagiragirira |
|---|---|---|---|---|
| 2007 | Battle of the Souls | The Devil | Bish Films | Matt Bish |
| 2008 | On Time | Otim | Maisha Film Lab | Patricia Olwoch |
| 2009 | Hearts in Pieces | Supporting actor | Trends Studios | Mariam Ndagire |
| 2010 | I am Slave | Shopkeeper | Altered Image | Gabriel Range |
| 2010 | Imani | Featured | iVAD Production | Carolyn Kamya |
| 2010 | A Good Catholic Girl | Lead | Matt Bish | |
| 2011 | State Research Bureau | (Prisoner) James | Bish Films | Matt Bish |
| 2013 | Situka | Manzi | Karekezi Films | Joel Karekezi |
| 2013 | Wekeza Inalipa | Featured | Jasons Production | Baba Hadji |
| 2014 | Situka | Alvin | Fun Factory | Kwezi Kaganda |
| 2014 | In Reality | Doctor | Wristhouse | Douglas Benda Kasule |
| 2015 | King of Darkness | Lead: Detective Lewis | Machine Gun Preacher Productions | |
| 2015 | The Black Belgian | Supporting actor | Jean Luc Habyarimana | |
| 2016 | Jinxed | Supporting actor | Kampala Film School, Maisha Film Lab | Gary Mugisha |
| 2016 | New Intentions | Counsel Douglas | Kihiray Pictures | Kihire Kennedy |
| 2016 | Mr. Ability | DOP | Prynce Pictures | Joel Okuyo Atiku |
| 2016 | Rain | DJ Daddy | Daniel Mugerwa | |
| 2016 | Queen of Katwe | Ggaba Merchant | Walt Disney Pictures, ESPN Films | Mira Nair |
| 2017 | Black and White | Lead | Stone Age Productions | |
| 2017 | Kony: Order from Above | Kony, Omona, first AD | Atonga Media/Entertainment & Quad-A Records | T. Steve Ayeny |
| 2017 | Bella | Supporting actor, DOP | Bish Films | Matt Bish |
| 2017 | Kyenvu | MAN | Kemiyondo Coutinho | |
| 2017 | The Bad Mexican | Moses | Loukout Films | Loukman Ali |
| 2018 | The Mercy of the Jungle | Kibindankoyi | Imbabazi Productions | Joel Karekezi |
| 2019 | November Tear | Mwene | Jephin/ Prynce Pictures | Richard Nondo |
| 2019 | Splash | Prynce Pictures | Joel Okuyo Atiku | |
| 2022 | Pieces of Me | Naava's father | Savannah Moon/ Maisha Magic Movies | Nicholas Nsubuga |
| 2022 | The Test | Tito | Limit Production | Richard Mulindwa |
| 2022 | Love is Blind (Ffirimu ennyimpi) |
- Ttivvi
| Omwaka | Bw'eyitibwa | Ekifo kyeyazannya | Omuweereza w’amawulire | Omukulu |
|---|---|---|---|---|
| 2008 | Locked Up Abroad | Munnakatemba omuwagizi | National Geographic | Paul Berczeller |
| 2009 | Lost in Africa | Munnakatemba omuwagizi | Kuperman TV | Yuval Shefferman |
| 2012. Omuwandiisi w’ebitabo | Raised Wild | Ebiragiddwa | Discovery World | Adrian McFarlane |
| 2013. Omuwandiisi w’ebitabo | Kona | Omugenyi | Multichoice | Wanjiru Kairu, Natasha Likimani, Damaris Irungu |
| 2017 | Reflections (yabutundu) | Okukulembera | Savannah Moon | Nana Kagga |
| 2017 | Brothers (yabutundu) | Omukulembeze: Keith, Omufulumya, DOP | Jephin Films | |
| 2017 | Taste of Times, Season 2 | Omukungu wa Pulodyusa, DOP | Jephin Films | |
| 2021. Omuntu w’abantu | Okalyadda | Top Tv ( Yasooka okulagirwa nga 1 Ogwokusatu mu 2021 | ||
| 2021. Omuntu w’abantu | What If (Yabutundu ku Ttivi | William | NTV (Yasooka okulagibwa nga 1 Ogwomunaana mu 2024 | Richard Mulindwa |
Ebijuliziddwaamu
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Facebook Page". Facebook. Retrieved 30 September 2012.
- ↑ "Raised Wild". Archived from the original on 19 June 2017. Retrieved 2 September 2014.
- ↑ "Artikelen (by Mark Schenkel)". Archived from the original on 9 August 2014. Retrieved 27 July 2014.
- ↑ Ninsiima, Audrey. "Meet Joel Okuyo, The Charming Man That Proposed To Singer Cindy". The Tower Post. Retrieved 19 March 2020.
- ↑ Nabanja, Rashim. "Singer Cindy gets engaged to movie star Joel Atiku". My Wedding. Archived from the original on 17 October 2020. Retrieved 19 March 2020.